Waliwo abalongo ba nabansansana abazaaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Mbarara.
Abalongo bano balina emitwe ebiri, amagulu abiri, emikono ebiri kyokka nga balina ekifuba kimu.
Maama waabwe Anabella Kansiime balongosezza mulongoose mu kubazaala.
Akulira eddwaliro lino Dr George Upenytho agamba nti bagenda kukyuusa abaana bano babatwale mu ddwaliro e Mulago kyokka nga baluddewo kubanga maama waabwe ekyagaanye
Dr. Upenytho agamba…
Ekitongole ekiddukanya ekibuga ekya Kampala capital city authority kyeganye ebigambibwa nti kyaweze okwaziina ku mizikiti gy’abasiraamu.
Kino kiddiridde abakulembeze babayisiramu okuvumirira kino
Kigambibwa nti mu bbaluwa gyeyawandiika nga 17th September, akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi yawandikira Mufti Sheikh Shaban Mubajje, ng'amuyita mu lukungaana olwaali lukwata ku abawogganira abalala mu kibuga.
Wabula Muisisi yeganye ebbaluwa eno n'ategeeza nga…
Omubaka akiikirira abantu be Bukanga mu lukiiko olukulu olw'eggwanga Gregory Matovu afudde
Ono afudde nkya ya leero mu ddwaliro lya Nakasero Hospital.
Ono kigambibwa okuba ng'afudde kokoolo w'emimiri aludde ng'amuluma.
Omwogezi wa palamenti, omukyala Hellen Kaweesa agamba nti kyannaku nti bafiriddwa omubaka omulala nga bakyaakungubagira ababaka abalala abaze bafa.
Omubaka ono abadde ava mu kibiina kya NRM abadde atuula…
Eggulu lisse abantu babiri e Kisoro.
Abana bali bubi ate abalala mukaaga bali ku bitanda
Omwogezi w'ekitongole ekiddukirize ekya RedCross akakasizza amawulire gano
Alipoota ekwata ku neeyisa ya Gen David Sejusa yakufuluma mu ssaabiiti bbiri.
Sipiika Rebecca Kadaga alagidde akakiiko akakola ku mateeka agatwala palamenti okunonyereza ku nneyisa ya Gen Sejusa kamukwase elipoota.
Kino kiddiridde sipiika yoomu okugaana okwongezaayo oluwummula lwe ng'agamba nti teyamutegeeza.
Kadaga olwaleero ategeezezza palamenti nti Sejusa yayosa emirundi 15 nga tamubuulidde era ng'aba alina okunonerezebwa
Sejusa yategeeza nga…
Amaduuka amaduuka agatunda amasimu agasoba mu 40 ku luguudo lwa Luwum Street gereeddwa nga tegasigazza yadde essimu emu.
gano gagaddwa mu kikwekweto ekikoleddwa ekitongole ekiwooza omusolo nga kiyambibwaako poliisi
Batandikidde ku bizimbe bya on Zainabu ne Mutaasa Kafeero olwo nebabuna ebizimbe ebirala okuli Garilaaya, Majestic n'ebirala.
Wabula abasubuuzi baatandise dda okwemulugunya ku kikwekweto kino nti abamu balekeddwa…
E Kasese ku kyaalo Kabukero miranga oluvanyuma lw'ettaka okubumbulukuka neriziika abaana 3.
Sentebe we ggombolola mu kitundu kino, Stephen Muthekengwa agamba emirambo gy'abaana bano gimaze okuzikulwa.
Enkuba eyafudembye yebumbuludde ettaka eryabisse enyumba abaana bano mwebabadde era nebafiramu.
Guno mulundi gwakusatu nga abaana bafiira mu kubumbulukuka kw'ettaka mu gombolola ye Mahango .
Omwaka oguwedde abantu 4 beebafa ettaka bweryabumbulukuk nga…
Yadde nga amasasi n’okubwatuka kwa bbomu byasirikiriramu mu bukiikakkono bw'eggwanga,abaayo bakyabonaboona.
Okusinzira ku alipoota y’ekibiina kya ekikola okunonyereza ekyensi yonna ekya International Alert ,enkaayana z’ettaka zeyongera buli lukya nga kw'ogasse n'obutabanguko mu maka.
Bw'abadde afulumya alipoota eno, ekubye toochi mu mirembe n'obutabanguko mu kitundu kino, akulira ekibiina kino Richard Busingye agamba kino kiviiriddeko abantu ab'etta okweyongera mu…
Omusajja enzaalwa ya Somalia wakusigala nga yevuma ekisa.
Ono yagulidde abatuuze omwenge nebaddugaza emeeza wabula olwamaze nebamwefuulira nebamuwaayo eri poliisi nga bemulugunya ku wa gyeyabadde ajje sente enyingi bwezityo.
Abatuuze bbo balowoozezza nti yandiba ng'alya ku za batujju era bwebatyo nebamuwaayo.
Omwogezi wa poliisi mu bukiikaddyo bw’ekitundu kya Buganda , Noah Serunjogi agamba oluvanyuma lw'okumusoya ebibuuzo, bakizudde nga…
Abasomesa bayimirizza akeediimo kaabwe
Kiddiridde enkiiko ezitali zimu zeebatuddemu ne gavumenti
Ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasomesa ekya UNATU, James Tweheyo agamba nti bayimirizzaamu okuwa gavumenti obudde okukola ku nsonga zaabwe
Tweheyo agamba nti gavumenti bagiwadde ennaku 28 nga zino ziggwaako nga 2 omwezi gw’ekkumi n’ogumu.
Abasomesa era banjizza ensonag zaabwe endla ezibaluma omuli gavuumenti okusindika ekikereezi ensimbi z abonna basome…