Amawulire

Etteeka ku bisiyaga liyise

Ali Mivule

December 20th, 2013

No comments

Ebbago ly’etteeka erigufuula omusango okulya ebisiyaga liyise Ebbago lino liddiziddwa mu palamenti olwaleero nerikubaganyizibwaako ebirowoozo era n’oluvanyuma neriyisibwa Ekiteeso ekiyisa etteeka lino kireeteddwa omubaka Benson Obua nekiwagirwa ababaka abalala abatali bamu Obua agambye nti ebbago lino lijja kuyamba nnyo okutaasa naddala omujiji omuto oguli mu […]

Abakubwa obutayimbwa beeyongedde

Ali Mivule

December 20th, 2013

No comments

Ng’ebula nnaku mbale ssekkukkulu etuuke, abantu abatwalibwa e Mulago nga bakubiddwa obutayimbwa nabo beeyongedde Mu mwezi gumu gwokka , abalwadde 100 n’omusobyo beebaweebwa ebitanda Akulira abalongoosa emitwe mu ddwaliro e Mulago, Dr Michael Muhummuza aamba nti  abasinga okutwalibwa babeera bagoba ba bodaboda

Aba Pioneer baasi bacacanca

Ali Mivule

December 20th, 2013

No comments

Abakampuni ya baasi eya Pioneer easy baasi kyaddaaki bafunye ku buweerero. Ekitongole ekiwoza ekya Uganda Revenue authority  kibakkirizza okuddamu okusaabaza abantu mu kibuga Kampala oluvanyuma lw’enzikiriziganya ey’okusasula ebbanja ly’omusolo ery’obuwumbi 8 mu bitundutundu mu bbanga lya myaka 2. Akulira okukunganya amabanja mu kitongole kino , […]

Etteeka ku buseegu livumiriddwa

Ali Mivule

December 20th, 2013

No comments

Okuyisa ebbago erikugira obusegu mu ggwanga kujjeemu abantu ab’enjawulo omwasi. Ebbaga lino lyayisiddwa palamenti olunaku olw’eggulo nga lirimu okuwera busikaati obwa mini saako n’okutangaaza ku musango omuntu gwaba azizza bwaba yenyigidde mu kintu ekisasanya  buseegu era amateeka gaba galamula gatya ku nsonga eno. Wabula ye […]

Omusango gwa Lukwago teguwuliddwa

Ali Mivule

December 20th, 2013

No comments

Okuwulira ogwawaabwa Loodimeeya ng’awakanya ekyokumugoba mu ofiisi kwongezeddwayo okutuusa nga  15th  omwezi ogujja Oludda oluwaabi  nga lukulembeddwamu Martin Mwangusha  lutegezezza kooti nti minisita wa kampala Frank Tumwebaze  nga ye mujulizi omukulu abadde tali mu ggwanga kale nga tasobodde kutuula naye kwogeraganyaamu ku misango gino. Lukwago […]

Ekizimbe kibisse abantu

Ali Mivule

December 20th, 2013

No comments

Ekizimbe kiyiise nekibikka abantu abasoba mu 10. Ekizimbe kino kiri ku Shade Gardens a Mukono Omubaka akiikirira abantu b’omu kibuga kye Mukono  Betty Nambooze agamba ekizimbe kino eky’emyaliiro 2 kiguddemu nekizikiramu abamu. Ategezezza nga poliisi bw’egezaako okusikayo abakyawagamidde mu bifunfugu nga era abataasiddwa badddusiddwaa mu […]

Ekizimbe kibisse abantu

Ali Mivule

December 20th, 2013

No comments

Abantu abatannaba kutegerekeka muwendo beebabikiddwa ekizimbe mu kibuga kye Mukono Ekizimbe ekyogerwaako kwekuli ekifo ekirirwaamu ekimanyiddwa nga Shades restuarant and Bar mu kibuga Mukono. Abaziinya mooto batuuse mu kifo kino okuddukirira

Enteseganya ku loodimeeya zigudde butaka

Ali Mivule

December 19th, 2013

No comments

Enteseganya ezibadde zigenda mu maaso wakati wa gavumenti ne Loodi Mayor Erias Lukwago zigudde butaka. Bino byasanguziddwa akulira oludda oluvuganya gavumenti  mu Parlaiment Nathan Nandala Mafaabi. Mafaabi agambye nti gavumenti  egaanyi okwetema ku nsonga ezitali zimu nga buli kimu esika ezza waayo. Ono abadde mu palamenti […]

Etteeka ku buseegu liyise

Ali Mivule

December 19th, 2013

No comments

  Parliament olunaku olwaleero eyisizza eteeka eriwera obuseeggu mu ggwanga. Kati gufuuse musango okutambuza ,okutunda wamu n’okulaba mu lujudde ebifananyi eby’obuseegu. Etteka lino era liwera okuyingiza wamu n’okufulumya eggwanga ebifaananyi eby’obuseeggu. Minister w’empisa n’obuntu bulamu Fr Simon Lokodo agambye nti etteeka lino lyakuyamba okutaasa abaana […]

Ekiri e Sudan Kika- Bangi balumiziddwa

Ali Mivule

December 19th, 2013

No comments

Gavumenti etaddewo ebifo omussibwa bannayuganda abakoseddwa mu kulwanagana okuli e Juba Abantu abawerako bbo bamaze okudda ewaka ng’abasoba mu mutwaal omulamba bayingidde olunaku lwajjo Omwogezi wa minisitule ekola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga, Fred Opolot agamba nti tebannakakasa muwendo gw’abakoseddwa kyokka nga bangi bajjanjabibwa mu malwaliro […]