Amawulire

Ebya P.7 bifulumye- ebigezo by’abayizi 1,424 bikwatiddwa

Ali Mivule

January 31st, 2014

No comments

Ebigezo by’ekibiina eky’omusanvu bifulumiziddwa. Abayizi abalenzi basinze abawala okukola obulungi ate nga lyo essomo ly’ebyafaayo( SST) lyeryasinze okukolebwa obulungi Kuno kuzzeeko okubala(Maths) nekuddako Sayansi  ate nga lyo essomo ly’oluzungu  likoleddwa bubi Ezimu ku disitulikiti ezikoze obulungi kuliko, Wakiso, Kampala, Mbarara , Mukono n’endala ate nga […]

Kalungi gumusse mu vvi

Ali Mivule

January 31st, 2014

No comments

Eyali muganzi w’omubaka Cerina Nebanda nga ye Adam Suleiman Kalungi omusango gumusse mu vvi. Omulamuzi wa kooti ento e Makindye agambye nti Kalungi yalwaawo okuddusa Nabenda mu ddwaliro ekyamuviira okufa. Abalala abasingisiddwa omusango gwekuli omusajja ategerekese nga Ali Umar ng’ono yye ogumusinze gwakusangibwa na biragalalagala. […]

Ebya P7 bifuluma olwaleero

Ali Mivule

January 31st, 2014

No comments

      Ebyava mu bigezo b’ekibiina ekyomusanvu eby’omwaka oguwedde bifuluma olwaleero.   Ekitongole kya UNEB kyakufulumya ebigezo byabayizi   581,586 wali ku  statistics house mu kampala.   Omwogezi wa UNEB  Hamis Kaheru agamba amangu ddala nga byakafuluma, abazadde n’abaana bakubifunira ku bubaka bw’amasimu.  

Enju egiteekedde omuliro

Ali Mivule

January 30th, 2014

No comments

Omusajja asowaganye ne mukyala we amuggalidde mu nyumba ne muwala we n’oluvanyuma n’agikumako omuliro Christine Nalwoga ne Dorothy Nabweteme abe Luweero beebasumattuse omuliro guno kyokka nga bali mu mbeera mbi. Omukyala ono Nalwoga agamba nti bba yakomyeewo ewaka nga bulijjo n’amuwa ekyeggulo era nebeebaka Kyamuweddeko […]

Amaka gakubwa mu lwaatu

Ali Mivule

January 30th, 2014

No comments

Amaggye mu ggwnaga lya Syria gatandise okwokya amayumba g’abantu mu bugenderevu Ab’ekibiina ekirondoola eddembe ly’abantu ekya Human Rights watch kyekitegeezezza bino Ebifananyi ebifulumiziddwa ekibiina kino biraga bbomu nga zikubwa ku maka g’abantu nga n’abamu badduka ekibambulira Kino kyakolebwa mu bibuga Damascus ne Hama nga bino […]

Ensimbi endala ziyisiddwa ku ndaga muntu

Ali Mivule

January 30th, 2014

No comments

Enteeka nteeka y’okufunira bannayuganda endaga Muntu ziyite ID eyongeddwaamu ensimbi. Kiddiridde olukiiko lwa ba minista oluyisaawo embalirira ya buwumbi 138 ez’okukola ku nteekateeka eno Minista akola ku nsonga zamawulire, Rose Namayanja agamba nti basooka kubala ensimbi nga tezimala nga basazeewo nti bajja kwetaagayo ensimbi endala […]

Omwana alina emitwe ebiri

Ali Mivule

January 30th, 2014

No comments

Abatuuze ku kyaalo  Kitabu Mu gombolola ye  Kyalahumba mu disitulikiti ye Kasese baguddemu ekyekango omukyala bw’azadde omwanang’alina emitwe ebiri. Ekikulekule kino kizaaliddwa  omukyala  ategerekeseko erya mukyala Kighina wali ku Ddwaliro lya  St. Francis of Assisi health center ku kyaalo  Kitabu. Omwana ono  afudde amangu ddala […]

Uganda ssi yakuva South Sudan

Ali Mivule

January 30th, 2014

No comments

Gavumenti yakuno ssi yakupondoka olw’okusindikirizibwa okujja amaggye munda mu ggwanga lya South Sudan okutuusa nga embeera edidde ddala mu nteeko. Minista w’eby’amawulire n’okulungamya eggwanga  Rose Namayanja agamba nti obutabanguko bukyali munda mu ggwanga eryo, amaggye teri kusegula kigere kubanga galiyo kukuuma mirembe. Minista okwogera bino […]

Ssabasajja aboggodde- Bugerere ya Buganda

Ali Mivule

January 29th, 2014

No comments

Ssabasajja Kabaka Ronald Mutebi ssabawanguzi alabude abo abazannyira ku nsalo za Buganda n’addamu okukakasa nti Bugerere ssaza lya Buganda Omutanda okulabula akukoze afundikira okulambula kwe ow’essaza lino okumaze ennaku 3 Agambye nti ekya Bugerere okubeeramu abantu ab’amawanga agatali gamu tekitegeeza nti tekyaali ya Buganda. Ono […]

Ebigezo bifuluma lwakutaano

Ali Mivule

January 29th, 2014

No comments

Ebigezo by’ekibiina ky’omusanvu bigenda kufuluma ku lw’okutaano luno. Akakasizza bino ye minisita akola ku by’enjigiriza Jessica Alupo Ono asanguddewo okutebeereza okubaddewo nga teri amanyi ddi bigezo lwebinafuluma Kino kyaddirira amawulire nti ekyuuma ekisoma obubonero bw’abayizi kyabadde kifudde Alupo agambye nti olunaku lw’enkya lw’egenda okusisinkana abakungu […]