Oluvanyuma lw'okuwera okutambula n’abawagizi okutuuka mu ofiisi ye ku city Hall, poliisi esazewo okusalako amaka ga loodi meeya Erias Lukwago.
Yadde nga poliisi yamulabudde obutageza kulinya kigere mu kibuga , Lukwago yaweze nti ketonye ka gwake wakwolekera ofiisi ye olunaku olwaleero .
Aba poliisi abasoba mu 100 beebayiriddwa kyokka nga n'abavubuka abawagizi ba Lukwago tebatudde
Bano basizza ebiyinja…
Omulambo gwamunakatemba Paddy Bitama guddiziddwaayo mu ddwaliro ekkulu e Mulago okutuusa nga enkayana ku wa gyalina okuzikibwa ziwedde.
Kino kiddiridde Peter Njegula okulemerako ng'akayakayanira omulambo gwa paddy gwagamba nti mutabani we.
Ono ayagala basooke bakebere omusaayi bakakase kino nga era okuziika kwakugira nga kulinda.
Njegula anyonyola nti Paddy yamutuuma kasozi yadde nga abadde alina lya SSali nga era…
Kawempe, Makindye e Rubaga ze divizoni ezisingamu amasomero agatatukagana na mutindo.
Aba KCCA beebategeezezza bino nebawera okuggala ago gonna amafu
Akulira ebyenjigiriza mu KCCa, Anne Galiwango, agamba nti amasomero agasoba mu 2000 geegagwa mu kkowe lino nga n’agamu tegalina licence
Galiwango agamba nti essomero lyonna okutuuka ku mutindo lirina okubeera n'ebizimbe ebituufu, abasomesa abatendeke kko n'okulabirira abaana obulungi…
Abagoba ba bodaboda basitukiddemu okulwanyisa ababakuba obutayimbwa
Bategese olukiiko olugenda okwetabwaamu ne pulezidenti museveni okulaba nti bafuna eky’okuddamu eri abazigu bano
Wansi w’ekibiina ekibagatta ekya Bodaboda 2010, bagamba nti abantu ababakuba obutayimbwa bategeke bulungi era nga kakukuulu akeetaga okukwatira awamu okukasanayaawo.
Akulira ekibiina kino Deus Kananura agamba nti mukakafu nti bajja kubaako nekyebatuukako mu lukiiko luno.
Abagoba ba taxi mu kibuga bazzeemu okusaba poliisi okukoma ku biloole okuyingira ekibuga
Kiddiridde kiloole okutta abantu 7 e Wakaliga ate nga munaana bali mu ndiri bataawa
Akulira aba taxi bano Mustafa Mayambala agamba nti beimotoka bino bya bulabe nnyo naddala mu biseera by’okumakya n’akawungeezi
Wabula yye kamisona akola ku ntambula y’ebidduka Steven Kasiima agamba nti mulimu gwa…
Omusawo agambibwa okufumita abaana ba banne empiso n'ekigendererwa ky'okubasiiga mukenenya agguddwaako emisango.
RoseMary Namubiru kigambibwa okuba nga yakozesa empiso neyejjamu omusaayi olwo n'agukuba mu baana abato.
Omukyala ono mutuuze e Seguku-Nsalo zooni ku luguudo lw'entebe.
Oludda oluwaabi lugamba nti ng'ennaku z'omwezi 7 omwezi guno, Namubiru ng'asinziira ku kalwaliro ka Victoria Center ku Lumumba yagezaako okutta omwana Mathew Mushabe…
Omubaka akiikirira abantu be Lubaga mu bukiikakkono Moses Kasibante akwatiddwa.
Kasibante bamukutte ava ku poliisi ya kampala mukadde gy'abadde agenze okweyanjula .
Ono assiddwa mu mmotoka kabangali ebaddemu abasajja abali mu leeya nga bavuze boolekera oluguudo lwe Hoima.
Omubaka akiikirira municipaali ye Mukono, Betty Nambooze Bakireke agamba nti bamaze nebakizuula nti ono bamuggalidde ku poliisi ye Kakiri.
Kyokka ono…
Abasuubuzi bomu katale ke Kalerwe basobeddwa eka ne mu kibira.
Nga bakyanyiga biwundu olw’akatale kaabwe okukwata omuliro ,kati ate enkayaana z'ettaka zibaluseewo.
Kino kiddiridde amawulire agafulumye ng'erimu ku ttaka okutuula akatale kano bweryatundibwa nga era ab'okusinga okukosebwa beebakolera mu zooni emanyiddwa nga Mutebi.
Abamu ku basuubuzi bagamba nti kikafuuwe okwamuka akatale kano nga kati bawanjagira gavumenti eyingire mu…
Ekibiina kya banekolera gyange kisimbidde ekkuuli ekiteeso ky'okuteekawo amakubo amalala omunatambuzibwa ebyamaguzi okutuuka munda mu ggwanga lya South Sudan.
Abamu ku bekikwatako babadde bateesa bakole kino olw’olutalo olugenda maaso munda mu ggwanga lwa South Sudan okusobozesa eby'obusubuzi okugenda maaso abasubuzi nga beewala amakubo gali ewali okulwanagana.
Wabula akulira ekibiina kino Gideon Badagawa agamba kuno kuteeka bulamu bwa…
Babiri ku bantu abaagudde ku kabenje ddekabusa e Wakaliga basiibuddwa.
Bano beebamu ku omunaana abaddusiddwa mu ddwaliro nga biwala taka mu kabenje akaatuze omusanvu n'abalala nebabuuka n’ebisago ebyamanyi.
Omwogezi w’eddwaliro ekkulu ery’emulago Enock Kusasira agamba abakoseddwa bagenda bakuba ku matu.
Akabenje kano kabaddemu emmotoka 2 ku luguudo oluva e Mengo okudda e Nateete wali e Wakaliga.
Okusinziira ku…