Amawulire
Yekoze obusolo mu kkooti
Abantu ababadde mu kkooti e Mbarara bawunikiridde omusajja abadde asimbiddwa mu kaguli bw’atandise okwekola obusolosolo. Ono akoze buli kimu abali mu mukwano kyebakola ng’alinga ali n’omukyala mu mukwano okutuuka lw’atuuse ku ntikko. Bangi batandise okubisoma nga bw’abadde yalogebwa. Omusajja ono omuvuzi wa bodaboda ategerekese nga […]
Omukyala asse bba
Poliisi e Kabale ekutte omukyala agambibwa okukuba bba enkumbi ku mutwe n’amutta Bino bibadde ku kyaalo Rutakyengwa mu ggombolola ye Hamurwa Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate agambye nti omugenzi ategerekese nga Keresensio Bigambo,ow’emyaka 48. Yye omukyala agambibwa okumutta ye Asumputa Musimenta. […]
Omutanda agenda Kayunga nga 27 omwezi guno
Kimaze okukakasibwa nti Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi wakuba mutaka e Kayunga nga 27 omwezi guno. Ssabasajja essaza lye lino wakulimalamu ennaku ssatu nga yetaba ku mikolo egitali gimue gitegekeddwa. Omwogezi wa Buganda owek. Denis Walusimbi Ssengendo akkakanyizza emitima gy’abantu ku by’okwerinda by’omutanda […]
Abe Katwe bekalakaasizza lwa masanyalaze
Poliisi eyitiddwa bukubirire mu bitundu bye Katwe, okukakkanya abatuuze ababadde beekalakasa olw’amasanyalaze. Abatuuze bazibye amakubo wamu n’okwokya ebipiira, oluvanyuma lw’okumala wiiki 2 nga tebalina masanyalaze. Aduumira polisi ye Katwe Ibrahim Saiga agambye poliisi etandise okuteesa n’abakulira ekitongole kya UMEME okuzza embeera mu nteeko.
Owa Kinyeenya mutwe afudde
Omu ku bantu ababadde batawanyizibwa ekirwadde kya kinyeeya mutwe kiyite nodding disease afudde Abbey Betty nga wa myaka 18 afiridde mu disitulikiti ye Kitgum. Abantu abalina obulwadde buno basoba mu 7000 nga bali mu disitulikiti omuli eye Kitgum,Pader Gulu n’endala eziri mu bukiikakkono. Omubaka omukyala […]
Omusuubuzi attiddwa, omulala afudde mwenge
Poliisi e Mbarara eri ku muyiggo gw’abazigu abalumbye omusuubuzi nebamukuba amasasi agaamusse . Bano era balumizza n’omukyala omulala gweyabadde atambula naye. Bino byabadde mu kabuga ke Buteraniro ku luguudo oluva e Mbarara okudda e Kabale. Omwogezi wa poliisi ye Rwizi, Polly namaye agambye nti omugenzi […]
kalungi talina musango
Bannamateeka abawolereza eyali muganzi w’omubaka Cerina Nabenda basabye kkooti emwejjereze kubanga talina musango. Bano abakulembeddwaamu Nsubuga Mubiru ne Macdusman Kabega bagambye nti Nebanda teyali mwana muto kukozesa biragalalagala ebyogerwaako nga tategeera Bino babyogedde bafundikira omusango guno nga buli luuyi luwaddeyo ebyaalwo. Bbo bannamateeka abalumiriza Adam […]
Palamenti eyitibwe ku bye South Sudan
Ababaka ba palamenti babaze ku mulimu gw’okunoonye emikono egisaba nti ababaka bave mu luwummula lwebalimu bateese ku nsonag ze South Sudan Omubaka wa Jinja y’omu buvanjua, Paul Mwiru ne munne Hassana Kaps beebakulembeddemu omulimu guno nga bagamba nti ensongaza eziri mu South Sudan Nkulu kale […]
Bannayuganda bazzeeyo e Juba
Yadde ng’emundu ziseka e South Sudan, bannayuganda batandise okuddayo. Bannayuganda bangi bakooye embeera eri kuno nga basazeewo okuddayo banoonye ensimbi Baasi ezaali zitakyalina ba kasitoma kati bayitirivu ea nga basuubira nti bajja kweyongera. Omu ku bakozi mu kkampumi ya Bakulu coaches asabaaza abantu, Fathil Wagala […]
Poliisi esse ekitiibwa mu kkooti
Gavumenti esabiddwa okussa ekitiibwa mu kusalawo kwa kooti ku kya Erias Lukwago okusigala nga Loodi Meeya. Kino kiddiridde poliisi okulinya eggere mu lukungaana Lukwago lweyabadde alina okukuba olunaku lwajjo ng’etegeeza nga ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi bweyabawabudde nga Lukwago bwatakyali mukulembeze wa kampala. Omubaka wa […]