Amawulire
Pulezidenti Museveni alabudde Sejusa
Pulezidenti Museveni alangiridde Gen David Sejusa mu lubu lw’abajaasi abasuulawo emirimu gyaabwe era wakukolwaako ng’amateeka bwegalagira Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu maka ge e Nakasero, pulezidenti agambye nti Sejusa alekere awo okwogerera gy’ali bw’aba musajja. Ono agamba nti kimenya mateeka munnamaggye yenna okusuulawo emirimu gye […]
Omubaka Semuju Nganda ku mpaka afulumiziddwa palamenti
Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti beekendazze nebafuluma olukiiko olukulu olw’eggwanga Kiddiridde amyuka spiika Jacob Olanya okulagira abasilikale ba palamenti okuwalawala omubaka Ibrahim Semuju Nganda okumufulumya mu palamenti Ono asoose kugaana kwetonda ekinyizizza Olanya Nganda yali yawummuzibwa okumala entuula ssatu nga tateesa era olwaleero lw’akomyeewo […]
Bakulawuna amalwaliro
Ababaka ba palamenti abakyala abali mu kisinde ky’ababaka abakyala ne ba minister ku semazinga wa Africa bakujaguza ameefuga g’eggwanga mu ngeri ya njawulo nnyo. Bano bagenda kumala olunaku luno nga balambula waadi z’amalwaliro agatali gamu Akulira ekisinde kino mu Ugandan Sylivia Namabidde agamba nti okutalaaga […]
Owa Mukwano akyaali mu bulumi
Eyali omukozi mu kkolero lya mukwano, akyaali mu bulumi, Omusajja ono yalumbibwa abasilikale ba poliisi bweyali agenze okubanja ensimbi ze era okuva olwo ali bubi Kassimu suuna abadde abanja kkampuni eno oluvanyuma lw’okutemwaako engalo bbiri bweyali ali ku mirimu Kassim agamba nti obulumi katia buwulira […]
Omuzungu afiiridde mu loogi
Poliisi e Kayunga etandise okunonyereza ku mukyala enzaalwa ye Hungary asangiddwa mu loogi nga mufu Omukyala ono ategerekese nga Catherine Onsoria Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Lameck Kigozi agamba nti omukyala ono abadde akomyeewo kutegeka mbaga ne muganzi we Godwin Binyiri owemyaka 30 Kigozi […]
Abasomesa boosa nnyo
Abasomesa abeebuzaawo ku mirimu beebasinze okutattana omutindo gw’ebyenjigiriza Alipoota efulumiziddwa minisitule y’ebyenjigiriza egamba nti abasomesa abawerako beepena okusomesa nebadda mu lugambo mu yafiisi zaabwe. Ate bbo abalina okubalondoola okulaba oba bakola bavivaako dda nga nabo basiiba mu byaabwe Minisita akola ku byenjigiriza Jessica Alupo agamba […]
Sejusa y’akyakulira ekitongole ekikessi
General David Sejjusa y’akyakulira ekitongole ekikessi mu ggwanga. Bino abyogedde ye minister omubeezi akola ku by’okwerinda, Jeje Odong bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakwasisa empisa akanonyereza ku nneyisa ya Sejusa ey’okusuulawo emirimo Odongo agamba nti Sejjusa tagobwangako mu maggye ate ng’era tebannafuna amuddira mu […]
Ebya Sejusa tebinnaba kuteeerera
Akakakiiko ka palamenti akakola ku mateeka agatwaala palamenti n’okukwasisa empisa kalagide bannamateeka ba Gen David Sejusa okuleeta obujulizi okulaga nti omuntu waabwe obulamu bwe bbuli mu katyabaga ssinga amala n’adda mu ggwanga. Bino bituukiddwako olwalweero bannamateeka be okuli Fred Mukasa Mbidde ne Joseph Luzige bwebabadde […]
Abalongo ba nabansasana bafudde
Abalongo ba nabansasaaana abazaaliddwa e Mbarara bafudde. Abalongo bano babadde balina emitwe ebiri, amagulu abiri, emikono ebiri kyokka nga balina ekifuba kimu. Maama waabwe Anabella Kansiime yagaanye eby’okukyuusa abaana bano okubazza e Mulago era nga kino kyekyalemesezza eb’eddwaliro okubaako nekyebakola. Akulira eddwaliro lino Dr […]
Omubaka Gregory Matovu aziikibwa lwa kuna
Omulambo gw’omubaka abadde akiikirira abe Bukanga mu Lukiiko olukulu ow’eggwanga olunaku lwenkya lwegugenda okutwalibwa mu palamenti Gregory Matovu afudde oluvanyuma lw’okumala akabanga ng’atawanyizibwa kokoolo w’emimiro Okusinziira ku nteekateeka efulumiziddwa, omugenzi agenda kusabirwa enkya ku eklezia katolika eya Yesu ye Kabaka nga tannatwalibwa ku palamenti ababaka […]