Skip to content Skip to footer

Bunkenke e Kasokoso

Mamerito

Poliisi eweze okukwata omuntu yenna anagezaako okuleeta akavuyo ku kyaalo kye Kasokoso

Kino kiddiridde abatuuze okukkira ssentebe Mamerito Mugerwa nebamukuba emiggo nebateekeera n’emmotoka ya gavumeti omuliro

Amyuuka omwogezi wa poliisi, Patrick Onyango agamba nti bongedde abasirikale mu kitundu okulaba nti tewabaawo kavuyo konna

Kyokka era mu ngeri yeemu asabye abaayo okusigala nga bakkamu ng’ensonga zaabwe bwezikolebwaako.

Olutalo wakati wa poliisi n’abatuuze bwe Kasokoso lwakafiiramu omuntu omu n’abalala 4 nebasigala n’ebisago

Abe kasokoso bawakanya eky’okusengulwa ku ttaka lyebagamba nti lyaabwe

Leave a comment

0.0/5