Amawulire
Abasomesa e Kyambogo balemeddeko
Olukiiko wakati w’abasomesa be Kyambogo n’akakiiko akafuzi lwabuse ngatewali kikyuuse. Bano balemereddwa okutuuka ku kukkaanya kwonna era nga bakuddamu okusisinkana olunaku lw’enkya Olukiiko luno lubadde lugendereddwamu kufuna kyakuddamu ku nsonga ezaaviirako abasomesa okussa wansi ebikola kati nnaku 8 ng’abayizi tebasoma. Mu lukiiko luno abasomesa bakiremeddeko […]
Okubala abantu kwa mwaka gujja
Gavumenti yakukozesa abantu abasoba mu kanaana okubala abantu mu ddimu eritandika omwaka ogujja Akulira ekitongole ekikola ku by’emiwendo Ben Mugyereza, agamba nti okuwandiisa abantu abakola okukola ku kuwandiisa abalala nakwo kwakutandika omwaka ogujja nga kuva ku mutendera gwa disitulikiti Ng’ayogerako eri bannamawulire , Mugyereza agambye […]
Abe kasokoso bagenze mu kkooti
Abatuuze be Kasokoso enkayaana z’ettaka lyaabwe bazitutte mu kooti Ssentebe w’ekyaalo , David Mugalya agamba nti bataddewo ekibinja kya bannamateeka 20 okuyamba abatuuze okutaasa ettaka lyaabwe okuva mu mikono gy’ekitongole kya National housing corporation. Abatuuze bawakanya eby’okubasengula nga bagamba nti ettaka lyaabwe era tebalina gyebalaga. […]
Omufere akwatiddwa
Poliisi ekutte omusajja abadde afera abagula ettaka. Ono aliko gweyabbyeeko obukadde 110 nga yefuula nnanyini ttaka. Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Ibin Ssenkumbi agamba nti Moses Lule wakuvunaanibwa gwa kukozesa lukujjukukku okunyaga abantu. Mu ngeri yeemu era poliisi etandise okuwandiisa taxi okumalawo obubbi bw’omu […]
Kyambogo- Muddeeyo musomese
Abasomesa mu ttendekero lye Kyambogo balagiddwa okudda ku mirimu ku lw’okusatu luno awatali kwekwasa nsonga yonna. Kino kituukiddwaako ba memba ku kakiiko akatwala ettendekero abatudde olunaku lwaleero Bano era bakwasizza Prof Omolo Ndiege ebikola okuddayo ku mulimu gwe. Akulira akakiiko kano, Prof John Okedi agambye […]
E Kyambogo, nnaku musanvu tebasoma
Kati ennaku 7 be ddu nga ettendekero lye Kyambogo liggale. Olwaleero abakulira ettendekero lino poliisi ne prof . Ndiege Omolo nga ono abasomesa bamusindikiriza okuva ku ttendekero lino basuubirwa okwetaba mu lukiiko bateese okulaba ng’abayizi baddamu okusoma. Bano basooka kusisinkana lwa mukaaga kyokka nebatabaako webatuuka […]
Ebigezo by’ekibiina ky’omusanvu bitandise
Ebibuuzo by’ekibiina eky’omusanvu bitandise olunaku lwaleero. Abayizi abasoba mu mitwalo 58 beebasuubirwa okutuula ebigezo bino okwetoloola eggwanga. Abayizi bano bakedde mu kigezo kya okubala ate olweggulo bakole Eddiini. Ssabawandiisi w’ekibiina kya ekikola ku bigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations board (UNEB) agamba nti baasindise […]
Omuliro gukutte ebyuuma ya masanyalaze
Omuliro gukutte ebyuuma ebibunya amasanyalaze mu bitundu bye Mulago n’emiriraano. Ebyuuma bino byebigaba amasanyalaze eri abe Kwempe, Nakulabye ne bizingiramu ne Kololo kko n’ebitundu ebirala. Akulira ekifo kino, Hassan Hussein omuliro agutadde ku masanyalaze agaafunye obuzibu ku ddwaliro lya ba muzibe e Mulago Obuzibu buno […]
Katikkiro kikakasiddwa wakukyaalira palamenti
Spiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga akakasizza nti Katikkiro wa Buganda ow’ekitiibwa Charles Peter Mayiga wakukyaala mu palamenti Kamalabyonna agenda kuba akulembeddemu omulimu gw’okusonda ensimbi z’amasiro ge Kasubi ng’omulimu guno gugenda mu maaso okwetoloola ebitundu bya Buganda ebitali bimu. Akulira akabondo k’ababaka abava mu Buganda, […]
Ensimbi z’amasiro endala zisondeddwa
Ensimbi obukadde 6 zeezisondedwa olunaku olwaleero mu masiro e Kasubi. Ensimbi zino ziwereddwaayo abantu okuva mu kibuga kye Kalisizo, awamu n’abantu sekinoomu. Ate ebintu ebikalu omuli sementi ebitiiyo, obuuma obukebera ebibalirirwamu obukadde 4 byebiwereddwaayo, Ye Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu bas Ssabasajja […]