Amawulire
Ebya Dr Aggrey Kiyingi ssi birungi
Poliisi ekedde kuzingako maka ga Dr Aggrey Kiyingi e Buziga lwa bbanja. Nga ekolera wamu ne bawanyondo ba kooti , bano bakasuse wabweru buli kintu kyonna wakati w’okuwakanyizibwa okuva eri ababadde bagisulamu. Kino kiddiridde kooti enkulu wano mu kampala okuwa ekiragiro okuwamba enyumba eno olw’ebbanja […]
Pastor Kiwedde gumusinze
Omusumba William Muwanguzi abangi gwebamanyi nga kiwedde gumusse mu vvi. Ono asibiddwa emyaka 2 ku misnago gy’okweyita ky’atali Kigambibwa okuba nti ono ng’asinziira e Kalisiizo Rakai yakuba enkungaana mweyayita okusolooza ensimbi. Ono wabula emisango gy’okugezaako okutoloka mu kkomera ggyo tegisaliddwa ng’omulamuzi agyongezezzaayo okutuuka omwaka ogujja. […]
Basse omusirikale
Poliisi mu disitulikiti ye Buhweju ekutte abasajja 2 abagambibwa okukuba omusirikale waayo amasasi nebamutta. Omuduumizi wa poliisi mu bitundu ebyo Hillary Kulaigye agamba Bosco Byamukama ne Julius Rwesimba nga bonna batuuze be Kibaare cell n’abalala abatannakwatibwa, banyakula emmundu ya John Mwesigye gyebakozesa okumukuba amasasi. Oluvanyuma […]
Sipiika Kadaga apondose
Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga apondose. Akkiriza ssabaminista okusoma ekiwandiiko kya gavumenti eky’okusiima emirimu egyakolebwa Nelson Mandela. Kadaga yatuuza dda olukiiko luno kyokka nga terwetabwaamu ba minista abaali mu lusirika era okuva olwo gavumenti ebadde eremeddeko ng’eyagala ensonga eno edde mu ddiiro. Nampala wa […]
Ebyobufuzi n’ensimbi ezitamala byebisinze okukosa Disitulikiti
Disitulikiti okuli Gulu, Wakiso, Mpigi, Amuru ne Jinja z’ezimu ku zisinga okutambuza obulungi emirimu gyazo ku mutendera gwa gavumenti ez’ezebitundu. Bino bifulumidde mu alipoota mu kunonyereza okwakoleddwa ab’ekibiina ekinonyereza ku by’enkulakulana n’obutonde bw’ensi ekya ACODE era nekizuula nga district ya Agago bwekwebedde mu mpereza y’emirimu. […]
Ebyenjigiriza mu Uganda bikaabya
Ebyenjigiriza mu ggwanga bikyaali wansi nyo naddala ku mitendera gya egyawansi. Okusinziira ku alipoota y’omwaka 2012 efulumiziddwa ekibiina kya UWEZO nga kino kikola ku kunonyereza, abaana 90% mu bibiina bya pulayimale ebya wansi okusoma n’okuwandiika bikyabakalubiriza ddala nga kw’otadde n’okubala. Okunonyereza era kulaze nga abayizi […]
Katikkiro azizzaawo ensisiira ku masiro
Ebika bya Buganda bisabiddwa okwettanira enkola ya tekinologiya mu kukola emirimu gyabyo. Okusaba kuno kukoledwa Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga mu kutongoza omukutu gwa yintaneeti ey’ekikka kya Kayozi. Katikiro agambye nti kino kyakuyamba okumanyisa abantu bikwata ku buwangwa n’enono mu bwangu. Zo ensimbi ezisoba […]
Abayekeera 19 beewaddeyo
Abayeekea ba LRA 19 basazeewo okwewaayo mu mikono gya magye ga UPDF. Bano babadde wansi w’omu ku baduumuzi b’abayekeera ba LRA amanyiddwa nga Lt Col Obur Nyeko. Agavaayo gooleka nga bano bwebeewereddeyo mu kitundu ekye Obbo ekisangibwa mu gwanga lya Central African Republic. Ebewaddeyo bonna […]
Palamenti ya Uganda esiimye Mandela
Palamenti ya Uganda olwaleero etudde okusiima emirimu egikoleddwa omugenzi Nelson Mandela Kino kibaddewo nga tewali na minista yenna Sipiika Rebecca Kadaga ategeezezza nga bweyafunye okutegeezebwa ekikereezi nti ba minista babadde bali mu kafubo kyokka nga yamaze okuyita ababaka okuteesa Ekiteeso ekisiima Mandela kireeteddwa akulira abavuganya […]
Okusabira Mandela, Abanene boogedde
Enkumi n’enkumi z’abantu beebegasse ku bannansi ba South Africa okusbaira omwoyo gw’omugenzi Nelson Mandela Bano babadde mu kisaawe kya FNB mu kibuga Johannesburg. Okusaba kuno kwekumu ku mikolo egyakasinga okukungaanya abakulembeze mu myaka gino. Nelson Mandela yafa ku lunaku lw’okusatu olwa ssabiiti ewedde ng’aweza emyaka […]