Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu basuubuzi ba Paakayaadi ababadde bavudde mu mbeera, olw’enteekateeka z’okubasengula.
Abasuubuzi bano babadde bayitiddwa akiikirira pulezidenti mu Kampala Aisha Kabanda, wabula olukiiko lubadde terunatandika abasuubuzi nebava mu mbeera.
Wabula oluvanyuma olukungaana luno lugenze mu maaso era nga Kabanda aweze eby'okusengula abasuubuzi bano okutuuka nga babalaze webadda.
Kyokka ye Ssentebe w’abasubuuzi, Hamza Kalema agambye nti…
Ekibinja ky’abavubuka ba NRM okuva wano mu Buganda balumbye ekitebe ky’ekibiina kino wali e Kyadondo nga baagala okwogera n’omubaka w’abavubuka mu massekati g’eggwanga Patrick Nakabale.
Bano bemulugunyizza nga Nakabaale ono bweyabasubiz okubasisisnkana bateese engeri gyebagenda okuganyulwa mu nteekateka ya NAADS wabula nga kati n’okutuusa kati tebamukubangako kyamulubaale.
Twogeddeko n'abamu kubavubuka bano abalayidde obutava kukitebe kino okutuusa nga…
Wabaddewo akavuvungano nga poliisi etwalaganya abagoba ba taxi ababadde bakyesisigalizza okukolera wali ku siteegi y’e Nsambya kumpi n’ebitaala.
Aba KCCA abakwasisa amateeka nga bayambibwako poliisi basobodde okusinza aba taxi bano amaanyi nebabalagira okwamuka ekifo kino boolekera paaka ya USAFI.
Taxi ezikoseddwa kwekuli ezikwata olw’eMunyonyo, Ggaba, Bbunga ,Kansanga n’endala
Adumira poliisi ya CPS James Namuwoza yakulembeddemu ekikwekweto kino era…
Bannakibiina kya NRM batabukidde ab’oludda oluvuganya gavumenti abemulugunya ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni nga tusemberera okulonda kwa 2016.
Wiiki ewedde waliwo ekibinja ky’aboludda oluvuganya gavumenti nga bakulembeddwamu omubaka w’e Lwemiyaga Theodore Ssekikubo abemulugunya nga omukulembeze w’eggwanga bwajja okuba nga asussa mu myaka 75 mu kulonda kwa 2016 ejikirizibwa omuntu okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga.
Wabula ye omwogezi…
Abakulembeze b’ekiidiinidiini 10 ababadde bawabya abantu baleme kwewandiisa kufuna ndaga Muntu bakwatiddwa mu bizinga by’ebuvuma .
Ekibinja kino ekikozesa enamba 666 kibadde kisimbye amakanda ku mwalo gwe Mwiriri nga era bawakanya enteekateeka za gavumenti ezisinga.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savanah Lameck Kigozi ategezezza nti abalala bemuludde nebadduka naye nga bakukwatibwa nabo bavunanibwe nebanaabwe.
Okugogola emigga ebiri egyabimbye amazzi negatta abantu abantu 3 mu district ye Kasese kutandise.
Abakola ku bibamba mu district eno bewoze ekimotoka ki bunduzza okuva mu kampuni enkozi ya seminti eya Hima kyebakozesa okugogola emigga gino okwongera okugigayiza.
Omugga gwa Nyamugasani ne Nyamwamba gyabooze amazzi neganjala mu ddwaliro ly’ekilembe ekyaliviriddeko okugalwa nga era abalwadde abasinga badusiddwayo okusinga…
Abayizi ku ttendekero ekkulu e Makerere bazzeemu okwekalakaasa lwa mmere.
Bano nga bavudde mu kisulo kya Nsibirwa balumbye ewatuula abakulira ettendekero lino babanyonyole lwaki oluusi basula enjala nga ate basasula ssente nyingi.
Bakoze effujjo bwebayiye ebijanjalo n'akawunga mu ofiisi y'akola ku mbeera z'abayizi bano nga bamulanga butafaayo.
Akulira abayizi ku ttendekero lino Ivan Bwowe agamba abakulira abayizi n’abasomesa…
Abantu 2 bebakafiira mu mataba agagoyezza District ye Kasese nga n’abasinga baabulidde amaka gaabwe.
Omwogezi wa ministry y'ebyobulamu Rukia Nakamatte agamba abalwadde 195 bagyiddwa mu ddwaliro ly’ekilembe oluvanyuma lw’amazzi okwanjala mu ddwaliro lyonna.
Kino kiddiridde emigga okuli Nyamwamba ne Nyamugasani okubooga nga era n’ebyentambula bigotanye olw'entindo okugwamu.
Abadde akulira ebyekyekugu mu FufaMujib Kasule alekulidde.
Mujib okulekulira kizze oluvanyuma lwa tiimu ye eya Proline okusalwako okuva mu league ya babinywera wiiki ewedde.
Omwogezi wa Fufa Hussein Ahmed ategezezza nga bwebafunye ebbaluwa ya Mujib ey’okulekulira wabula nga bagenda kutunulira ensonga eno nga akakiiko oluvanyuma bavaaye nekyenkomeredde.
Hussien ategezezza nga mukiseera kino Fufa teyagala kutataganya nkambi ya Cranes…
Akakiiko k’ebyokulonda kataddewo obukadde 450 okutambuza okulonda kw'okujuza ekifo ky'omubaka ow’e Luwero.
Bwabadde ayogerako nebannamawulire, akola nga ssentebe w’akakiiko kano Tom Buruku ategezezza nga ssente zino bwezigenda okukozesebwa okugula ebigenda okukozesebwa mu kulonda.
Mungeri yeemu omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba ebyokwerinda binywezeddwa nga kampeyini zakutojera okutuusa nga 2o May era n’alabula abesimbyewo okwewala okwogera…