Amawulire
Teri kuvuga nga munywedde
Poliisi erabudde ba dereeva abagenda okwekamirira enkangali mu nnaku enkulu ate bamale bavuge , nti baakukwatibwa. Akulira poliisi y’ebidduka mu ggwanga Dr. Steven Kasima , agamba abanakwatibwa bakumala ebbanga erisukka mu wiiki mu buduukulu , kubanga kooti zijja kuba ziwumudde nga ate baba balina okuvunanibwa […]
Omuwala eyasobezebwaako aba pakistani akyaali bubi
Ababaka ba palament abakyala nate bazzeemu okusaba okufulumizibwa kwa alipoota ekwata ku muwala eyakakibwa omukwano ng’abakikola bannansi ba Pakistan Kino kiddiridde ababaka bano okukyalirako omuwala ono agambibwa okuba nga yasuulibwaawo bannabibiina by’obw annakyeewa abaali bakola ku nsonga ze Omubaka akiikirira ekibuga kye Mbarara Emma Boona […]
Bannamawulire balemereddwa okulonda
Okulonda kw’omukulembeze w’ekibiina ky’abanamawulire mu gwanga ekya Uganda journalist association kwongezeddwaayo. Kiddiridde omu ku babadde beesimbyeewo okwemulugunya ku lukalala lw’abalonzi ng’agamba nti abasinga ssi bannamawulire Mu ngeri yeemu wabaddewo n’okwemulugunya nti bannamawulire ab’olulango tebabadde ku lukalala lw’abalonzi Oluvanyuma abeesimbyeewo bonna bakkiriziganyizza nti okulonda kuyimirire okutuusa […]
Nabagereka ku nkuza y’abaana
Maama wa Buganda sylivia Naginda agambye nti enkulakulana eya namaddala teyinza kutuukibwaako awatali bakulembeze babuvunanyizibwa nga ate bakola nga eky’okulabirako ekirungi eri abalala. Bino Nabagereka wa Buganda maama Sylvia Nagginda abyogeredde mu lukiiko lwa Buganda ttabamiruka olw’omulundi ogw’omukaaga olugenda mu maaso. Nabagereka tegezezza nga abakulembeze […]
Akatale ke Wandegeya tekagguddwaawo
Enteekateeka z’okuggulawo akatale ke Wandegeya zigudde butaka. Kiddiridde abasuubuzi mu katale kano okugaana okussa emikono ku ndagaano y’obupangisa ebakkirizisa okukayingira. Abasuubuzi bano bagamba nti ensimbi eziri mu ndagaano nyingi nnyo ate nga n’akatale kenyini tekannaba kuggwa Akulira eby’obutale mu KCCA, Harriet Mudondo agamba nti mu lukiiko lwebatuddemu […]
Poliisi eyodde abagambibwa okuba ababbi
Poliisi mu kibuga kampala eriko ekikwekweto ttokowenja ky’ekoze mw’eyoledde abagambibwa okuba abamenyi b’amateeka 95. Bano beebamu ku bagambibwa okuba nga babadde batigomya abantu mu kibuga n’emiriraano. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Judith Nabakooba agamba nti bakyasunsula abantu bano okujjamu abatalina musnago era ng’abantu 18 beebakasiibulwa. Nabakooba […]
Palamenti ekungubagidde Njuba, Semajege
Ababaka ba palamenti okuva mu bibiina by’obufuzi eby’enjawulo bakungubagidde omugenzi Sam Kalega Njuba mu lutuula lwa palamenti olwenjawulo. Ababaka b’amajje okuli Gen. Elly Tumwine ne Major Sarah Mpabwa, nabalala okuli Ibrahim Nganda ne Medard Ssegona batenderezza nyo omugenzi. Mu ngeri yeemu ne ssabaministe wa […]
Aba FDC bakungubagidde Njuba
Ba memba b’ekibiina kya FDC olunaku lwaleero bakungubagidde eyali ssentebe w’ekibiina kino Sam Kalega Njuba. Omulambo gwa Njuba gutuuse ku maka ga FDC e Najjanankumbi ku ssaawa musanvu olwo bannakibiina nebatandika okumukubako eriiso evvanyuma n’okutendereza ebirungi by’akoze. Bano beegattiddwaako bannabibiina ebirala. Akulira ekibiina […]
Aduumira amaggye ge Somalia
Amaggye ga African Union mu ggwanga lya Somalia gafunye omuduumizi omuggya. Lt. Gen. Silas Ntigurirwa okuva mu gwanga lya Burundi y’alondedwa okudda mu bigere bya Lt. Gen. Andrew Gutti okuva mu Uganda. Bw’abadde awaayo obuyinza, Lt Gen Gutti asabye amawanga ga Africa okwongera okusindika amaggye […]
Abakola mu banka beekalakaasizza
Abakozi mu Banka ya Baroda ku ttabi ekkulu bakedde kudda wansi bikola. Ba kasitoma abakedde okujjayo n’okussaayo ensimbi kibaweddeko okusanga nga tewali abakolako. Abakozi bano ekibajje mu mbeera kubasuubizanga misaala buli kaseera nga tekituukirira. Bano bagamba nti waliwo endagaano gyebassaako0 emikono ne bakama baabwe […]