Amawulire
TTabamiruka wa Buganda atuuse
Obwakabaka bwa Buganda bugenda kutandika okwekubamu ttooki okulaba webunabeera emyaka 20 egijja Kino kigenda kukolebwa mu ttabamiruka w;omwaka guno agenda okutandika nga 18 owmezi gwa December. Ssabawolereza wa Buganda, Apollo Makubuya agamba nti bagaala kwetegereza oba bali mu kkubo etuufu n’okulaba aw’okutereeza Ttabmiruka ono agenda […]
Enjuba okulwana n’omwezi- abalambuzi bajja
Bangi beesunga okulaba enjuba ng’erwana n’omwezi. Tekijja kukoma ku kunyumirwa, wabula n’eggwanga lyakuganyulwaamu buwanana. Abalambuzi abasoba mu mitwalo 3 beebasuubirwa mu ggwanga mu Uganda nga bano bagenda kuleka emisolo Omu ku bakulira kkampuni eyingiza abalambuzi eya Great African Safaris Amos Wekesa agamba nti Uganda yamukisa […]
Balumbye ekibanda ky’emmotoka
Poliisi ekyagumbye ku kibanda ky’emmotoka ekya YUASA ab’ebibiina by’obwa nakyeewa gyebakedde okwekalakaasizza. Aba Action AID ne FIDA, beebakulembeddemu abeekalakaasi abalumbey ekibanda kino n’ebipande ebisaba nti abasajja abasobya ku muwala ekirindi nga baali bakola mu kibanda kino bakwatibwe Bano era baliko omukuku gw’ebbaluwa gwebakuutidde nnanyini kibanda […]
Okuwandiisa aba Boda- Bizzeemu okutiisatiisa
Okuwandiisa abagoba ba bodaboda kukyagenda mu maaso wakati mu kwemulugunya nti waliwo abatulugunya abo ate abeewandiisa. Poliisi egamba nti efunye okwemulugunya nti waliwo ogubinda ogutulugunya abeewandiisa nti babaliddemu olukwe. Akakiiko ka bantu basatu kassiddwawo okunonyereza ku ngambo zino kakole alipoota. Omu ku batuula ku kakiiko […]
Ettemu mu kampala
Poliisi etandise okubuuliriza ku ttemu eryabadde e mutungo mu kiro ekikesezza olunaku lwaleero Abasajja abatannaba kutegeerekeka ababadde babagalidde emmundu bakubye amasasi owa Bodaboda n;afiirawo olwo nebakuulita ne piki ye Omugenzi ategerekeseeko lya Junior nga bamusanze atudde ku lubalaza lw’edduuka lya mukwano gwe erisangibwa mu zone […]
Obwavu, Katikkiro atongozezza akakiiko
Gavumenti ya ssabassajja kabaka e mengo ezze na nkuba mpya ng’ekigendererwa kati kyakulaba nti buli muntu afuna enkumi ssaatu olunaku. Okutuukiriza kino gavumenti eno egenda kuyita mu kibiina kya BUCADEF nga kino omulimu gwaakyo kutumbula Buganda Omulaka gussiddwa ku balimi nga wakiri buli maka galina […]
Enguzi esusse
Alipoota efulumiziddwa ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abantu ekya Human Right Watch eraga nti gavumenti esuddeyo gw annaggamba okulwanyisa enguzi Alipoota esonze ku banene mu gavumenti abeezibika ensimbi z’omuwi w’omusolo naye nebasigala nga balya butaala Alipoota eno efulumiziddwa ku mulamwa ogugamba nti okukwata abatono bokka tekimala kulwanyisa […]
Aba Pakistani babawenja
Poliisi eyisizza ekiragiro ki bakuntumye eri abasajja enzaalwa ze Pakistan abasobya ku muwala ekirindi Zaheer Mohammed ne Sadiq Muhammed badduka oluvanyuma lw’okusobya ku muwala ow’emyaka 23 ekirindi ne badduka Ekiwandiiko ekissiddwaako omukono gwa senkaggale wa poliisi gen Kale Kaihura kyooleka nga bano bwebetaagibwa ku misango […]
Poliisi enywezezza eby’okwerinda
Ng’abatujju beeswanta, poliisi mu kampala eyiye basajja baayo okwetoolola ebifo ebikungaanya abantu abangi. Enkya ya leero poliisi etuuse mu buli kanyomero akalimu abantua bangi omubadde ne paaka za baasi. Aduumira poliisi mu bukiikaddyo bwa kampala, Michael Mugabi agamba nti bakusigala nga bakebera buli muntua yingira […]
Ebya Nebanda bya mpuna
Agambibwa okuba nti yeeyali muganzi w’omubaka Celina Nebanda nga ye Adam Kalungi awunikirizza kooti e Makindye bw’ategeezezza nga bweyasuubizibwa obuwanana bw’ensimbi okukkiriza nti yeeyatta muganzi we Kalungi asoose kwegaana b’avunaanibwa nabo ng’agamba nti tabamanyi era bamulagira akkirize nti abamanyi kyokka nga yali tabalabangako. Ono agamba […]