Amawulire
Abayizi be Kyambogo beekalakaasizza
Embeera ezze mu nteeko mu ttendekero lye Kyambogo poliisi gyeyakedde okwezooba n’abayizi. Abayizi bano beekalakaasizza nga bagala kuddamu okusoma oba ssi kkyo ettendekero liggalweeewo Poliisi ekozesezza omukka ogubalagala okubagugumbulula kyokka nga bawera nti tebannaluba, bagaala kusoma Lwo olukiiko olutudde wakati w’abasomesa n’abakulira ettendekro lyaabuse tewali […]
Bunkenke e Kasokoso
Poliisi eweze okukwata omuntu yenna anagezaako okuleeta akavuyo ku kyaalo kye Kasokoso Kino kiddiridde abatuuze okukkira ssentebe Mamerito Mugerwa nebamukuba emiggo nebateekeera n’emmotoka ya gavumeti omuliro Amyuuka omwogezi wa poliisi, Patrick Onyango agamba nti bongedde abasirikale mu kitundu okulaba nti tewabaawo kavuyo konna Kyokka era […]
Pulezident museveni wakwekebeza Mukenenya
Mu kawefube ow’okusikiriza abafumbo okwekebeza obulwadde bwa mukenenya, pulezidenti Museveni wakwebeza nga bali ne kabiite we Janat Museveni olunaku lw’enkya. Ekiwandiiko ekivudde mu kakiiko akakola ku bya mukenenya kiraga nti pulezidenti kino agenda kukikolera ku ddwaliro lye Kiswa erisangibwa e Bugoloobi Pulezident era wakukozesa akakisa […]
Abasuubuzi ku Nasser beekalakasizza
Oluvanyuma lw’abasuubuzi b’okuluguudo lwa Nasser Road okwekalakaasa amakya galeero, ekitongole kya masanyalaze ekya UMEME kirabuddwa obutalinda nga bantu kwekalakaasa okukola ku nsonga zaabwe. Adumira poliisi y’omu bukiikakkono bwa Kampala Mike Mugabi agamba bbo nga abalondoola obutebenkevu n’ebyokwerinda kibabeerera kizibu okuyingira mu nsonga nga zino […]
Gavumenti ya Uganda eyanirizza aba M23
Amaggye ga UPDF gaanirizza ekyasaliddwaawo abayekera ba Congo aba M23 okukomya okulwanagana n’amaggye g’eggwanga lya Congo. Olunaku olw’eggulo abayekera aba M23 bategezezza nga bwe bagenda b=okuyita mkuteesa okutuukiriza ebiruubirirwa byaabwe Omwogezi wa maggye ga Uganda, Paddy ankunda agamba kino kyakuteekawo embeera y’enteseganya okukomya okulwanagana kuno. […]
Teri kusengula be Bukasa
Kooti e Nakawa eyisizza ekiragiro ekiyimiriza ab’ekitongole ky’ebibira okusengula abatuuze be Bukasa Omulamuzi Gladys Nakibuue y’ayisizza ekiragiro Bano babadde bagenda kusengulwa okuzimba omwaalo ogunagatta amawnaga ga East Africa Omwogezi w’abatuuze be Bukasa Sowedi Semakadde agamba nti kati baddembe okukola egyaabwe
Aba FDC bakkiriziganyizza
Ab’ekibiina kya FDC kyaddaaki bakkiriziganyizza ku myaka gy’omukulembeze w’ekibiina era nebawera okukolera awamu. Olukiiko luno olukubiriziddwa Augustine Ruzindana lwayitibwa okusalawo eggoye ng’abamu bagamba nti pulezidenti alina ekisanja kya myaka ebiri ate abalala nti ky’etaano Bonna basazeewo nti kibeera kya myaka etaano nebawera nga bwebagenda okukolaganira […]
Abayekeera e Congo bawanise- Pulezidenti Museveni awera
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ategeezezza ng’amawanga ga Africa bwegalina obusobozi bwonna obwetagisa okumalawo okulwanagana mu ggwanga lya Congo. Ono agamba nti emikago omuli ogwa SADC, African Union ne n’ogutaba amawanga agali mu bitundu ebyetoloddwa Nalubaale girina obusobozi okukola ku kizibu kino , era nga […]
KCCA ezzeemu okuwummuzibwa Agaba
Abadde akulira eby’obuzimbi n’enguudo mu kampala awummuziddwa ku mulimu. George Agaba ku luno awummuziddwa lwa nguzi Ono lweyasooka okuwummuzibwa yali avunaanibwa kukuba masasi mu bantue Luzira kyokka nga bamwejjereza. Akulira abakozi mu KCCA, Jennifer Musisi agamba nti bafunye okwemulugunya okuwera nti ono abadde ajjako abantu […]
Eyasobezebwaako mu kirindi ekubye ku matu
Embeera y’omuwala eyasobozebwaako ekirindi ezze ekuba ku matu. Asobola kati okutambulamu nga tawulidde nnyo bulumi yadde nga kati ekisinga okumutawaanya birowoozo. Omuwala ono agamba nti era ekimuluma kwekulaba nti abasajja bano tebannakwatibwa ng’alina okutya nti bayinza okumulumba. Abasajja ababiri abamu ku baakola ekikolwa kino bakyawenjebwa […]