Amawulire
Ebikujjuko bya kampala,egaali yakutambuza abantu
Enguudo ezimu zakuggalwa olunaku lw’enkya. Kino kigenda kukolebwa nga bannakampala betegekera ekikujjuko ky’omwaka ekitegekeddwa KCCA Omwogezi wa KCCA, Ibin SSenkumbi agamba nti oluguudo lwa jjinja lwakuggalwa okuva ku kitgum house okutuukira ddala ku nkulungo ya Jinja Senkumbi agamba nti abasilikale 4000 beebasiddwaawo okukuuma obutebenkevu Yye […]
Basuulibwa mu ddwaliro
Eddwaliro ekkulu e mulago liri mubwelalikirivu olw’abalwadde abangi abaleetebwa yo nga tebalina bajjanjabi. Olunaku lwaleero lwokka abalwadde abawerera ddala 10 bebabadde muziwadi ezenjawulo nga tebalina babajjanjaba. Omu kw’abo gwetwogeddeko naye agamba nti amanya ge ye Emmanuel Wanati omutuuze we kibuli agamba nti amaze mu ddwaliro […]
Sejusa abijjeemu enta
Bannamateeka ba Gen David Sejusa babigyeemu enta Bano olwaleero babadde balina okuleeta obujulizi obukakasa nti obulamu bw assejus abuli mu katyabaga n’okuleeta obujulizi obukakasa nti y’abatuma kyokka nga tebakokoze. Omu ku bannamateeka bano Fred Mukasa Mbidde agambye nti tebasuubira kalungi mu kakiiko era bwebatyo nebasuulayo […]
Alipoota ku Lukwago ya mwezi guno
Akakiiko akassibwaawo okunonyereza ku neeyisa loodimeeya wa Kampala kakufulumya alipoota ku nkomerero y’omwezi guno Akakiiko kano kasiibwaawo mu myezi gw’omukaaga kunonyereza ku kiwandiiko ba councilor 17 mwebayita okusaba nti loodimeeya agyibweemu obwesige Minista wa kampala, Frank Tumwebaza nga yeeyassaawo akakiiko kano agamba nti buli kimu […]
Eby’omukozi eyatulugunyiziddwa biranze
Poliisi ekyagenda mu maaso n’omuyiggo gwa musajja waayo eyatulugunyizza omukozi. Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agamba nti ono yoomu ku basajja abataano abagambibwa okutulugunya eyal omukozi wa mukwnao Kassim Suuna Nabakooba agamba nti bano bagenda kuvunaanibwa ngamateeka bwegalagira Nga poliisi ekangula eddoboozi bbo ab’ekibiina ekirwanirira […]
Omukwasi w’abaana
Abatuuze mu zone ye Katoogo mu bitundu bye Ggaba bavudde mu mbeera nebalirika omusajja gwebatebereza okusobya ku baana babwe emigobante. Omusajja ono ategerekese nga Arafat Lubwama awonedde wanoto okutibwa era nga polisi okuva e Ggaba yemutasiza. Ate okuva e Gaba okudda e Kansanga,abatuuze mu kitundu […]
Omwana afudde amasanyalaze
Omwana ow’omwaka ogumu akubiddwa amasasi agamuttiddewo Omwana ono ategerekese nga Arafati Bakulumpagi ng’abadde azannyira mu luggya mw’alinyidde ku masanyalaze Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Phillip Mukasa agambye nti omu ku baliranwa baabwe abadde abba amasanyalaze era nga wire zibadde ku ngulu Muliranwa ono olumaze […]
Gavumenti ekonaganye ku Sejusa
Ng’ensonga za Gen David Sejusa` zikyalinya enkandago , nate obujulizi obuleetebwa mu kakiiko akamubuulirizaako bwongedde okukonagana. Akawungeezi akayise minista omubeezi akola ku by’okwerinda Jeje Odong yategeezezza nga Sejusa bw’akyakulira ekitongole ekikessi mu ggwanga , kyokka ate bino byonna minisita akola ku butebenkevu Muluuli Mukasa abisaabuludde, […]
Omutujju yesozze eggwanga
Poliisi egamba nti waliwo omutujju ayingidde eggwanga Mueller Ahmed Khalid yayingidde Uganda olunaku lwajjo Ekiwandiiko kya poliisi kiraga nti omusajja ono enzaalwa ye Bugirimaani era nga yayise Limulu ng’akozesa baasi ya kaliita Ono yavudde ku baasi eno ng’aliko w’atuuse awatannaba kutegerekeka ku luguudo lwe jjinja […]
Bataano bafiiidde mu kabenje
Abantu bataano beebafiridde mu kabenje akagudde e seta olweggulo lwaleero Mu bafudde kwekuli n’omwana Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Idi Bin Senkumbi agamba nti akabenje kano kavudde ku ki trailer no UAP 512A ekiremeredde omugoba waakyo. Amannya g’abagenzi tegannamanyika