Munna NRM Rose Masaba Mutonyi ye mubaka we Bubulo ey’obugwanjuba omuggya.
Ono yakukumbye obululu 29,135 n'addirirwa munna FDC Ahumada Wakweya n’obululu 3270 , eyesimbyewo ku lulwe Joseph Masolo yafunye 1684 , munna DP Paul Butita n'abuukayo n'obululu 662 olwo Emma Mukindwa n'akwebeera n’obululu 128.
Akulira eby’okulonda mu district ye Manafwa Salim Kizindo agamba okulonda kuno kwabadde kwamazima.
Kkooti etaddewo olunaku lwa nga 27 omwezi gw’omukaaga okuwulirirako omusango ogwawaabwa omusajja agamba nti eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya yamubbako omukazi
Eyawaaba ye Emmanuel Nyababyango ng’alumiriza Bukenya okumubbako mukyala we Margaret Kabasinguzi
Omusajja ono agamba nti yawa mukyala we n’amusiba n’empeta kyokka ono yamala n’amwabuulira mu mwaka gwa 2007 aawatali musango
Omusajja ono agamba nti Bukenya teyakoma…
Alipoota efulumiziddwa akakiiko ka gavumenti akalwanirira eddembe ly’abantu eraga nti poliisi yeeyakasinga okulinyirira eddembe ly’abalala
Alipoota eno eraga nti emisnago egyawaabwa poliisi gyava ku 346 mu mwaka gwa 2012 okudda ku misango 424 mu mwaka gwa 2013.
Poliisi eddibwaako abantu babulijjo ssekinoomu n’emisango 163 olwo amaggye g’eggwanga negaddako n’emisango 55.
Ab’amakomera ne gavumenti z’ebitundu beebaddako awo.
Akulira akakiiko kano…
Ababaka ba palamenti olwaleero bakunyizza akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi ku ky’okumenya ebizimbe ebimu ebirala nebisigala.
Ababaka okubadde Monica Amoding, Wilfred Niwagaba, Medard Ssegona ne Crispus Ayena bagamba nti mu bikwekweto ebikolebwa mu kibuga tewali bwenkanya nga waliwo abalekebwa ate nga nabo baba bamenya amateeka.
Musisi agambye nti tebalina gwebataliza wabula nga tebasobola kumenya byonna mulundi…
Eggwanga lyolese okwongera okufuna ebibamba ssinga tewaliiwo kikoleddwa kutaasa buttonde bwa nsi.
Minisita akola nsonga z’ebibamba, Hillary Onek agamba nti abantu bangi bakyasala emiti egyandikutte ku mbuyaga kale nga buli lw’ejja eyera buli by’eyitako.
Onek agamba nti keekadde abakulembeze ku mitendera gya wansi okukwatizaako gavumenti mu kulwanyisa ebintu ng’amataba n’embuyaga eyera buli kimu
Onek bino abyogedde alambula e…
Munnabyamizannyo Oscar Pistorius yegaanye ebigambibwa nti yasojja nga muganzi we nti era baalina obutakkaanya
Ono abadde addamu ku bubaka bw’essimu obwasindikibwa ku ssimu ye nga muganzi we yemulugunya
Ab’oludda oluwaabi baleese obubaka buno okukakasa omulamuzi nti Pistoriuos ono yali anyiiga mangu ate nga taggwa kwekalakaasa na mmundu
Pistorious agamba nti tattangako mukyala we mu bugenderevu ng’amasasi okugamukuba yali…
Aba taxi okugobwa mu paaka enkadde okudda mu ya Usafi tebanakikiriza nga kati basazeewo okwediima okusaabaza abantu abakwata ku luguudo lwe Entebbe.
Taxi zonna ezikolera mu kibuga wakati zisimbiddwa okujjako ezikolera mu paaka ye Nakawa ne Nateete.
Ssentebe w’ekibiina ekigatta ba deereva neba kondakita , Mustafa Mayambala agamba kino kyakugenda maaso okutuusa nga aba KCCA babaako nekyebakola…
Abagoba ba taxi abasindikiddwa mu paaka ya Usafi batudde mu Lukiiko okuteesa ku ky'okubagoba mu paaka enkadde okudda mu ya Usafi.
Kino kiddiridde amakya galeero bano okuva mu mbeera nebediima okusaabaza omuntu yenna nga bawakanya ekya KCCA okubasindikiriza okuva mu paaka enkadde.
KCCA yajjuludde siteegi 16 ezikwata ku lw’entebbe okudda mu paaka ya Usafi .
Ku bano kuliko…
Poliisi etandise okunonyereza ku mirambo ebiri egizuuliddwa wakati mu kibuga enkya ya leero.
Abasajja bano bombi emirambo gyaabwe gisangiddwa ku kibangirizi kya Clock Tower era nga kitebeerezebwa nti babadde basaabaze ababadde bagenda okulinnya taxi mu paaka ya USAFI
Emirambo gino zeezimu ku nsonga ezivuddeko aba taxi okukeera okwekalakaasa nga bagamba nti eby’okwerinda okwetoloola paaka ya USAFi ssi…
Abakulira okulwanyisa envuba embi ku kitundu kye Mukono baliko abantu babiri bebakutte nga banno basangiddwa nga batambuza obweyanja obuto.
Abakwate kuliko Robert Kabalebe nga muvubi ku mwalo e Katosi ne Brian Mayanja nga muvuzi wa bodaboda.
Bonna batuuze be Kasanje.
Akulira ebikwekweto by'okulwanyisa envuba embi mu disitulikti eno ttaano James Kitaaka ategezezza nti yadde bafubye okusomesa abavubi akabi…