Amawulire
Akabenje katuze bana
Abantu bana bafiridde mu kabenje k’emmotoka akagudde e kakinzi mu disitulikiti ye Luweero. Ki loole ekika kya TATA No.UAL 318 B kitomeraganye ne motoka Toyota Premio UAT 561 Q. Abafudde kuliko Alithum Bruce omusomesa wa yunivasite ye Nkumba , Tonny Kiisa owa banka ya […]
Omuzikiti gwa Spidika gumenyeddwa
Poliisi negyebuli kati ekyagumbye mu kisenyi awabadde omuzikiti gwa spidika ogukedde okumenyebwa. Abayisiraamu mu bitundu by’omu Kisenyi bakeredde mu kiyongobero oluvanyuma lw’abampi n’abawanvu okuyiibwa ku muzikiti guno oguludde nga gukayaanirwa Abakulira omuzikiti guno n’abagusaaliramu bakaayana n’omugagga John Bosco Muwonge eyafuna ekiragiro kya kkooti ekikkiriza nti […]
Bbebi abbiddwa
Poliisi e Mbarara etandise okubuuliriza ku mukyala ow’emyaka 32 agambibwa okubba omwana. Grace Kiconco omwana ono kigambibwa nti yamubbye ku mukyala eyabadde yakazaaala nga bamulongoosezza bulongoosa Amyuka akulira poliisi enonyereza ku buzzi bw’emisnago, Justus Mbaramye agambye nti omukyala ono bamukwatidde Lukaya ngatwala omwana ono era […]
Abasoba mu 1000 beebakafa mu South Sudan
Olutaalo mu ggwanga lya South Sudan lukyagenda mu maaso n’okukwajja era nga terutarizza bantu ba bulijjo. Okusinziira ku kibiina ky’amawanga amagatte , abantu abasoba mu lukumi beebakafiira mu kulwana okuli wakati w’amaggye ga gavumentui n’ago agawagira eyai amyuka omukulembeze w’eggwanga lino Riek Machar Kati akola […]
Mwongere ssente mu kulwanyisa mukenenya-bannaddiini
Banaddiiini basabye gavumenti okwongera amaanyi mu kulwanyisa sirimu omwaka ogujja. Akulira ekitongole ekigatta banaddiini ekya Inter religious Council Bishop Jonah Lwanga agambye nti obulwadde bwa mukenenya bukyaali bungi era nga bwetaaga maanyi. Bishop Lwanga agambye nti essira lisaanye kussibwa ku kusomesa bantu ku kuziyizaamu mukenenya, […]
Obubaka bwa ssabasajja obwa sekukkulu
Ssabasajja kabaka wa Buganda asabye abaganda okwekuuma nga bali bumu. Mu bubaka bwe obwa sekkukkulu eri Obuganda, ssabasajja agambye nti mu kusoomozebwa okutali kumu, obumu kikulu nnyo. Obubaka buno ssabassajja kabaka obusundise eri abantu ng’ali ku mukolo gw’okutongoza enyimba za sekukkulu mu bulange emengo Agambye […]
Ekizimbe kiyiise- Babiri bafudde
Abantu babiri kikakasiddwa mu beebafudde ekizimbe bwekiyiise e Mukono. webuwungeredde nga poliisi yegattiddwaako ekibiina ekiddukirize ekya Redcross okubeera nga bataasa abantu bano abakoseddwa Akulira abaziinya mooto, Joseph Mugisa agamba nti abantu 7 beebafunye ebiwundu ebya maanyi kyokka nga baddusiddwa mu ddwaliro gyebijjanjabibwa Ekizimbe ekyayiise kisangibwa […]
Ababba ebyuuma by’eggaali
Poliisi mu kampala ekutte abantu 2 abagambibwa okuba nga babade babba ebyuuma by’eggaali y’omukka Amyuka omwogezi wa poliisi Patrick Onyango agamba nti abakwatiddwa ye Julius Biribawo ne Herbert Tumuhimbise. Agambye nti bano basangiddwa mu kiro nga bakukusa engano mu kyana ky’eggaali y’omukka Ono agamba nti […]
Bannayuganda 7 bakoseddwa e Sudan
Gavumenti etandise okuddusa bannayuganda abali mu ggwanga lya South Sudan Omwogezi wa minisistule ekola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Fred Opolot agamba nti amawulire gebafuna galaga nti bannayuganda 7 beebakakoseddwa era nga babasindikidde enyonyi okubakomyaawo ewaka okufuna obujjanjabi Ono agamba nti enyonyi zino era zigenda kusomba […]
Omwana afiiridde mu muliro
Omwana ow’emyaka 3 agyiridde mu nju. Jonathan Mukwasi yeeyafiiridde mu muliro ogwakutte enju era nga teyasobodde kulutonda Ayogerera poliisi mu bitundu bye bulambuli awabadde ekikangabwa kino , Diana Nandawula agamba nti akabenje kano wekagwiriddewo nga maama w’omwana agenze ku kaduuka Omuliro guno gwavudde ku musubbaawa