Amawulire
Obuzigu
Poliisi e Kawempe ekutte abantu mukaaga abagambibwa okuba abazigu Bano babadde babba kkampuni ensogozi y’omwenge ogwa Buddu Distillation Company era nga babasanze bakyagutikka3 Omwogezi wa polisi Ibin Senkumbi agamba nti ababbi bano beekobaanye n’abakuumi kyokk aomu ku bbo n’abavaamu Ssenkumbi agamba nti bano bagenda kuggulwaako […]
Enjala etandise okutta abantu
Abakulembeze mu disitulikiti ye Lwengo bawanjagidde gavumenti okubayamba ku njala abazinzeeko. Enjala eno yakatta abaana basatu nga n’emmere yenyini teriiwo. Omubaka akiikirira abantu be Bukoto mu bukiikakkono, Mathius Nsubuga agamba nti bamaze okutegeezaako minisitule ekola ku bigwa bitalaze okuddukirira abantu baabwe Kyokka ono asabya […]
Eyali Omubaka Kanyike afudde
Eyali omubaka akiikirira abantu be Buikwe mu bugwanjuba William Kanyike afudde Afiiridde ku ddwaliro lya Cardic e Bukoto gy’abadde ku kitanda okumala akabanga Kanyike aludde ng’atawanyizibwa ekirwadde kya sukaali ne puleesa . Ono yakiika mu palamenti ey’omukaaga era nga yeeyali akulira akakiiko akakola ku by’obulimi.
Njegula ye Taata wa Bitama
Kikakasiddwa nti Peter Njegula ye taata wa Paddy Bitama. Ebifulumizza okuva mu musaayi biraga omusaayi gwa Njegula gukwatagana n’ogwa Bitama. Abakozi okwekeneenya omulambo gwa Bitama nga bakulembeddwaamu Moses Byaruhanga Baganda ba Bitama nabo beeyamye okubakeberera obwereere. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Ibin Ssekumbi agamba […]
Omuliro gukutte amayumba
Abantu okuva mu maka agasoba mu 10 e Bwaise mu zooni ye kimombsa bali mu kwemagazza oluvanyuma lw’omuliro ogusanyaaqwo buli kamua kaabwe Omuliro guno gukutte nga ku ssaawa mwenda ez’ekiro. Tekinnategerekea oba omuliro guno gwavudde ku ki nay engabantu bagamba nti kirabika waliwo ow’omutima omubi […]
Kasibante azzeemu okukwatibwa
Omubaka akiikirira abantu be Lubaga mu bukiika kkono Moses Kasibante azzeemu okukwatibwa Ono abadde ayimbuddwa oluvanyuma lw’okweyimirirwa ku bukadde bw’ensimbi 3 ezabuliwo n’abamweyimiridde okuli mubaka munne Medard Lubega Ssegona ne kansala w’eLungujja Baluddewo Sam ku bukadde 50 buli omu ezitali zabuliwo. Wabula omubaka wa municipali […]
Kasibante Ayimbuddwa
Omubaka w’amambuka ga Rubaga Moses Kasibante awonye ekomera. Ono yeyimiriddwa ku bukadde bw’ensimbi 3 ezabuliwo nabamweyimiridde okuli mubaka munne Medard Lubega Ssegona ne kansala w’eLungujja Baluddewo Sam ku bukadde 50 buli omu ezitali zabuliwo. Ye Loodi meeya wa kampala Erias Lukwago n’omubaka wa […]
Ebigezo bifuluma mwezi guno
Ekitongole ekikola ku by’ebigezo mu ggwanga ekya UNEB kitegeezeza nga bwekigenda okufulumya ebyava mu bigezo by’eky’omusanvu ku nkomerero y’omwezi guno. Omwogezi w’ekitongole kino Hamis Kaheru agamba buli kyetaagisa kiwedde nga essaawa yonna bakufulumya ebigezo bino obutasukka mwezi guno. Ono agamba nti ebibuuzo bino byandibadde byafulumizibwa […]
Okukusa abantu- 3 bakwatiddwa
Abasajja basatu abagambibwa okukusa abntu bakwatiddwa Bano kigambibwa okuba nga babadde basuubiza abantu okubatwala ebweru okubafunira emirimu naye nga bamala nebabatunda ebweru nebakozesebwa Akulira ekibinja kya poliisi ekirwanyisa okukusa abantu, Moses Binoga agamba nti bano kigambibwa okuba nti babadde bakakikola abantu abasoba mu 100 webabakwatidde.
Afudde tannafuna mulimu
Omusajja abadde agezaako okufuna omulimu mu poliisi agudde eri n’afa. Jacob Owere wa myaka asatu ng’olwaleero abadde ku kigezo kyakudduka misinde okukakasa nti abadde yesobola Wabula ono mu kudduka atandise okuwulira obubi era bw’atyo n’agwa wansi Bamuyoddeyodde okumuddusa e Mulago kyokka ng’afudde yakatuuka. Okusinziira ku […]