Ababaka ba palament abakyala nate bazzeemu okusaba okufulumizibwa kwa alipoota ekwata ku muwala eyakakibwa omukwano ng'abakikola bannansi ba Pakistan
Kino kiddiridde ababaka bano okukyalirako omuwala ono agambibwa okuba nga yasuulibwaawo bannabibiina by'obw annakyeewa abaali bakola ku nsonga ze
Omubaka akiikirira ekibuga kye Mbarara Emma Boona atugambye nti tewali kubuusabuusa poliisi esaana etegeeze bana Uganda weetuse mu kunoonyereza…
Okulonda kw’omukulembeze w’ekibiina ky’abanamawulire mu gwanga ekya Uganda journalist association kwongezeddwaayo.
Kiddiridde omu ku babadde beesimbyeewo okwemulugunya ku lukalala lw'abalonzi ng'agamba nti abasinga ssi bannamawulire
Mu ngeri yeemu wabaddewo n'okwemulugunya nti bannamawulire ab'olulango tebabadde ku lukalala lw'abalonzi
Oluvanyuma abeesimbyeewo bonna bakkiriziganyizza nti okulonda kuyimirire okutuusa ng'ensonga zino zikoleddwaako.
Mu kusooka wabaddewo okulwanagana ng'abamu bawakanya eky'obutalonda era okukkakkana nga poliisi…
Maama wa Buganda sylivia Naginda agambye nti enkulakulana eya namaddala teyinza kutuukibwaako awatali bakulembeze babuvunanyizibwa nga ate bakola nga eky’okulabirako ekirungi eri abalala.
Bino Nabagereka wa Buganda maama Sylvia Nagginda abyogeredde mu lukiiko lwa Buganda ttabamiruka olw'omulundi ogw’omukaaga olugenda mu maaso.
Nabagereka tegezezza nga abakulembeze bwebati bwebasobola okuteekebwateekebwa okuyita mu nnono nga kino tekiri eri bakulembeze bannabyabufuzi…
Enteekateeka z'okuggulawo akatale ke Wandegeya zigudde butaka.
Kiddiridde abasuubuzi mu katale kano okugaana okussa emikono ku ndagaano y'obupangisa ebakkirizisa okukayingira.
Abasuubuzi bano bagamba nti ensimbi eziri mu ndagaano nyingi nnyo ate nga n'akatale kenyini tekannaba kuggwa
Akulira eby'obutale mu KCCA, Harriet Mudondo agamba nti mu lukiiko lwebatuddemu n'abasuubuzi kko n'abakungu okuva mu minisitule ya gavumenti ez'ebitundu, bategeraganye nti akatale kano kati…
Poliisi mu kibuga kampala eriko ekikwekweto ttokowenja ky'ekoze mw'eyoledde abagambibwa okuba abamenyi b'amateeka 95.
Bano beebamu ku bagambibwa okuba nga babadde batigomya abantu mu kibuga n'emiriraano.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Judith Nabakooba agamba nti bakyasunsula abantu bano okujjamu abatalina musnago era ng'abantu 18 beebakasiibulwa.
Nabakooba agamba nti ebikwekweto bikyagenda mu maaso okuyitira ddala mu nnaku enkulu.
Ababaka ba palamenti okuva mu bibiina by’obufuzi eby'enjawulo bakungubagidde omugenzi Sam Kalega Njuba mu lutuula lwa palamenti olwenjawulo.
Ababaka b’amajje okuli Gen. Elly Tumwine ne Major Sarah Mpabwa, nabalala okuli Ibrahim Nganda ne Medard Ssegona batenderezza nyo omugenzi.
Mu ngeri yeemu ne ssabaministe wa Uganda John patric Amama mbabazi ayogedde kumugenzi.
Yye akulira oludda oluvuganya gavt Nathan Nandala…
Ba memba b'ekibiina kya FDC olunaku lwaleero bakungubagidde eyali ssentebe w'ekibiina kino Sam Kalega Njuba.
Omulambo gwa Njuba gutuuse ku maka ga FDC e Najjanankumbi ku ssaawa musanvu olwo bannakibiina nebatandika okumukubako eriiso evvanyuma n'okutendereza ebirungi by'akoze.
Bano beegattiddwaako bannabibiina ebirala.
Akulira ekibiina kya FDC Gen Mugisha Muntu ategeezezza nga omugenzi bw'agenda okutwaliddwa mu maka ge e Nangabo…
Amaggye ga African Union mu ggwanga lya Somalia gafunye omuduumizi omuggya.
Lt. Gen. Silas Ntigurirwa okuva mu gwanga lya Burundi y'alondedwa okudda mu bigere bya Lt. Gen. Andrew Gutti okuva mu Uganda.
Bw'abadde awaayo obuyinza, Lt Gen Gutti asabye amawanga ga Africa okwongera okusindika amaggye mu ggwanga lya Somalia.
Kyo ekibiina ky'amawanga amagatte kyamala dda okuwa okulukusa amawanga…
Abakozi mu Banka ya Baroda ku ttabi ekkulu bakedde kudda wansi bikola.
Ba kasitoma abakedde okujjayo n'okussaayo ensimbi kibaweddeko okusanga nga tewali abakolako.
Abakozi bano ekibajje mu mbeera kubasuubizanga misaala buli kaseera nga tekituukirira.
Bano bagamba nti waliwo endagaano gyebassaako0 emikono ne bakama baabwe mu mwaka gwa 2011 naye nga tewali kyaali kissiddwa mu nkola.
Ensonga z'abakozi bano gyebuzze…
Bannayuganda abali mu ggwanga lya Suoth Sudan tebaliiko buzibu bwonna.
Minista omubeezi akola ku nkolagana ya Uganda n'amawanga amalala, Asuman Kiyingi agamba nti ekitebe kyaabwe mu South sudan tekinnafuna mawulire gakwata ku muntu yenna kub eera ng'akoseddwa
Kiyingi agamba nti gavumenti yakusigala nga yetegereza embeera nga bw'etambula okulaba nti tewabaawo munnayuganda akosebwa
Bbo abasuubuzi bannayuganda abakolera mu ggwanga…