Omuwendo gw’abaana abasobezebwako mu district ye Kamuli gweyongedde okulinya.
Omwaka oguwedde abaana 460 bebasobezebwako ate emisago 153 egyekuusa kubutabanguko mu maka gyegyalopebwa ku polisi.
Akulira ekitongole kya polisi ekikola kunsonga z’abaana mu district ye Kamuli Richard Kagoda agambye nti ebikolwa bino biziza nyo abaana emabega nadala mu kusoma.
Kagoda agambye nti abazadde bangi balwawo okuloopa emisango byokusobya ku…
Eddwaliro lya Case Medical erisangibwa ku luguudo lwa Buganda Road liri mu kattu lwa mwana afa.
Bazadde b’omwana ono Anthony Mutyaba ne Justibe Nassimbwa bakubye eddwaliro lino mu mbuga z’amateeka nga bagaala kuliyirirwa olw’omwana waabwe eyafa mu ngeri gyebayita ey’obulagajjavu
Omukyala ono agamba nti yalina olubuto nga lwa myezi mukaaga n’atandika okulumwa era bwatyo yaddusibw amu ddwaliro…
Eyali ssekangale w'ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigyea azzeemu okukwatibwa poliisi bw'abadde agezaako okuva mu makaage e kasangati.
Tekinatagerekeka wa Besigye gyatwaliddwa era lwaki akwatiddwa.
Ebisingawo tugenda kubibatusako .
E mubende abakungubazi ababadde bagenda okuziika abafu 2 okuva mu nyumba emu babunye emiwabo oluvanyuma lwa poliisi ekkakanya obujagalalo okuyiibwa mu kitundu ekyo.
Bino bibadde ku kyalo Momo era emirambo bagisudde eri nebeyokya ensiko nga ekyalo kusigaddeko baana bato.
Akulira ebikwekweto e Mubende Afande Dan Ampadde ategegezezza nti babadde bagala kukwata abamu ku bakungubazi abakidde mutuuze munabwe…
omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni atongozza enkola enayamba abavubuka okwejja mu bwavu.
Munkola eno gavumenti yakweyimirira nga abavubuka okwewola ebintu ebivamu jamba nga emmotoka, ebikozesebwa mu kulima n’ebirala bekulakulanye.
Museveni ategezezza nti kino kijja kuyamba abavubuka okuva mu kukuba emisota ku byalo bekolere bejje mu bwavu
ono yewanye nti ssente si ky'ekizibu wabula engeri y’okuzituusa eri abantu wewali okusomozebwa…
Akatale ke Wandegeya kagulwawo olwaleero mu butongole era abasuubuzi bakutandika okukakalabya egyabwe.
Bano bamaze kukiriziganya ku ndagaano y’obupangisa n’ekitongole kya KCCA gyebali basimbidde ekkuuli nga bagamba nti ebyalimu byali bibanyigiriza.
Bano era babadde bemulugunya nti akatale kabadde tekanaggwa nga emidaala egisinga gibadde gikyazimbibwa.
Wabula betemye engalike nga bagamba bamaze ebbanga nga tebakola era nga bafiirwa, kwekusalawo okupondooka beyune…
Nga essaza ly'ebugerere liwuuma olw’okukyala kwa Ssabasajja Ronald Muwenda Mutebi II,abazadde mu ssaza lino poliisi ebalabudde okuteka eriiso ejoji ku baana babwe baleme kubula mu kwaniriza omutanda.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Judith Nabakooba agamba nti mu bikujuko nga bino poliisi efuna emisango gy’abaana ababa babuze mingi olw’obulagajavu bw’abazadde.
Nabakooba agamba abazadde batunule nkaliriza okwewala abaana bano…
Poliisi eyongedde okuyiibwa ku ttaka erikayaanirwa e Nakigalala
Ssabbiiti eno abantu abasoba mu 70 beebalumba ettaka erigambibwa okuba nga lya mugagga Madhvani nebakuba abaliriko olwo nebalyezza
Wabula akulira poliisi ye Kajjansi Edson Muganzi agamba nti tebagenda kwamuuka ttaka lino okutuusa ng’enkayaana zino ziwedde
AKulira abakozi mu kampala, Jennifer Musisi awakanyizza ebigambibwa nti abakozi mu kitongole ky’akulira babayisa manju okutuuka mu mirimu gyebalimu.
Ono abadde mu kakiiko ka palamenti akabalirira ensimbi z’omuwi w’omusolo akali mu kunonyereza ku mivuyo mu KCCA.
Ababaka abatuula ku kakiiko kano bagamba nti okuyingiza abantu mu KCCA tekikolebwa ku lwa busobozi wabula byafuuka bya mwana waani
Jennifer Musisi…
Ebya Bad Black byo kirabika byafuuka namulanda
Kati ate waliwo abamukubye mu mbuga z’amateeka nga bamubanja obukadde 105
Abamubanja bawozi ba ensimbi nga bayise mu Ismail l Mpanga Bumba nga bagamba nti nga 11th omwezi gw’ekkumi mu mwaka 2011 bawoola Black ensimbi zino ezaali ez’okussa erinnya lye ku mmotoka ye kika kya Benz.
Yabasuubiza nti agenda kubasasula naye…