Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Omubaka Semuju Nganda ku mpaka afulumiziddwa palamenti

Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti beekendazze nebafuluma olukiiko olukulu olw’eggwanga Kiddiridde amyuka spiika Jacob Olanya okulagira abasilikale ba palamenti okuwalawala omubaka Ibrahim Semuju Nganda okumufulumya mu palamenti Ono asoose kugaana kwetonda ekinyizizza Olanya Nganda yali yawummuzibwa okumala entuula ssatu nga tateesa era olwaleero lw’akomyeewo kyokka nga bamulagidde nti okuteesa amala kwetondanaye ky’agaanye ng’agamba nti yamaze okukola ekibonerezo…

Read More

Bakulawuna amalwaliro

Ababaka ba palamenti abakyala abali mu kisinde ky’ababaka abakyala ne ba minister ku semazinga wa Africa bakujaguza ameefuga g’eggwanga mu ngeri ya njawulo nnyo. Bano bagenda kumala olunaku luno nga balambula waadi z’amalwaliro agatali gamu Akulira ekisinde kino mu Ugandan Sylivia Namabidde agamba nti okutalaaga waadi zino bagenda kukutambuliza ku mulamwa gw’okukendeeza emizizoko egivaako abakyala okufiira mu…

Read More

Owa Mukwano akyaali mu bulumi

Eyali omukozi mu kkolero lya mukwano, akyaali mu bulumi, Omusajja ono yalumbibwa abasilikale ba poliisi bweyali agenze okubanja ensimbi ze era okuva olwo ali bubi Kassimu suuna abadde abanja kkampuni eno oluvanyuma lw’okutemwaako engalo bbiri bweyali ali ku mirimu Kassim agamba nti obulumi katia buwulira mu kifuba mu mutwe nga n’okugulu okumu tekusobola kutambula Aba kkampuni ya Mukwano beegaanye…

Read More

Omuzungu afiiridde mu loogi

Poliisi e Kayunga etandise okunonyereza ku mukyala enzaalwa ye Hungary asangiddwa mu loogi nga mufu Omukyala ono ategerekese nga Catherine Onsoria Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Lameck Kigozi agamba nti omukyala ono abadde akomyeewo kutegeka mbaga ne muganzi we Godwin Binyiri owemyaka 30 Kigozi agamba nti omukyala ono yazze n’eddagala eriwera eky’omusujja gw’ensiri nga batebereza nti lyandiba…

Read More

Abasomesa boosa nnyo

Abasomesa abeebuzaawo ku mirimu beebasinze okutattana omutindo gw’ebyenjigiriza Alipoota efulumiziddwa minisitule y'ebyenjigiriza egamba nti abasomesa abawerako beepena okusomesa nebadda mu lugambo mu yafiisi zaabwe. Ate bbo abalina okubalondoola okulaba oba bakola bavivaako dda nga nabo basiiba mu byaabwe Minisita akola ku byenjigiriza Jessica Alupo agamba nti abasomesa bano era abamu balina ebizibu okutaputa byebasomesa abaana kale nga n’abayizi…

Read More

Sejusa y’akyakulira ekitongole ekikessi

General David Sejjusa y’akyakulira ekitongole ekikessi mu ggwanga. Bino abyogedde ye minister omubeezi akola ku by'okwerinda, Jeje Odong bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakwasisa empisa akanonyereza ku nneyisa ya Sejusa ey’okusuulawo emirimo Odongo agamba nti Sejjusa tagobwangako mu maggye ate ng'era tebannafuna amuddira mu bigere. Ono wabula agamba nti ssinga anakomawo wakaunyonyola lwaki yadduka ku mirimo nga…

Read More

Ebya Sejusa tebinnaba kuteeerera

Akakakiiko ka palamenti akakola ku mateeka agatwaala palamenti n'okukwasisa empisa  kalagide bannamateeka ba Gen David Sejusa  okuleeta obujulizi okulaga nti omuntu waabwe obulamu bwe bbuli mu katyabaga ssinga amala n'adda mu ggwanga. Bino bituukiddwako olwalweero bannamateeka be okuli Fred Mukasa Mbidde ne Joseph Luzige bwebabadde balabiseeko mu maaso g'akakiiko kano okuwolereza omuntu waabwe kaakano ali e…

Read More

Abalongo ba nabansasana bafudde

  Abalongo ba nabansasaaana abazaaliddwa e Mbarara bafudde. Abalongo bano babadde balina emitwe ebiri, amagulu abiri, emikono ebiri kyokka nga balina ekifuba kimu. Maama waabwe Anabella Kansiime yagaanye eby'okukyuusa abaana bano okubazza e Mulago era nga kino kyekyalemesezza eb'eddwaliro okubaako nekyebakola. Akulira eddwaliro lino Dr George Upenytho agamba nti abaana bano babadde ba bingi ebitambula bulungi mu mibiri gyaabwe…

Read More

Omubaka Gregory Matovu aziikibwa lwa kuna

Omulambo gw’omubaka abadde akiikirira abe Bukanga mu Lukiiko olukulu ow’eggwanga olunaku lwenkya lwegugenda okutwalibwa mu palamenti Gregory Matovu afudde oluvanyuma lw’okumala akabanga ng’atawanyizibwa kokoolo w’emimiro Okusinziira ku nteekateeka efulumiziddwa, omugenzi agenda kusabirwa enkya ku eklezia katolika eya Yesu ye Kabaka nga tannatwalibwa ku palamenti ababaka bamukubeko eriiso evvanyuma. Olweggulo, ababaka bakutuula ku Lukiiko olwenjawulo okusiima emirimu omugenzi gy’akoledde…

Read More

Omukuumi asse mukama we

Poliisi ebaze ku muyiggo gw’omukuumi agambibwa okutta mukama we omuyindi mu bitundu bye Bunga Najib Bruhan akolera kkampuni ya Delta yakubye mukama we Harris Sharma amasasi agaamusse ng’amubanja Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agamba nti bakyakolagana ne kkampuni emukozesa okulaba engeri gyebamukwatamu avunaanibwe

Read More