Amawulire
Makerere batikkira- abazadde basabiddwa okusosowaaza eby’enjigiriza
Ettendekero ly’e Makerere liwereddwa amagezi okussa essira ku bintu ebinaavamu ensimbi mu pulaani zaalyo ezo mu maaso. Kino kyakulisobozesa okufuna ensimbi ezinaddukanya emirimu egy’enjawulo ku ttendekero lino. Omulanga guno gukubiddwa amyuka ssenkulu w’ettendekero lino Prof. Mondo Kagonyera bw’abadde ayogerera ku matikkira g’abayizi i wali ku […]
Ssabasajja atandise emikolo gya leero
Ssabassajja asimbudde okuva mu lubiri lwe ku ssaza e Ntenjeru gyeyasuze. Ayolekedde olusuku lw’agenda okulambula olwaleero nga tannatongoza kyuuma kya mwaanyi e Busaana. Ayambadde suuti ya kitaka n’ettaayi ya kitaka. Olunaku olwaleero Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II ayingidde olunaku olw’okubiri ng’alambula essaza […]
Obumu geemanyi- Kabaka
Ssabasajja kabaka empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri agamba nti ekituusizza Buganda ku buwanguzi e Kayunga bubadde bumu. Omutanda era agamba nti n’abantu benyini bamanyi kyebagala. Bino maaso moogi abyogeredde ku gombolola ye Bbale nga akomekkereza emikolo gy’olunaku lwe olusoose e Bugerere. Omutanda agambye […]
Pulezident Museveni akyalemeddeko ku kweyimirirwa
Pulezidenti Museveni akyasibidde weyali ku nsonga z’okweyimirira abantu. Ng’aggulawo olukungaana lw’abalamuzi olw’ennaku ettaano, pulezidenti agambye nti okweyimirira abantu abazizza ogw anaggomola kuba kucokooza bantu Asonze ku misango nga ettemu, okusobya ku baana abatannaba kwetuuka kko n’okulya mu nsi olukwe ng’agamba nti emisango gino minene nnyo […]
Mu syria basibaganye enkalu
Abavuganya ne gavumenti mu ggwanga lya Syria basibaganye enkalu mu nteseganya ezigenda mu maaso Kiddiride aba gavumenti obutakkiririza mu kya kusaawo gavumenti ya kiseera ng’enjuuyi bwezetereeza okuzza eggwanga ku mulamwa Enjuuyi zombie era zikyagaanye okukaanya ku ky’okukolera omukulembeze ali mu ntebe bashar Al Assad. Eggwanga […]
Abatali ku lukalala mulinde omwaka ogujja
Abayizi be Makerere abatali ku lukalala lw’abalina okutikkirwa basabiddwa okugumikiriza okutuuka omwaka ogujja Kiddiridde abayizi abamu okutandika okwemulugunya nti tebali ku lukalala lw’abagenda okutikkirwa olunaku lw’enkya Omwogezi w’ettendekero lino Ritah Namisango agamba nti abatali ku lukalala tebamalangayo fiizi ate abalala balina empappula zebaagwa nga […]
Ssabassajja atongozezza okugema abaana
Ssabassajja Kabaka atongozezza enteekateeka y’okugema abaana . Kawefube ono amutongolezza ku ddwaliro lye Kayunga ng’egimu ku mikolo gy’amakulambula kwe e Bugerere. Ssabasajja eno era agabidde abalwadde emifaliso n’abasaasira nako. ssabasajja bw’avudeyo eno eyolekedde bbaae gy’agenda okwogerako eri abantu. Omutanda guno gwegusoose okugenda e kayunga bukyanga […]
Ssabasajja kabaka atuuse a Kayunga
Ssabassajja Kabaka atuuse e Bugerere. Mbuutu na ssanyu ng’abantu bakwatiridde ku makubo okumwaniriza.
E Bugerere abasuubuzi banoga
Abasuubuzi by’ebyamaguzi ebitali bimu e Bugerere bali mu keetalo ng’abantu bagula ng’abawendule Ebisinga okutunda bye by’okulya, eby’okunywa, n’ebirala ebikwata ku Buganda nga baaji n’obukofiira. Gwo omwenge omugand an’omuzungu gutunda kiralu ng’abantu baakedde kwesiwa magengere. Ku lutindo ssezzibwa abantu bayitirivu nga ekitundu kyonna kikwtairidde balinda mu […]
Abapangisa bakuwandikibwa
Abapangisa bonna mu disitulikiti ye Mubende bakuwandikibwa. Kino kigendereddwaamu kukendeeza ku misango gy’ettemu n’ettemu egisusse mu distulikiti eno Mu ngeri yeemu n’amabaala gonna ssigakukola kusukka ssaawa ttano ez’ekiro. Bino bituukiddwaako mu lukiiko lw’eby’ebyokwerinda olutegekeddwa poliisi n’abatuuze AKulira ebikwekweto e Mubende Dan Ampadde agamba sabye abantu […]