Amawulire
Omwana attiddwa bakadde be, n’omukadde alidde ekisaanyi n’afa
Mu district ye Kamuli obutabanguko mu maka bubizadde oluvanyuma lw’omwana okufiira mu kavuyo nyina bw’abadde nga balwana ne bba. Omwana ono ow’emyezi 11 yafiiridde mu kavuyo kano oluvanyuma lwa maama we okulumba bba nebalwana nga amulanga kutunda birime ne yezza sente zonna. Sentebe w’ekyalo Wilberforce […]
Eddwaliro lye Mityana teririna ggwanika
Embeera y’eddwaliro lye Mityana yeeralikiriza. Kizuuliddwa nti eddwaliro lino teririna ggwanika nga kati waliwo kasitoowa akatono akatasobola nakugyamu mirambo gisukka 5 mwebagizinzika. Kasitoowa kano kafunda nyo nga ate temuli byuuma binyogoza , so nga n’akasolya katonnya. Kati giweze emyezi 2 nga tewali ddagala lyakukuba mu […]
Abasuubuzi ku Nasser Beekalakasizza
Abasuubuzi ku luguudo lwa Nasser beekalakasizza nga ssi kirala wabula masanyalaze. Bano abakolero ku kizimbe kya Muzza nga bava mu limu ku maduuka bagamba nti baweebwa bill ya masanyalaze ya bukadde busatu naye nga tebazikozesangako. Basazeewo okukuma ebipiira mu luguudo ekitataganyizza eby’entambula. Poliisi wabual atuuse […]
Abasomesa be Kyambogo bediimye
Abasomesa b’ettendekero lye Kyambogo batandise akeediimo kaabwe. Kiddiridde eyali akulira ettendekero lino Prof Isaiah Ndiege okudda ku ttendekero lino, ekintu kyebaludde nga bawakanya Bano bagamba nti Prof eno adibaze enzirukanya y’ettendekero era nga tebasobola kukolagana naye. Abasomesa bano olulabye Ndiege, nebatandika okuggala ofiisi zaabwe era […]
Aba FDC bakyaali bagumu
Abanene mu kibiina kya FDC bategezeza nga okuva kwa Maj Rubaramira Ruranga’s mu kibiina kino ,bwekitayinza kunafuya kibiina. Kati olw’obutakkanya obweyongera okuyuza ekibiina kino abakulu bategezezza nga bwebalina essuubi mu lusirika lw’abakungu b’ekibiina kino olw’okubeerawo omwaka ogujja okusobola okwetereeza. Okusinziira ku minisita w’ebyobulimi mu gavumenti […]
Okuwandiisa aba bodaboda
Nga ebula ennaku 3 zokka nsalesale w’okuwandiisa abavuzi ba boda boda aggweeko, abagoba ba bodaboda beeyiye ku mawandiisizo ag’enjawulo , era nga balabiddwako nga bali mu nkalalala. Ebimu ku bifo bino mwemuli ku City Hall, Makindye, Kawempe, Lubaga, Nakawa neku kitebe kya division ya Kampala. […]
Abasomesa be Kyambogo bazzeemu
Abasomesa b’ettendekero lye Kyambogo baweze okutanula okwekalakaasa , singa amyukassenkulu’w’ettendekero lino agezaako okulinya ekigere ku tendekero lino. Kino kisaliddwaawo mu lukungaana lw’abasaomesa bano ,oluvanyuma lwa kooti ye Nakawa okulagira Isaiah Omolo Ndiege adde ku mulimu. Abasomesa bano bategezezza nti kooti y’asazewo nga okunonyereza tekunaggwa kale […]
Abakuumi bagobeddwa ku mirimu
Abakozi mu kkampuni ekola ogw’obukuumi eya Saracen abawererea dala 47 bagobeddwa nga bavunaanibwa kwekalakaasa Bano batugambye nti ebbaluwa ebaweereddwa eraga nti balangibwa kulaga nti bagobeddwa lwakwetaba mu kwekalakaasa Bino bigenze okugwaawo nga bano beekubira dda enduulu eri ekimu ku bibiina ebitaba abakozi ekya platform for […]
Rubalamira asaze eddiiro
Abadde akulira akakiiko k’eby’okulonda mu kibiina kya FDC ,munnamagye eyawumula Maj Rubalamira Ruranga ategezezza nga bwatejusa kusala diiro kuddayo mu kibiina kya NRM. Ng’awayaamu ne Dembe FM, Ruranga ategezezza nga bw’amaze obulamu bwe obusinga nga atoba n’ekirwadde kya mukenenya nga ate pulezidenti naye abadde musaale […]
Omusawo owe mukono agobwe
Ensonga z’omusawo eyalagajjalira omukyala w’olubuto n’afa zikutte wansi ne waggulu Ekimu ku kibina ky’obwanakyewa ekya Center for Health, Human Rights and Development kyakukwanga akakiiko akakola ku nsonga z’abasawo ekiwandiiko ekiragira omusawo eyaavako omukyala ono okufa agobwe n’ebbaluwa zze zisazibweemu n’ensonga endala. Akulira ekibiina kino Moses […]