Amawulire
Akeedimo ke Kyambogo kayimirdde
Abasomesa b’ettendekero lye Kyambogo kyaddaaki basazizzaamu akeediimo kaabwe. Kino kiddiridde olukungaana wakati w’abasomesa bano ne minista omubeezi akola ku matendekero aga waggulu John Crizistom Muyingo . Gavumenti okusooka yategeezezza nga bweyabadde agenda okuggalawo ettendekero lino saako n’okukangavvula abasomesa bonnaa abapika banaabwe obutadda mu bibiina. Bano […]
Loodimeeya akwatiddwa
Loodimeeya w’ekibuga kampala, Salongo Erias Lukwago akwatiddwa. Lukwago abamukutte yakafuluma amaka ge e Wakaliga agakedde okwebulungulwa poliisi. Lukwago atwaliddwa ku poliisi ye Naggalama. Poliisi era ekutte akulira abakyala ba FDC Ingrid Turinawe abadde atuuse ku Nakivubo settlement awategekeddwa olukiiko. Wano abawera bakwatiddwa poliisi n’ebaggalira Ne […]
Ababaka babazinzeeko, akatale ka Kisekka kaggaddwa
Poliisi esazeeko ababaka okuli Mohammed Nsereko, Barnabas Tinkasimire, Joseph Sewungu, ne Theodore Sekikubo nga bano babadde mu katale ke wa kisekka. Ababaka bano babadde bagenze kukyalira basuubuzi mu kaseera nga beekalakaasa nga bawakanya eby’okusindikiriza loodimeeya Erias Lukwago Ababaka bano okuvanyuma baddukidde mu kifo kya little […]
Loodimeeya gumusse mu vvi- ayuuga
Ebya Lord Mayor, Erias Lukwago bibi. Akakiiko akabadde kawuliriza okwemulugunya kwaba kansala 17 nga baagala Lukwago agobwe mu ofiisi ye nti emirimu gimulemye kamusingisizza emisango. Mu gimu ku misango egisingisiddwa Loodi Mayor mwemuli ogw’okulemererwa okutuuza enkiiko za ba ansala ng’mateeka bwegalagira. Minister wa Kampala Frank […]
Abasomesa basitudde buto
Abasomesa okwetwoloola eggwanga lyonna nate bategeezeza nga bwebagenda okuddamu okuteeka wansi ebikola, singa gavumenti tebanguyize musaala gwaabwe. Ssabawandiisi w’ekibiina ekibagatta James Tweheyo agambye nti gavumenti kirabika nga ebazanyira ku bwongo , anti nabuli kati ekyagaanyi okutuukiriza byebakiriziganyaako nga bakomya akeediimo kaabwe. Ono agamba nti baali […]
Besigye ssiwakuddamu kwesimbawo
Eyaliko Ssenkagale wa FDC Col Dr. Kiiza Besigye ategeezezza nga bw’atali mwetegefu kuddamu kwesimbawo kubwa pulezidenti mu mwaka 2016, singa amateeka agafuga okulonda tegakyuukamu. Kinajjukirwa nti Besigye yaakegeza ku ntebe y’obukulembeze kaakano enfunda 3 namba, wabula ng’akubwa kyabugazi, newankubade nga abadde addukira mu kooti okuwakanya […]
Okubba piki- asibiddwa emyaka 18
Kooti enkulu eriko omusajja owe myaka 30 gw’ekalize emyaka 18, nga ono emulanga kubba bodaboda. Godwin Kanyaanya owe Namuwongo alabiseeko mu maaso g’omulamuzi Elizabeth Alividza ,akakasizza nti yabba piki ya Simon Kalaharo. Omusango guno kigambibwa ni yaguzza ng’ennaku z’omwezi 15 , omwezi gw’okubiri mu mwak […]
Aba USAFI empooza ebalemye
Abasuubuzi abakolera mu katale ka Usafi empooza ya buli mwezi ebazitoweredde nga abamu bagaala kwabuulira katale kano. Abasinga ku bakolera mu katale kano beebasuubuzi abali ku nguudo wabula nga kati ebintu bibasobodde olw’empooza egaanye nga ate abaguzi ba lubatu mu katale kano. Abasuubuzi bano basasula […]
Siteegi za Bodaboda za mwaka gujja
Akulira abakozi mu kampala, Jeniffer Musisi ategezezza nga okulamba siteegi za bodaboda bwekugenda okukolebwa omwaka ogujja. Ekitongole kya KCCA kyakukwatagana n’ebitongole ebikola ku by’okwerinda, saako n’abakiikirira abavuzi ba bodaboda okumaliriza enteekateka eno okwetoolola ekibuga. Oluvanyuma bakutandika kawefube w’okubunyisa zi kabuuti eri abavuzi bano, ebikoofira by’okumutwe […]
Ebigezo bya Siniya y’omukaaga bitandise
Abayizi ba siniya ey’omukaaga abasoba mu mitwalo 11 olwaleero a batandise ebigezo byaabwe eby’akamalirizo mu masomero agasoba mu 1000. Bano batandise n’ekigezo ky’ebyenfuna ekya Economics paper 1 ate olweggulo bakole paper 2. Sentebe w’ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga ekya Uganda National exnationas board Fagil Mande agamba […]