Amawulire
Museveni tannaweera ku loodimeeya- Ne Lukwago amwanukudde
Pulezidenti museveni azeemu okulagira loodii meeya Erias Lukwago yetonde. Ng’aggulawo paaka empya erudde ng’ekolebwa, pulezidenti agambye nti tagenda kuweera okutuusa nga Lukwago amaze okwetonda Pulezident era yewaanye okuba ng’amaanyi agasinga yagawa akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi gw’asiimye okukola emirimu kinnawadda Bino pulezident agenze okuddamu […]
Olanya yetonze
Amyuuka sipiika Jacob Olanya apondose neyetonda Ono bw’abadde ayogerako eri ababaka mu lutuula lwa leero yetonze olw’akavuyo akaaliwo ng’omubaka Semuju Nganda afulumizibwa palamenti Ono wabula agambye nti yakikola kulaba nti tewabaawo ffujjo lyonna era nga akyayogeraganyaamu n’akulira abavuganya mu palamenti Olanya era akkirizza ababaka bonna […]
Yasobya ku muzibe
Omusajja eyasobya ku mwana muzibe asibiddwa emyaka 30 Ronald Kule yasobya ku muwala ono ow’emyaka 15 ng’ono yakozesa akakisa nti talaba ate nga tawulira Omusajja ono ow’ettima kigambibwa okuba nga yabaza omuwala ono ng’ali mu kinaabiro n’amugwiira. Omulamuzi wa kooti enkulu e Kasese Dan Akiiki […]
Akabenje kasse bataano
Abantu bataano bafiiriddewo mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu Ababaddewo n’akabenje kano kagwaawo bagamba nti emmotoka ye Makerere ekonaganye n’endala eya MTN Abasatu ku bafudde babadde ba mtn ate 2 ne Makerere. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Lameck Kigozi […]
Ssabassajja akoze bulungi bwa nsi
Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri olwaleero asiibye mu ssaza lye erye Kyaggwe Omutanda abadde atongoza mikolo gya bulungi bwa nsi ng’eno asimbyeeyo n’emiti. Omutanda yasiimye okwetaba mu mikolo egya bulungi nga gino gikwatagana n’obwetwaaze bwa Buganda obukwatibwa nga 8 omwezi ogw’omunaana Emikolo yadde gibaddemu […]
Pulezident yeweredde abavuganya mu kampala
Pulezident Museveni alumbye bannabyabufuzi abalemesa enteekateeka za gavumenti naddala mu Kampala Ng’aggulawo akatale ke Wandegeya , president agambye nti tagenda kukkiriza muntu yenna ayimirira mu nteekateeka za nkulakulana Ng’asonga mu babaka abaagobwa mu kibiina kya NRM, Pulezidenti era agambye nti ababaka bano bagobwa mu kibiina […]
Enkuba abagoyezza
Enkuba eya maanyi etonnye e Mubende erese abantu beemagazza Abasinze okukosebwa be Madudu nga bano tebasigazza mmere , ebisolo n’amayumba Omwogezi w’ekitongole ekiddukirize ekya Uganda Redcross Catherine Ntabadde agamba nti basindise ekibinja kyaabwe okwongera okutegeera engeri abantu gyebakoseddwaamu balabe engeri y’okuyambamu
Eyakubye amasasi abantu mukwate
Poliisi mu Kampala emaze n’ekwata omusajja , agambibwa okukuba amasasi mu bantu ku baala eya Top bar. Akwatidwa ategerekesse nga Deogratius Ilukol nga ono mukozi mu kkampuni eya Hash security era ng’ono y’abadde akulira ekitongole ekikuuma eby’okulwanyisa Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emirirano Ibin Ssenkumbi agamba […]
Eggwanika ly’emirambo e Mulago lyesisiwaza
Ekiri mu ggwanika ly’emirambo mu ddwaliro e Mulago kibi nnyo. Ekisu kyekyaniriza agendayo, ebyuuma ebinyogoza tebiriiwo, ebibaafu omunaazibwa abafu byatalagga dda ,abakozi abakola ku mirambo gino bafuna emitwalo 20 ate akulira eggwanika afuna emitwalo 35. Eggwanika lyenyini terimala ng’abafu bapakirabapakire. Ab’eddwaliro lye Mulago bagamba nti […]
Bitabuse e Mengo-abakozi bakuddamu okusaba emirimu
Obwakabaka bwa Buganda bufulumizza amateeka amakakali ku nzirukanya y’emirimu. Amateeka gano essira galisimbye ku nyingiz an’enfulumya y’ensimbi kko n’enyingiza N’abakozi bonna mu bitongole ebitali bimu e Bulange bagenda kuddamu okuwandiisibwa okulaba nti babeera n’ebisnayiizo Alangiridde bino ye mwogezi wa Buganda Owekkit Dennis Walusimbi Ssengendo owek […]