Amawulire
Gavumenti esaze ebbeeyi y’amasanyalaze
Bannayuganda bakufuna akamwenyumwenyu ku matama oluvanyuma lwa gavumenti okusala ku bbeeyi ya masanyalaze. Kati aga waka omuntu wakusasula 520.4 okuva 524.5 nga ate bbo abagakozesa emirimu bakusasula 474.7 okuva ku 487.6. Bwabadde alangirira enkyukakyuka zino minista omubeezi ow’ebyamasanyalaze Peter Lokeris agamba gavumenti era ekyateekateeka kukola […]
Poliisi esazeeko amaka ga Lukwago,abavubuka beswanta
Oluvanyuma lw’okuwera okutambula n’abawagizi okutuuka mu ofiisi ye ku city Hall, poliisi esazewo okusalako amaka ga loodi meeya Erias Lukwago. Yadde nga poliisi yamulabudde obutageza kulinya kigere mu kibuga , Lukwago yaweze nti ketonye ka gwake wakwolekera ofiisi ye olunaku olwaleero . Aba poliisi abasoba […]
Ebya Bitama biranze
Omulambo gwamunakatemba Paddy Bitama guddiziddwaayo mu ddwaliro ekkulu e Mulago okutuusa nga enkayana ku wa gyalina okuzikibwa ziwedde. Kino kiddiridde Peter Njegula okulemerako ng’akayakayanira omulambo gwa paddy gwagamba nti mutabani we. Ono ayagala basooke bakebere omusaayi bakakase kino nga era okuziika kwakugira nga kulinda. Njegula […]
Amasomero mu kampala mangi gakaabya
Kawempe, Makindye e Rubaga ze divizoni ezisingamu amasomero agatatukagana na mutindo. Aba KCCA beebategeezezza bino nebawera okuggala ago gonna amafu Akulira ebyenjigiriza mu KCCa, Anne Galiwango, agamba nti amasomero agasoba mu 2000 geegagwa mu kkowe lino nga n’agamu tegalina licence Galiwango agamba nti essomero lyonna […]
Aba boda beerwanyeeko
Abagoba ba bodaboda basitukiddemu okulwanyisa ababakuba obutayimbwa Bategese olukiiko olugenda okwetabwaamu ne pulezidenti museveni okulaba nti bafuna eky’okuddamu eri abazigu bano Wansi w’ekibiina ekibagatta ekya Bodaboda 2010, bagamba nti abantu ababakuba obutayimbwa bategeke bulungi era nga kakukuulu akeetaga okukwatira awamu okukasanayaawo. Akulira ekibiina kino Deus […]
Mukome ku biloole
Abagoba ba taxi mu kibuga bazzeemu okusaba poliisi okukoma ku biloole okuyingira ekibuga Kiddiridde kiloole okutta abantu 7 e Wakaliga ate nga munaana bali mu ndiri bataawa Akulira aba taxi bano Mustafa Mayambala agamba nti beimotoka bino bya bulabe nnyo naddala mu biseera by’okumakya n’akawungeezi […]
Agambibwa okusiiga abaana siriimu agguddwaako emisango
Omusawo agambibwa okufumita abaana ba banne empiso n’ekigendererwa ky’okubasiiga mukenenya agguddwaako emisango. RoseMary Namubiru kigambibwa okuba nga yakozesa empiso neyejjamu omusaayi olwo n’agukuba mu baana abato. Omukyala ono mutuuze e Seguku-Nsalo zooni ku luguudo lw’entebe. Oludda oluwaabi lugamba nti ng’ennaku z’omwezi 7 omwezi guno, Namubiru […]
Omubaka Moses kasibante akwatiddwa
Omubaka akiikirira abantu be Lubaga mu bukiikakkono Moses Kasibante akwatiddwa. Kasibante bamukutte ava ku poliisi ya kampala mukadde gy’abadde agenze okweyanjula . Ono assiddwa mu mmotoka kabangali ebaddemu abasajja abali mu leeya nga bavuze boolekera oluguudo lwe Hoima. Omubaka akiikirira municipaali ye Mukono, Betty Nambooze […]
Abe Kalerwe basobeddwa
Abasuubuzi bomu katale ke Kalerwe basobeddwa eka ne mu kibira. Nga bakyanyiga biwundu olw’akatale kaabwe okukwata omuliro ,kati ate enkayaana z’ettaka zibaluseewo. Kino kiddiridde amawulire agafulumye ng’erimu ku ttaka okutuula akatale kano bweryatundibwa nga era ab’okusinga okukosebwa beebakolera mu zooni emanyiddwa nga Mutebi. Abamu ku […]
Bannekolera gyange bagaanye ebye South Sudan
Ekibiina kya banekolera gyange kisimbidde ekkuuli ekiteeso ky’okuteekawo amakubo amalala omunatambuzibwa ebyamaguzi okutuuka munda mu ggwanga lya South Sudan. Abamu ku bekikwatako babadde bateesa bakole kino olw’olutalo olugenda maaso munda mu ggwanga lwa South Sudan okusobozesa eby’obusubuzi okugenda maaso abasubuzi nga beewala amakubo gali ewali […]