Amawulire
Abayekeera bubakeredde
Abakulemberamu olutalo lw’ekiyeekera mu ggwanga lya South Sudan gyebuvuddeko bakuggulwaako misango gyakulya mu nsi yaabwe olukwe Minista wa South sudan akola ku nsonga z’amateeka, Paulino Wanawila agambye nti kuno kwekuli n’eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Riek Machar Gavumenti mu kusooka yategeeza nga bweyali tegenda kuvunaana bantu […]
Ssabasajja Kabaka aboggodde- temwemoolera ku nsalo za Buganda.
Ssabasajja Kabaka Ronald Mutebi ssabawanguzi alabude abo abazannyira ku nsalo za Buganda n’addamu okukakasa nti Bugerere ssaza lya Buganda Omutanda okulabula akukoze afundikira okulambula kwe ow’essaza lino okumaze ennaku 3 Agambye nti ekya Bugerere okubeeramu abantu ab’amawanga agatali gamu tekitegeeza nti tekyaali ya Buganda. Ono […]
Ssabasajja asiibula leero Bugerere
Olunaku olwaleero ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri lw’akomekkereza okulambula essaza lye erye Bugerere . Beene asuubirwa okuggulawo kkanisa y’abadiventi wali e Bukolooto eya ng’ezimbiddwa omubaka omukyala owe Kayunga Aida Nantaba. Olunaku olw’eggulo Beene yalambudde emirimu gy’abantu be mu ssaza lino […]
Muyambe ku bemukulembera- kabaka
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri akunze abakulembeze ku mitendera egitali gimu okuyiiya engeri y’okulongosaamu ebirime by’abantu Ng’ayogerako eri abantu be Busaana ng’alambula essaza lye olunaku olw’okubiri, ssabasajja agambye nti abalimi mu kaseera kano bafuna kitono kubanga eby’amaguzi byaabwe ssi birongoofu Ssabasajja era […]
South Africa- abavuganya baleese anavuganya Zuma
Ebibiina ebiri ku ludda oluvuganya gavumenti mu ggwanga lya South Africa bikoze omukago nebisimbawo Mampela Rampele. Ono y’agenda okukwatagana ne Jacob Zuma ssinga ayita mu kasengejja k’ekibiina kya Africa National Congress (ANC) Gwebalonze y’abadde akulira ekibiina nga Agang Party kyeyatandikawo omwaka oguwedde Akulira ekibiina ekisinga […]
Amasomero gaggaddwa
Ab’obuyinza mu disitulikiti ye Mukono bagadde amasomero mukaaga lwabutaba na bisanyizo. Amasomero gano gonna gasangibwa mu divizoni y Goma nga kuno kuliko Jjogo Parent’s, Winland Junior School, Brilliant Day Care Educational Center ,Friends junior School n’amalala. Akulira okulawuna amasomero mu kibuga kye Mukono, Margret Bulya,agamba […]
omupiira gwegumusse
Omuvubuka ow’emyaka 19 akoneddwa omupiira gw’emotoka nafa. Okusinzira ku OC atwala eby’entambula poliisi ye Kanyanya, Richard Wabwire agambye nti omuvubuka akooneddwa ategerekese nga Ibrahim Kawere nga mutuuze we Nameere ekisangibwa e Kanyanya . Omupiira guvudde ku motoka no.UAN 724P ekika kya Noah ebadde ku misinde […]
Omwana omuto yetuze
Omwana ow’emyaka omwenda yesse ng’atya okubonerezebwa. Isma Gabula nga mutuuze we Kasubi yeeyeyimbyemu ogwa kabugu oluvanyuma lw’okubba sente zanyina omuto. Nyina ategerekese nga Aida Nabaggala nga ssente bazimulekedde kugulamu mmere. Okusinzira ku OC we Kasubi William Ngabirano omwana asangidwa mu nyumba ya neyiba ategerekeseeko erya […]
Munyikire okulima- Ssabasajja akunze abantu be
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri akubirizza abantu be Bugerere okunyikira okulima enyo okusobola okwejja mu bwavu. Bino Beene abyogedde alambula omusiri gw’emmwanyi wali mu gombolola ye Busaana gyali okulambula kati. Luno lunaku lwakubiri nga ssabasajja alambula essaza lye erye Bugerere nga olwajjo […]
Asobezza ku muwala ate omusajja atemyeeko nazaala omukono
Poliisi e Kamuli ekutte omusajja eyakkakkanye ku muwala we n’amusobyako okwesasula fiizi ze yamuwa okugenda ku ssomero. Vincent Musiro omusomesa ng’atemera mu gy’obukulu 60, era omutuuze we Namwendwa Kamuli y’akwatiddwa. Ono yayise muwala we owa siniya ey’okubiri mu kisenge kye n’amusobyako era olwakwatiddwa kwekutegeza ng’ono […]