Amawulire
Katikkiro atandise olugendo lwe Ankole
Obwakabaka bwa Uganda bukakasizza nti Kamala byonna wakugenda mu maaso n’olugendo lwe mu kitundu kye Ankole Okukakakasa kuno kuddiridde okutiisatiisa okuva eri ekibinja ky’abavubuka ekimu e Ankole nti babadde tebakkiririza mu kya Katikkiro kubakyalira era nga babadde bakulemesa olugendo luno Omwogezi wa Buganda oweki Denis […]
Omuliro ku Banka-Ebyuuma byekuuse
Poliisi ekakasizza nti omuliro ku bbanka enkulu ey’eggwanga gwavudde ku byuuma ebyookya ssente enkadde okwekuuba Akulira abaziinya mooto Joseph Mugisa agamba nti guno gwabadde mulundi gwakubiri mu myaka mukaaga ng’omuliro guno gubalukawo ku byuuma bino Wabula ono agamba nti byonna byateredde nga n’emirimu kati gitambula […]
Okusunsula aba siniya esooka
Minisitule ekola ku byenjigiriza amaaso egenda kugassa ku babba ebigezo n’empisa ensiwuufu mu masomero Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule eno, Dr Rose Nassali agamba nti obuyisa obusiwuufu bususse mu masomero ng’abaana batuuka n’okunywa enjaga Ono agamba nti bagenda kukwatagana n’abakulembeze b’amasomero okulaba nti watemebwaawo emakubo […]
Agambibwa okusiiga Omwana Siriimu Azze Luzira
omusawo owemyaka 64 agambibwa okwefumita olugalo n’empiso namala nagikuba omwana namusiiga siriimu kooti emuganye okweyimirirwa. Omukyala ono yasabye yeyimirirwe kubanga akuliridde mu myaka nga ate mulwadde wa Mukenenya eyetaaga okujanjabibwa. Wabula omulamuzi wa kooti ya Buganda Road Olive Kazaarwe akamutemye nti tafaayo n’eLuzira abalwadde […]
Kalungi Asibiddwa Emyaka 4
Adam Sulaiman Kalungi nga ono y’eyali muganzi w’omugenzi Cerina Nebanda eyali omubaka omukyala ow’eButalejja asibiddwa emyaka 4. Bwabadde amuwa ekibonerezo kino, omulamuzi wa kooti ento eye Makindye Esther Nambayo ategezezza nti kalungi yalagajalira omugenzi Nebanda okumutwala mu ddwaliro bweyamusanga nga ataawa ekyamuviirako okufa. […]
Lukwago azzeeyo mu kooti
Loodimeeya wa kampala Erias Lukwago azzeemu okuddukira mu kooti ku kiragiro ekyayisibw akooti nti adde mu ofiisi ye Loodimeeya ayagala abantu bataano bayitibwe mu kooti nga bano abalumiriza okuba nti beebamulemesezza okudda mu ofiisi Mu bano kwekuli akulira abakozi mu kampala Jenifer Musisi, akulira poliisi […]
Pulezidenti alonze ba RDC
Pulezidenti Museveni akoze enkyukakyuka mu ba RDC ng’asudde bangi ate n’aleeta abapya Enkyukakyuuka zino zirese nga Aisha Kabanda ye RDC wa kampala . RDC we Nakawa kati ye Jackie Kemigisha Kiiza, owe Kawempe ye Mercy Deborah Nabukenya, owe Deborah Mbabazi, owe Makindye ye Henry kitambula […]
Omuliro ku Banka y’eggwanga
Omuliro gukutte Banka enkulu ey’eggwanga. Abaziinya mooto batuuse mu kitundu nga akola kyonna ekisoboka okulaba nti tegubuna. Tekinnategerekeka oba omuliro guno guvudde ku ki
Pulezidenti Museveni ekyusizza mu ba RDC
Pulezidenti Museveni akoze enkyuukakyuuka mu ba RDC okwetoloola eggwanga lyonna. Abadde RDC wa kampala , Hashaka Mpimbaza kati asindikiddwa Namayingo. RDC wa kampala omuggya ye Aisha kabanda Ian Kyeyune naye ekomyeewo e Wakiso nga RDC Ebirala bijja
pulezidenti alabudde abajaasi ku mpisa
Pulezident Museveni akandudde eddoboozi ku bajaasi abenyigira mu bikolwa by’ekko ng’okukaka abakyala omukwano Ng’ayogerera ku mikolo gy’olunaku lwa Tarehesita,pulezidenti agambye nti kyenyamiza okuwulira amawulire g’abajaasi abakaka abakyala omukwano, ababatta, ababba n’ebikolwa ebirala kubanga biswaza. Ono agamba nti empisa kikulu nnyo mu maggye nga tajja kukkiriza […]