Amaggye g'eggwanga gategeezezza nga bwegali obwerinde okwanganga abatujju.
Amaggye ge gwanga Gen Katumba agamba nti bakunyweeza ebyokwerinda ku nsalo zonna kyokka ng'asabye abantu okutandika olutalo luno nga bakolagana n'abakuuma dembe.
Katumba agamba nti baliko abakugu beebawerezza okuyambako mu kunonyereza yadde tebawerezza bajaasi
Mu ngeri yeemu Gen Katumba Wamala alabudde abantu abalina ekigendererwa ky'okutataaganya emirembe.
Katumba okwogera bino kiddiridde ebiyitingana nti…
Alipoota efulumiziddwa ekibiina ky’amawanga amagatte ku bulwadde bwa mukenenya eraga nti bukenderedde ddala.
Abantu abaafa omwaka oguwedde baali akakadde kamu mu emitwaalo 60 okwawukanako n’omwaka gwa 2005 abantu obukadde bubiri mu emitwaalo 30 mwebafiira
Mu ngeri yeemu n’omuwendo gw’abantu abafuna ekirwadde kino gukenderedde ddala
Bwegutuuse ku baana abato abafuna obulwadde buno ate kiyitiridde nga kumpi kitundu kiramba kitaasiddwa
Mu…
Lutalo lwenyini ku kizimbe ekyawambiddwa abatujju mu ggwanga lya Kenya,amasasi geesooza.
Wowulira bino ng’amaggye ga Kenya agamaze okwesogga ekizimbe omuli abatujju nga n’abakuuma ddembe beebulunguludde ekizimbe kyonna
Yyo gavumenti ekakasizza nti abakoze obulumbaganyi buno ssi bakazi wabula basajja abeesabise mu ngoye z’abakazi.
Abatujju bano era bakumye omuliro ku ludda lw’ekizimbe olumu bwebategedde nti amaggye gatandise okwesonga mu kifo…
Abantu babiri bafiiridde mu kabenje akagudde e Kabowa
Bano abava mu famile emu beebamu ku musanvu babadde batambulira mu mmotoka kika kya double cabin nebatomera ki loole.
Ate era mu ngeri yeemu, omuntu omu afiiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde e Sagazi milo nga bbiri okuva e Lugazi ku luguudo oluva e Kampala okudda e jjinja
Taxi ebadde…
Olukiiko wakati w’abasomesa ne minister akola ku byenjigiriza, lwabuuse tewali kituukiddwaako
Olukiiko luno lubadde lukubirizibwa Minista Jessica Alupo era nga abalwetabyeemu babadde balina okuvaayo n’ekyokuddamu eri akeediimo k’abasomesa akakulunguludde ssabiiti nnamba
Ssabawandiisi w’ekibiina ky’abasomesa, James Tweheyo agamba ntio embalirira endala eyisibwe okukola ku nsonga zaabwe
Yye minister Jessica Alupo alumiriza nti gavumenti terina ssente era ng’abasomesa basaanye okudda…
Gavumenti egamba nti waliwo munnayuganda akoseddwa mu bulumbaganyi obwakoleddwa e Kenya ku kizimbe kya WestGate shopping mall
Ekiwandiiko okuva eri minisita akola ku by'amawulire, Rose Namayanja akakasizza kino yadde nga tayogedde bisingawo ku mannya g'omuntu ono, yadde ebimukwatako
Tekitegerekese era ngeri ki omuntu ono gy'akoseddwaamu nga gavumenti egamba nti yakwongera okuwa amawulire.
BBo abayisiraamu wano mu Uganda bavumiridde…
Ab'oludda oluvuganya gavumenti baanirizza ekya gavumenti okujjawo omusolo ku mafuta g’ettaala.
Akakiiko ka palamenti akakola ku by'ensimbi olunaku lw’eggulo kayanjudde alipoota nga kalaga ng'omusolo ogw'enusu 200 ku mafuta gano bwegwagiddwaawo sso nga ogw'ebitundu 18% ku mazzi ga taapu gwo gwasigaddewo.
Minister w’ebyenfuna mu gavument ewabula , Geoffrey Ekanya agamba kino kibadde kyetaagisa naddala mu biseera bino nga…
Abasomesa bongedde okutabuka ku by’emisaala gyaabwe.
Kati bayise minista akola ku byenjigiriza Jessica Alupo okubaawo mu Lukiiko olw’awamu lwebategese ku bbalaza okuteesa ku nsonga zaabwe
Olunaku luno gavumenti lweyataddewo eri abasomesa okubeera nga bazze ku mirimu oba ssi kkyo boolekedde kugobwa.
Ssabawandiisi waabwe, James Tweheyo agamba nti bagaala minister ayongere okutegeera ebibaluma oba olyaawo lw’anabakiikirira obulungi.
Emmotoka eziriko namba puleeti z’ebweru 27 zeeziboyeddwa
Ab’ekitongole ekiwooza beebayodde emmotoka zino nga bagamba nti emmotoka yonna atali ya Yuganda terina kusukka nnaku 90 nga tennafuna namba za kuno
Ku mmotoka ezikwatiddwa, 15 zibadde mu ggwanga mu bumenyi bw’amateeka ate nga 12 zibadde ne namba puleeti za wano naye nga tezirina biwandiiko
Akulembeddemu ekikwekweto ekiyodde emmotoka zino, Julius…
Palamenti emaze n'egaana okwongerayo oluwumula lwa general David sejjusa nga ono amaze ebbanga ng'ali mu luwumula mu gwanga elya Bungereza.
Omukubiriza w'olukiiko olukulu olw'eggwanga Rebecca Alitwala Kadaga agamba nti akizudde nga Sejjusa tali ku mirimo mitongole nga bweyasaba ,kale nga amwagala mu palamenti obutasukka lunaku lwankya.
Kadaga agamba nti ssejjusa tali ku mirimo gy'amaggye nga bw'agamba,…