Amawulire
Enguuli emusse
Omusajja eyeetabye mu mpaka z’okunywa Waragi kati z’embuyaga ezikaza engoye Emmanuel Sserwadda wa myaka 50 ng’abadde mutuuze ku kyaalo Kyakanyomozi ekisangibwa mu disitulikiti ye Lwengo. Omusajja ono empaka zino yazeetabyeemu olunaku lwajjo era nga kigambibwa okuba nga yenyedde liita za Waragi kkumi nga talidde Baliranwa […]
Goonya ziridde omwana
Poliisi mu ggwanga lya Australia ekubye gonya 2 amasasi agazitiddewo oluvanyuma lwa goonya emu okubwebwena omulenzi owemyaka 12. Omwana ono abadde awuga ne banne goonya n’emulya. Wabula bagenze okubaaga goonya zino nga omwana talimu era poliisi ekyagenda maaso n’omuyigo ku goonya endala .
Obulwadde obutategerekeka busse 6
Ekirwadde ekitanategereka wabula nga kyefaninyiriza ekya Kkolera kibaluseewo mu disitulikiti ye Hoima nga kati 6 beebakafa. Bbo mwenda bali mu mbeera mbi mu ddwaliro ekkulu e Hoima. Atwala eby’obulamu mu district eno Fred Yenume agamba ekirwadde kino kyasookedde ku kyalo Kiyoola mu gombolola ye Bugambe. […]
Ssabasajja e Bugerere- Mbuutu na ssanyu
Wowulirira bino nga ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II atandise olugendo lwe okwolekera essaza lye erye Bugerere gyeyasiimye okulabikako. Kyo ekiri e Kayunga kissa kinegula nga abayo balindiridde okukuba eriiso ku maaso moogi. Embuutu z’ezivuga nga nabamu batandise dda okukongojja omumbejja Namaalwa. Olunaku […]
Mukomye okwebaka obwebasi-Museveni
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asoomozezza abasoga okukoma okwebaka obwebasi , ng’emikisa gy’enkulakulana gibayitako. Pulezident okwogera bino abadde ku kitebe kya disitulikiti ye Mayuge, ku mikolo egy’okukuza ameenunula ga Yuganda, ag’omulundi ogw’a 28. Pulezidenti agambye nti waliwo enkulakulana nyingi z’asindikidde abantu mu buvanjuba bw’eggwanga […]
Akabenje katuze bataano e Kayunga
Abaana bataano bafiiride mu kabanje akagudde ku luguudo olugatta Kayunga ku Bbale, mu kiro ekikeesezza olunaku olwaleero. Akabenje kagudde ku kyaalo kitwe ,ekimokota Number UAT 279T nga kitambuzza bikajjo, bwekiremeredde omugoba waakyo nekisogonyola abaana bano. Abafudde kuliko kagimu Hadad, Nambi mary,n’abalala basatu. Ayogerera police mu […]
Babiri bafudde- Namatovu ne Lutaaya bagattiddwa
Abantu 2 ababadde bava ku kasiki k’omuyimbi Geofrey Lutaaya bagudde ku kabenje e Kakuuto mu district ye Rakai nebafiirawo. Bano babadde batambulira ku piki piki era nga batomedwa Taxi ebadde ewenyuuka obuweewo. Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti ababiri abafudde babadde ku pikipiki edduka emizibu nga bano […]
E Bugerere keetalo
Ng’ebula olunaku lumu lwokka omutanda alambule essaza lye erye Bugerere, ab’ekibiina ekya Redcross basabiddwa okusindika abantu baabwe e Kayunga ng abukyaali Ssabasajja agenda kutandika okulambula abe Bugerere okuva ku bbalaza okutuukira ddala olw’okusatu ng’atongoza ebintu ebitali bimu omuli nolutalo ku bwaavu ngakubiriza abaayo okulima […]
Pulezidenti ayawukanye ne Mukyala we
Omukulembeze w’eggwanga lya Bungereza Francoise Hollande akadde konna agenda kulangirira mu butongole nti ayawukanye ne mukyala we Valerie Kino kiddiridde ebyafulumidde mu mpappula z’amawulire ngaa biraga nti omukulembeze ono abadde akukuta n’omuzannyi wa firimu. Hollande teyagaanye kuganza munakatemba ono Julie Gayet kyokka ng’akkiriza nti obufumbo […]
E Misiri ttiyagaasi anyooka
Poliisi e Cairo mu Misiri ekubye omukka ogubalagala okugugumbulula abantua babadde beekalakaasa . Bino bizze ng’eggwanga lino lijaguza okuweza emyakka 3 bukyanga mukulembezee Hosni Mubaraka amamuulwa ku ntebe Abawagizi ba gavumenti n’abagivuganya okuva mu kibiina kya Muslim Brotherhood bonna babadde batuuse ku nguudo mu ngeri […]