Abanonyereza ku ku kirwadde kya siriimu bategezezza nga bwebasenvudde mu kuzuula eddagala erinawonya mukenenya ono.
Okusinziira ku akulira amattendekero aganonyereza ku siriimu ono mu ggwanga ekya National Institutes of Health, Uganda, Steven Reynolds, waliwo eddagala erikyagezesebwa mu ggwanga lya Thailand eriyitibwa RV 144 nga likolera ddala ebitundu kati 41% eri abo abalikozesa.
Bannasayansi bazze bagezaako okuzula eddagala…
Ab’obyinza ku bizinga bye Kalangala bemulugunya ku kidyeri kyaabwe ekyatwalibwa okukanikibwa e Mwanza mu Tanzania wabula nga n’okutuusa kati tekinadda.
Omubaka wa Bujumba Fred Badda agamba ebyobusuubuzi mu kitundu kino bikalubye kyokka nga tebamanyi ddi kidyeri kino lwekinakomezebwawo.
Ono asabye ministry ekola ku by’entambula okwanguwa okubakomezaawo ekidyeri kyabwwe kubanga abatuuze babonabona.
Wabula ye minister omubeezi akola ku by’entambula …
Sipiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga alagidde minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu gggwanga okunyonyola mu mivuyo egyetobese mu kuwandiisa abantu okufuna endaga muntu
Kiddiridde omu ku bababaka Martin Drito kutegeeza ng’abantu be okuva e Madi bwebakyusiddwa nebayitibwa abalugwaala ate ng’aba madi balambikibwa bulungi mu ssemateeka
Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen Aronda Nyakairima alagiddwa okukola ekiwandiiko…
Akulira poliisi ye Kyengera n’anonyereza ku buzzi bw’emisango bakwatiddwa nebaggalirwa
Bano ekibakwasizza musibe eyafiiridde mu kaduukulu ka poliisi gyebatwaala
Abakwatiddwa ye Jackson Mawumbe ne Edison Karuhanga
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti bano babaggalidde ng’okunonyereza bwekugenda mu maaso.
Enanga agamba nti bagaala kukakasa oba omusibe yafudde gage oba yatulugunyiziddwa
Ebizimbe bitaano biggaddwa lwa bujama.
Abakoseddwa kuliko aba Kyadondo rugby grounds, Lugogo cricket oval, Nateete shopping Centre n’ebirala.
Ayogerera ekitongole kya kampala capital city authority,Peter Kawujju atubuulidde nti baludde nga balabula bannanyini bizimbe bino nga mpaawo yenyeenya era nabo bwebatyo kwekubiggala.
Ebizimbe ebigaddwa tebibadde na kabuyonjo ng’amateeka ga KCCA bwegalagira
Okuddamu okulonda omukyala we Luweero kweyongeddemu ebbugumu
Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Prf Gilbert Bukenya olwaleero naye alangiridde nga bw’agenda okuyiggira owa DP Brenda Nabukenya akalulu.
Bukenya agambye nti egend akwolekera Luweero awagire aba DP yadde nga wa NRM
Bbo abavuganyamu Lukiiko olukulu olw’eggwanga ensonga ze Luweero bazitutte mu palamenti
Ssabawandiisi wa DP Matia Nsubuga agamba nti bategeezeddwa nti abagenda…
Kooti etaddewo nga May 25th okusalawo oba okusoma embalirira y’eggwanga eya 2015/2016 kugende maaso oba nedda.
Kino kiddiridde omubaka wa Kalungu Joseph sewungu okuddukira mu kooti eno nawawabira ssabawolereza w’eggwanga nga ayagala okusomebwa kw’embalirira eno kuyimirizibwe oluvanyuma lwa gavumenti okukendeeza ku nsimbi zeteeka munkola yabonna basome owa primary.
Omusango guno guli maaso w’amyuka omuwandiisi wa kooti enkulu …
Bannabibiina ebirwanirira eddembe ly’abantu abawangaala ne siriimu balina essuubi nti omukulembeze w’eggwanga yandyekuba mu kifuba natateeka Mukono ku teeka lya siriimu nga terinakolebwamu nongosereza ezeetagisa.
Omukwanaganya w’ekibiina ekigatta abasajja abawangaala ne siriimu Richard Sserukuuma agamba nti enyingo 41 mu teeka lino yebabobya emitwe nga evunaana abasiiga banaabwe siriimu mu bugenderevu.
Agamba nti akawayiro kano singa tekakyusibwamu omuwendo…
Abasuubuzi wansi w’ekibiina kya KACIITA bagaala nnongosereza mu bbago ly’etteeka erinakoma ku banywa sigala
Abasuubuzi bano nga bakulembeddwaamu abakulira Everest Kayondo balabiseeko mu palamenti nebawa ebirowoozo ku bbago lino
Kayondo agamba nti mu buwaayiro bwebawakanya mwemuli eky’obutalanga sigala kubanga kijja kukosa abasuubuzi
Wabula Kayondo awagira eky’ebiwandiiko ebirabula abantu ku kunywa sigala.
Ssentebe wa disitulikiti ye Luweero, Abdul Nadduli azizza omuliro ku ba DP abamulumbye olw’okutiisatiisa abantu baabwe.
Akulira ekibiina kya DP Norbert Mao yalumirizza Nadduli okuleeta akavuyo mu kulonda kwe Luweero ng’aagira abawagizi baabwe bakwatibwe
Nadduli agamba nti buno bukodyo by’abavuganya okufuna obululu naye babalaba.