Amawulire
Olukiiko lwa KCCA n’aba Taxi lugudde butaka
Ab’ebyokwerinda okuva mu zi paaka za taxi ez’enjawulo mu Kampala bavudde mu mbeera oluvanyuma lw’okulemesebwa okuyingira ekitebe kya KCCA ku city Hall okusisisnkana omubaka wa presidnti mu kampala Mpimbaza Hashaka. Bano bagamba baayitibwa RDC Mpimbaza Hashaka okuteesa oluvanyuma lw’okwemulugunya ku b’akakiiko ka KCCA ak’ekiseera abateekebwa […]
Omwaka omuggya- Ssabassajja Kabaka, Museveni bawadde obubaka
Ekibuga Kampala mu kiro ekikeseza olunaku lwalero kibutikidwa okubwatuka kw’ebiriroriro, nga bana Uganda baniriza omwaka omujja ogwa 2014. Amasizizo, wamu n’ebifo ebisanyukirwa,bikubyeko bugule,ng’abantu basanyukira omwaka omujja. Ebifo omuli ekisaawe ekye Nakivubo, Namboole, Sheraton hotel, Bat valley primary school n’ebirala byebisinze okubeeramu abantu abangi Abantu abamu […]
Bannayuganda banunuddwa
Bannayuganda abasoba mu 750 beebanunuddwa okuva mu ggwanga lya South Sudan Abanunuddwa bajjiddwa mu kibuga Bor gyebabadde baagumba ku nkambi y’ekibiina ky’amawanga amagatte Omwogezi wa minisitule ekola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Fred Opolot agamba nti baasi zeeziyambyeeko okusomba abantu bano era nga zakusigala nga zikola […]
Congo gavumenti kata bagiwambe
Mu gwanga lya congo agavaayo gooleka nga bwewabaluseewo okulwanagana okw’amaanyi mu kibuga kikulu Kinshasa. Abayekeera wetwogerera nga bamaze okuwamba TV ne Radio y’eggwanga ,kko n’ekisaawe. Abavubuka ababakanye n’ebissi omuli n’emmundu bawambye bannamawulire bonna Bwebatuuse ku kisaawe bakubye amasasi ag’okumukumu era nga bamaze okukyezza Wabula omwogezi […]
Lukwago atendewaliddwa
Loodimeeya Erias Lukwago agobye abakuumi be. Obuzibu buvudde ku nsimbi nga takyalina zibayimirizaawo. Ng’ayogerako eri bannamawulire, Lukwago agambye nti emmotoka abaasirikale bano mwebaali batambulira yafa kyokka olw’agitwaala okugikola n’ewambibwa. Okuva olwo y’abadde abalabirira ng’akozesa emmotoka ye okubasomba buli ku makya n’akawungeezi kyokka ng’atendewaliddwa olw’obutafuna musaala […]
Aba taxi beekalakaasizza
Abagoba ba taxi abakedde okwekalakaasa kyaddaaki bakkakkanye nebadda ku mirimu gyaabwe. Bano babadde bawakanya y’omuggagga agambibwa okuzimba mu kkubo erifulumya motoka ekikosezza eirimu gyaabwe Poliisi ne KCCA bamaze nebabiyingiramu era nebasalawo nti obuyumba bumenyebwe KCCA eragidde nti obuyumba obwogerwaako bwonna bumenyebwe aba taxi bano basobole […]
Okutulisa ebiriroriro- KKampuni 300 zezzifunye olukusa
KKampuni ezisoba mu 300 zeezikkiriziddwa okutulisa ebiriroriro okwaniriza omwaka omuggya Poliisi era ayisizza amateeka amakakali nga teri kuyisa mu ddakiika ttaano ng’ebiriro bino bivuga Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agamba nti bagenda kussaawo abaasirikale baabwe abanabaawo okulaba nti tewabaawo kumenya mateeka
bannaddiini bawanjaze ku tteeka ku bisiyaga
Pulezidenti museveni asabiddwa okussa emikono ku bbago ly’etteeka erivumirira obuli bw’ebisiyaga. Akulira abasumba b’abalokole, Omutume Dr. Joseph Serwadda agamba nti pulezidenti asaanye okukyusaamu wa w’ayimiridde ku nsonga z’ebbago lino. Kino kiddiridde pulezidenti museveni okutegeeza ng’okuyisa etteeka lino bwekwayanguyirizibwa mu palamenti Omutume Serwadda agamba nti ebbago […]
Mu China tekyaali kuzaala omu
Kyadaaki gavumenti ya china ekirizza abafumbo okuzaala abaana abasukka mwomu. Etteeka eribaddewo nga buli bafumbo akkirizibwa okuzaala omwana omu yekka nga era okukukwata nga ozaala nga akamyu omalira mabega wa mitayimbwa n’okusasula ngassi. Olukiiko olufuga ekibiina ekiri mu buyinza ekya National People’s Congress lwelukoze enongosereza […]
Okuwandiisa abagala okwegatta ku maggye kujjumbiddwa
Ebikumi n’ebikumi by’abantu okuva mu bitundu bye Rwenzori beebeyie mu barracks ze Muhoti mu kuwandiisa abajaasi b’eggye ezizibi mu district ye Kabarole. Omwogezi w’ekibinja ky’amaggye ekya 305 Lt. Ninsiima Rwemizuma ategezezza nga eggye lya UPDF bweriluubirira okuwandiisa abo abanyuka amaggye, n’ab’okubukiiko obukuuma ebyaalo 130. Agamba […]