Amawulire
Besigye bamusazeeko
Emirimu gisanyaladde ku luguudo lwa Duster Street kumpi ne bank ya Cairo international bank oluvanyuma lwa poliisi okusalako eyali senkagale wa FDC Dr Kiiza Besigye Besigye ategezezza nga bwabadde ayolekera Nsambya ku mirimu gye. Ono poliisi emaze n’emuwerekera okutuuka e Nsambya ku ssundiro lye ery’amafuta […]
Ababba enyimba babasalidde amagezi
Oluvanyuma lwabayimbi okwongera okwekubira enduulu olwobutafuna mu music wabwe olwabasala enyimba zabwe, ekitongole ekikola ku kuwandiisa bizinensi wano mu ggwanga kitegezezza nga bwekigenda okuteekawo ekitongole kya poliisi ekyokukwata abo bonna abooza mu nyimba z’abayimbi bano. Akuliramu okuwandiisa mu kitongole kino BemanyaTwebaze agamba poliisi yakulondoola abasala […]
Besigye Lukwago bayimbuddwa,bazzeemu okukwatibwa
Poliisi ezzeemu okukwata eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye ne loodimeeya Erias Lukwago Bano babadde bayimbuddwa kooti oluvanyuma lw’okuggulwaako emisnago gy’okukuma mu bantu omuliro Bano babakutte batuuka ku kkanisa ya KPC era poliisi n’ebazingako oluvanyuma lw’okukuba omukka ogubalagala Wabula bano nga bakava mu […]
Abe Kasokoso babali bubi
Ministry y’eby’ettaka erabudde abatuuze ku ttaka lino okugondera etteeka okusinga okukozesa eryanyi olwenkaayana ezigenda maaso ku ttaka lino. Ettaka lino eririko obwagagavu bwa yiika 292.7 lizze likayaanirwa abatuuze n’ekitongole kya National Housing corporation. Minister omubeezi ow’ebyettaka Sam Engola agamba ettaka lino abatuuze lyebakayanira lya kitongole […]
Aba DP batabuse ku Lukwago ne Besigye
Abavubuka b’ekiwayi kya Uganda young democrats bavumiridde engeri Dr Kiiza Besigye ne Erias Lukwago gyebakwatiddwamu,nebatuuka n’okubeera mu makomera nga tebamanyi misango gibavunaanwa. Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ,ssabawandiisi wekibiina kino , Charles Wasswa agambye nti kino kyabadde tekyetagisa kubanga abakulembeze bano tebaakoze ffujjo lyonna nga bakwatibwa. […]
Ba kansala balayiziddwa
Akulira abakozi mu kibuga Kamapala Jennifer Musisi agamba okulonda kwa bakansala okuva mu bitongole ebikugu kubadde kukandaliridde nyo nga ate bamugaso nyo mu kuddukunya emirimu mu kibuga. Bw’abadde mu kulayiza abana abalondeddwa , Musisi agambye nti bano bakuyamba mu kuddabulula ekibuga kampala ekibadde kikyaddiridde bw’ogeregeranya […]
Alipoota ku Kampala egobeddwa
Palamenti egobye alipoota eyakolebwa okuva mu kunonyereza ku nsonga za KCCA Kiddiridde ababaka abatuula ku kakiiko akanonyereza okwegaana ebyaali mu alipoota nga bisingisa loodimeeya omuasngo Akulira akakiiko Steven Baka agambye nti ba memba abasinga beegana ebyaali bissiddwa mu alipoota. Baka agambye nti alipoota eno yawandiikibwa […]
Ekkomera lye Luzira ssiryakusengulwa
Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga z’amateeka bawakanyizza eby’okusengula ekkomera lye Luzira Akulira amakomero Johnson Byabashaija olwaleero alabiseeko mu palamenti n’ategeeza nga bwebalina enteekateeka ezimba ekkomera eddala ettaka lye Luzira baliwe bamusiga nsigo Ababaka okubadde Betty Nambooze, Reagan Okumu ne Alice Alaso […]
Bugerere ayuguumye
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda mutebi ow’okubiri akunze abaganda okubeera obumu n’okukoma okwerumaruma. Obubaka bwe bumwetikkiddwa Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ku mukolo gw’okusonda ensimbi z’amasiro ezisobye mu bukadde 50 Mu bubaka bwe Katikkiro asabye bannabugerere okunywerera ku mutanda, n’okukola ennyo. Alayidde okufafaagana n’omuntu aneekiika […]
Sejusa agobeddwa mu palamenti
Eyali akulira ekitongole ekikessi mu ggwanga Gen David Sejusa agobwa mu palamenti Akakiiko akakola ku mateeka ga palamenti akaweebwa omulimu okunpnyereza ku neeyisa ya Sejusa keekasazeewo nti ekifo ky’ono kirangirirwe nti kikalu Akulira akakiiko kano, Fox Odoi agambye nti bafubye okunoonya Sejjusa okulaba nti […]