Bangi beesunga okulaba enjuba ng’erwana n’omwezi.
Tekijja kukoma ku kunyumirwa, wabula n’eggwanga lyakuganyulwaamu buwanana.
Abalambuzi abasoba mu mitwalo 3 beebasuubirwa mu ggwanga mu Uganda nga bano bagenda kuleka emisolo
Omu ku bakulira kkampuni eyingiza abalambuzi eya Great African Safaris Amos Wekesa agamba nti Uganda yamukisa okuba nti mu nsi yonna yalondedwa ng'ekifo ekigenda okulabibwaamu ensitaano eno.
Wekesa agamba nti…
Poliisi ekyagumbye ku kibanda ky’emmotoka ekya YUASA ab’ebibiina by’obwa nakyeewa gyebakedde okwekalakaasizza.
Aba Action AID ne FIDA, beebakulembeddemu abeekalakaasi abalumbey ekibanda kino n’ebipande ebisaba nti abasajja abasobya ku muwala ekirindi nga baali bakola mu kibanda kino bakwatibwe
Bano era baliko omukuku gw’ebbaluwa gwebakuutidde nnanyini kibanda kyokka nga tabaddewo.
Wabula poliisi ng’ekulira Wesley Nganizi abatutte ne babugi ssimufungize
Nganizi agambye…
Okuwandiisa abagoba ba bodaboda kukyagenda mu maaso wakati mu kwemulugunya nti waliwo abatulugunya abo ate abeewandiisa.
Poliisi egamba nti efunye okwemulugunya nti waliwo ogubinda ogutulugunya abeewandiisa nti babaliddemu olukwe.
Akakiiko ka bantu basatu kassiddwawo okunonyereza ku ngambo zino kakole alipoota.
Omu ku batuula ku kakiiko kano y’akulilira poliisi egatta ekitongole kino muntu wa bulijjo Anatooli Muleterwa.
Bino bizze nga…
Poliisi etandise okubuuliriza ku ttemu eryabadde e mutungo mu kiro ekikesezza olunaku lwaleero
Abasajja abatannaba kutegeerekeka ababadde babagalidde emmundu bakubye amasasi owa Bodaboda n;afiirawo olwo nebakuulita ne piki ye
Omugenzi ategerekeseeko lya Junior nga bamusanze atudde ku lubalaza lw’edduuka lya mukwano gwe erisangibwa mu zone 3 e Mutungo.
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, ibin Ssenkumbi agamba nti…
Gavumenti ya ssabassajja kabaka e mengo ezze na nkuba mpya ng’ekigendererwa kati kyakulaba nti buli muntu afuna enkumi ssaatu olunaku.
Okutuukiriza kino gavumenti eno egenda kuyita mu kibiina kya BUCADEF nga kino omulimu gwaakyo kutumbula Buganda
Omulaka gussiddwa ku balimi nga wakiri buli maka galina okwewa ekigezo ekitunda ebyamaguzi ebinavaamue nkumi ssatu
Ekigendereddwa mu kino kujja bantu mu…
Alipoota efulumiziddwa ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abantu ekya Human Right Watch eraga nti gavumenti esuddeyo gw annaggamba okulwanyisa enguzi
Alipoota esonze ku banene mu gavumenti abeezibika ensimbi z’omuwi w’omusolo naye nebasigala nga balya butaala
Alipoota eno efulumiziddwa ku mulamwa ogugamba nti okukwata abatono bokka tekimala kulwanyisa nguzi
Awansinze okusongebwa ye ofiisi ya ssabaminista awagambibw aokuba nti waliwo okubwebwebana ensimbi…
Poliisi eyisizza ekiragiro ki bakuntumye eri abasajja enzaalwa ze Pakistan abasobya ku muwala ekirindi
Zaheer Mohammed ne Sadiq Muhammed badduka oluvanyuma lw’okusobya ku muwala ow’emyaka 23 ekirindi ne badduka
Ekiwandiiko ekissiddwaako omukono gwa senkaggale wa poliisi gen Kale Kaihura kyooleka nga bano bwebetaagibwa ku misango gy’okukaka omuwala omukwano n’okumukabasanya mu ngeri ekontana n’ennono.
Kaihura era asabye omuntu yenna…
Ng’abatujju beeswanta, poliisi mu kampala eyiye basajja baayo okwetoolola ebifo ebikungaanya abantu abangi.
Enkya ya leero poliisi etuuse mu buli kanyomero akalimu abantua bangi omubadde ne paaka za baasi.
Aduumira poliisi mu bukiikaddyo bwa kampala, Michael Mugabi agamba nti bakusigala nga bakebera buli muntua yingira n’okufuluma okulaba nti tewabaawo bantu bakyaamu balumbs ggwanga.
Mu ngeri yeemu minisita akola…
Agambibwa okuba nti yeeyali muganzi w’omubaka Celina Nebanda nga ye Adam Kalungi awunikirizza kooti e Makindye bw’ategeezezza nga bweyasuubizibwa obuwanana bw’ensimbi okukkiriza nti yeeyatta muganzi we
Kalungi asoose kwegaana b'avunaanibwa nabo ng’agamba nti tabamanyi era bamulagira akkirize nti abamanyi kyokka nga yali tabalabangako.
Ono agamba nti nga bamukwatidde e Mombasa, abapoliisi ba Uganda bamulagira okukkiriza nti baalinga…
Mwana muwala omuli w'ensimbi Bad Black akwatiddwa
Black bamukwatidde Rwanda.
Akulira poliisi y’ensi yonna mu Uganda, Assan Kasingye agamba nti ono baali bamuyisaako dda ekiwandiiko ki bakuntumye .
Kasingye agamba nti abe Rwanda basoose kumusoya bibuuzo nga bagenda kumusindika mu Uganda akadde konna
Kasingye agamba nti Bad Black agenda kuggulwaako emisango emiggya egy'obutalabikako mu kooti
Black avuunanibwa kubwebwena nsimbi za…