Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Aba NRM batuula nkya

Ababaka mu kibiina kya NRM baddamu olw’enkya okwesogga akafubo ku nsonga z’etteeeka ly’ebisiyaga Ensonga eno y’eri ku mwanjo ng’ababaka basisinkana ekyankwanzi Owmogezi w’akabondo k’ababaka ba NRM mu palamenti, Everlyn Anite agamba nti wakyaliwo okukubagana empawa ku tteeka ly’ebisiyaga oluvanyuma lwa pulezidenti okwemulugunya ku kuyisibwa kwaalyo Omwezi oguwedde, Pulezidenti yawandiikira spiika Kadaga ng’amutegeeza ng’okuyisa etteeka lino bwekwakolebwa mu kupapa. Gwo…

Read More

Ez’obutale zaabula

Abakungu okuva mu minisitule ekola ku gavumenti ez’ebitundu batunudde ebikalu nga bakunyizibwa ku nsimbi z’obutale mu kampala. Ensimbi ezoogerwaako ziwerera ddala obuwumbi 3 nga zaali zakugula ttaka lya kuzimbako butale e Kalerwe, Kitintale ne Nakulabye Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule ekola ku gavumenti z’ebitundu, Patrick Mutabwire akkirizza nti ensimbi zino bazikozesa mu birala kyokka abadde akyanyonyola ababaka nebamucoomera. Ababaka…

Read More

Abalombe bakyabuze

Nabuli kati mu gwanga lya south Africa abaduukirize bakyagenda mu maaso nokunoonya abalombe 17 abakyalemedde wansi mukirombe ekya Doornkop  ekyagudemu mu kibuga Johannesburg. Abadukanya ekirombe kino ekya Gold bategeezeza nga bwebawulizza abalombe 8 abakyali mutaka era nga basuubira nti akade kona babatuukako Bano okufuna obuzibu kivudde kumyliro ogukutte ekifo kyona, olwo abakoz bebabuna emiwabo

Read More

Amasomero gagaddwa

E Kasese amasomero 26 gagaddwa lwabutaba na bisanyizo byetaagisa . Akulira eby’enjigiriza mu district eno  Emmy Kayiri agamba nti kino kigendereddwamu kutereeza ntambuza ya mirimu mu masomero gano okuyitimusa omutindo gw’amasomero. Agamba amasomero agasinze okugalwa gasangiddwa nga tegalina basomesa batendeke, eby’obuyonjo nga bikuba enkyukwe nga ate byo ebizimbe ebisinga bibadde bikutte mu mbinabina.

Read More

Ab’amaggye balongoosezza

Olunaku olwaleero amaggye gakoze bulungi bwansi nga era gatandikidde mu katale kewa kisekka gyebalongoserezza ebifo ebyenjawulo. Bino by’ebimu ku bikujuko ebikulembedemu okukuza olunaku amaggye ga NRM lwegasooka okulumba Barakisi ye Kabamba nga 6 omwezi guno. E Wa Kisekka wabula obwedda emirimu bagikola bafuna okucookozebwa okuva eria basuubuzi obwedda ababasaba bazannyemu mu ngeri y'ekisaazi Embeera ebadde yeemu ne mu…

Read More

Olusiisira ku masiro luzzeemu

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde abantu abatandise okusuula kasaasiro ku bbugwe w’amasiro nti kakubajutuka. Katikiro agambye nti buli muntu alina okubeera mbega wa munne okulaba ng’obuyonjo bukuumibwa mu masiro ge Kasubi. Katikiro agambye nti omuntu yenna anakwatibwa ng’asuula ebisasiro wamu n’okusalimbira mu masiro ge Kasubi wakutwalibwa mu mu mbuga z’amateeka babitebye. Zzo ensimbi ezisoba mu bukadde…

Read More

Namugongo wa byafaayo

Kkanisa ya Uganda ebaze ku mulimu gw’okuzimba ekifo awanakuumirwa ebyafaayo ku bajulizi e Namugongo Ekifo kino ekiteberezebwa okuwemmenta obuwumbi 36, kigendereddwaamu kulaba nti ebyo byonna ebikwata ku bajulizi bikuumwa bulungi kubanga bikulu eri abakkriza mu nsi yonna Ssabasumba wa Uganda Stanley Ntagali agambye nti ekifo kino kisikiriza abalambuzi okuva mu bitundu by’ensi ebitali bimu n’eggwanga nga ssinga…

Read More

Sipiika ayogedde ku by’okumutta

Sipiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga kyaddaaki avuddemu omwaasi ku bigambibwa nti waliwo abamuwereza obutwa bw’obuwunga mu bbaluwa. Kigambibwa okuba nti waliwo ebbaluwa eyaweerezebwa Kadaga era ng’omuyambi we Herman Kabogozza eyagibikkula yamukosa ng’abadde ajjanjabwa Mu kiwandiiko sipiiika ky’afulumizza kyokka nga kimpi bulala, Kadaga agambye akkirizza nti mu butuufu kino kyaliwo kyokka n’ategeeza ng’okunonyereza bwekugenda mu maaso. Yadde Kadaga…

Read More

Omulamuzi yeeremye ku bya Loodimeeya

Omulamuzi wa kooti enkulu Yasin Nyanzi eby'okujja enta mu musango gwa loodi meeya Erias Lukwago abiganye. Ono era alagidde nti ssabawolereza okusasula ensimbi kooti olw'okugimalira obudde mu kwemulugunya kweyakola. Nga ayita mu munamateeka we Martin Mwangushya, ssabawolereza wa gavumenti nga 15 January yasaba omulamuzi ono omusango guno agudde ebbali, kubanga yandibaamu kyekubiira okuva bwekiri nti yeyayisa ekiwandiiko…

Read More

Bonna basome tannavaamu bibala-Ssewungu

Ababaka ba palamenti abatali abatali bami bagaala ebivudde mu maosmero ga bonna basome bifulumizibwe byokka Kiddiridde ebyavudde mu bigezo okulaga nti abayizi mu masomero gano bakyakolera ddala bubi kyokka nga tewali ekissaako ssira kubanga bifulumira wamu n’ebigezo by’abalala buli omu amaaso n’agassa ku bayise. Omubaka akiikirira abantu be kalungu mu bugwanjuba, Joseph Ssewungu agamba nti kino kyakuyamba…

Read More