Poliisi e Kabale ekutte omukyala agambibwa okukuba bba enkumbi ku mutwe n’amutta
Bino bibadde ku kyaalo Rutakyengwa mu ggombolola ye Hamurwa
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate agambye nti omugenzi ategerekese nga Keresensio Bigambo,ow’emyaka 48.
Yye omukyala agambibwa okumutta ye Asumputa Musimenta.
Kigambibwa okuba nti obuzibu bwonna buvudde ku nsimbi zebabadde batunda okuva mu taaba ng’omusajja…
Kimaze okukakasibwa nti Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi wakuba mutaka e Kayunga nga 27 omwezi guno.
Ssabasajja essaza lye lino wakulimalamu ennaku ssatu nga yetaba ku mikolo egitali gimue gitegekeddwa.
Omwogezi wa Buganda owek. Denis Walusimbi Ssengendo akkakanyizza emitima gy’abantu ku by’okwerinda by’omutanda ng’agamba nti biri guluggulu
Azzeemu okukikkatiriza nga Buganda bw’ataanyi ssabanyala era nga bakukolagana…
Poliisi eyitiddwa bukubirire mu bitundu bye Katwe, okukakkanya abatuuze ababadde beekalakasa olw’amasanyalaze.
Abatuuze bazibye amakubo wamu n’okwokya ebipiira, oluvanyuma lw'okumala wiiki 2 nga tebalina masanyalaze.
Aduumira polisi ye Katwe Ibrahim Saiga agambye poliisi etandise okuteesa n'abakulira ekitongole kya UMEME okuzza embeera mu nteeko.
Omu ku bantu ababadde batawanyizibwa ekirwadde kya kinyeeya mutwe kiyite nodding disease afudde
Abbey Betty nga wa myaka 18 afiridde mu disitulikiti ye Kitgum.
Abantu abalina obulwadde buno basoba mu 7000 nga bali mu disitulikiti omuli eye Kitgum,Pader Gulu n’endala eziri mu bukiikakkono.
Omubaka omukyala owa disitulikiti eno, Beatrice Aywar agamba nti ono afudde lw'obutafuna bujjanjabi mu malwaliro…
Poliisi e Mbarara eri ku muyiggo gw’abazigu abalumbye omusuubuzi nebamukuba amasasi agaamusse .
Bano era balumizza n’omukyala omulala gweyabadde atambula naye. Bino byabadde mu kabuga ke Buteraniro ku luguudo oluva e Mbarara okudda e Kabale.
Omwogezi wa poliisi ye Rwizi, Polly namaye agambye nti omugenzi ategerekese nga Matia Turyagenda omusuubuzi w’ebyenyanja era ng’abadde n’ebbaala mu kibuga kino…
Bannamateeka abawolereza eyali muganzi w’omubaka Cerina Nabenda basabye kkooti emwejjereze kubanga talina musango.
Bano abakulembeddwaamu Nsubuga Mubiru ne Macdusman Kabega bagambye nti Nebanda teyali mwana muto kukozesa biragalalagala ebyogerwaako nga tategeera
Bino babyogedde bafundikira omusango guno nga buli luuyi luwaddeyo ebyaalwo.
Bbo bannamateeka abalumiriza Adam Suleiman Kalungi okutta muganzi we olwaleero balemereddwa okulaga nti Nebanda yalina obuzibu ku…
Ababaka ba palamenti babaze ku mulimu gw’okunoonye emikono egisaba nti ababaka bave mu luwummula lwebalimu bateese ku nsonag ze South Sudan
Omubaka wa Jinja y’omu buvanjua, Paul Mwiru ne munne Hassana Kaps beebakulembeddemu omulimu guno nga bagamba nti ensongaza eziri mu South Sudan Nkulu kale nga tebayinza kusirika nga bingi bigenda mu maaso
Mwiru agamba nti bagala…
Yadde ng'emundu ziseka e South Sudan, bannayuganda batandise okuddayo.
Bannayuganda bangi bakooye embeera eri kuno nga basazeewo okuddayo banoonye ensimbi
Baasi ezaali zitakyalina ba kasitoma kati bayitirivu ea nga basuubira nti bajja kweyongera.
Omu ku bakozi mu kkampumi ya Bakulu coaches asabaaza abantu, Fathil Wagala agamba nti abantu abatambula balai bakenedeera mu biseera bya sekukkulu kyokka nga bweyaggwa…
Gavumenti esabiddwa okussa ekitiibwa mu kusalawo kwa kooti ku kya Erias Lukwago okusigala nga Loodi Meeya.
Kino kiddiridde poliisi okulinya eggere mu lukungaana Lukwago lweyabadde alina okukuba olunaku lwajjo ng'etegeeza nga ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi bweyabawabudde nga Lukwago bwatakyali mukulembeze wa kampala.
Omubaka wa Rubaga North, Moses Kasibante agamba nti poliisi teyinza kwesigama ku ntaputa ya…
Abatuuze be Kibuli bavudde mu mbeera nebekalakaasa olw’enfuufu esukkiridde .
Kanaluzaala lw’eluguudo lwa kakungulu olwawalakatibwa kati emyezi 6 nga terunaggwa nga abaliranyewo okusingira ddala abalukolera okumpi enfuufu balye ndye.
Bano era banenya ekitongole kya KCCA okukola omulimu guno mu kasoobo.
Aba kampuni ya Omega nga beebali ku mulimu gw’okuddabiriza oluguudo luno balabye bikaaye kwekutandika okumansa amazzi mu luguudo…