Eky’okuyingiza eggwanga lya south sudan mu mukago gwa East Africa kisimbiddwa ekkuuli.
Ababaka abamu mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bagamba nti aba sudan bayitirizza okutulugunya abasuubuzi okuva mu mawanga amalala nga betaaga kubonerezebwa
Omubaka we Bukoto mu bugwanjuba, Mathius Nsubuga n’owe Bugweri, Abu Kauntu bagamba nti eggwanga lino lirina kusooka kusuubiza nti ssi lyakutulugunya bantu.
Bino bizze ng’eggwanga lino…
Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga akubirizza abavubuka okwewala ebyobufuzi ebyawula mu mbeera z’abantu.
Katikiro bwabadde asisinkanye abakulembeze ba NRM okuva mu district za Buganda, abasabye okwewala okulwanagana wamu n’okwelangira kubanga bona bantu ba ssabasajja.
Mayiga agambye nti ebyobufuzi ebibi byebyavirako obwakabaka okuwerebwa mu mwaka gwa 1966.
Bano era abasabye okwetanira ebyenjigiriza kubanga egwanga kweritambulira.
Omuntu omu abikiddwa ettaka n’afa mu bitundu bye Kabalagala.
Ono atategerekese manya yoomu ku basajja ababadde basima ettaka okussaayo pipo z’amazzi
OC we Kabalagala, Bernard Mugerwa agamba nti omugenzi afudde kiziyiro oluvanyuma lw’okumala essaawa esoba mu emu ng’abikkiddwa ettaka lino.
Bbo abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti omusajja ono abadde ayingidde fuuti 10 mu ttaka ekyongedde okunafuya ebisenge.
Omulambo gw’omugenzi gutwaliddwa…
Olwaleero lwegiweze emyaka ena bukynaga kwekalakaasa okwabuutukira ebitundu bya Buganda kubeerawo.
Okwekalakaasa kuno kwava ku gavumenti okukugira omutanda okukyala mu ssaza lye erye Bugerere.
Abantu 27 beebafiira mu kwekalakaasa kuno.
Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bbo omulanga gwaabwe guli gumu nti alipoota eyakolebwa ku kwekalakaasa kuno efulumizibwe.
Omubaka akiikirira abantu be kibuga kye Masaka, Mathius Mpuuga agamba nti kikyaamu…
Gavumenti ya ssabasajja Kabaka netegefu Okwaniriza by’okuzimba ekisaawe ky’enyonyi mu Buganda
Katikkiro Charles Peter Mayiga agamba nti bagaala kusooka kumaliriza masiro batandike okukola ku nteekateeka ez’omuggundu ng’eno.
Amyuka akulira ekitongole ky’enyonyi, David MPango anyonyola ategeezezza ng'enteekateeka eno bw'ejja okusitula Uganda ne Buganda era nga yetaaga buwagizi
Bano okutuuka ku kino, nga bali mu nsisinkano, ab’ekitongole kyennyonyi mwebayise okuddukirira…
Ensonga z’abasomesa zisitudde buto mu lukiiko olukulu olw’eggwanga.
Ababaka bagaala akakiiko akalwanirira eddembe ly’abantu okukola ku ky’abasomesa abatiisibwatiisbwa buli lweboogera ku nosnga zaabwe
Kino kiddiridde minister akola ku nsonga z’ebyenjigiriza, Jessica Alupo okulagira abakulira ebyenjigiriza okufuba okulaba ntu abasomesa bakola.
Akulira kakiiko akalwanirira eddembe ly’abanti Meddie Kaggwa asuubizza okutunula mu nsonga eno.
Ababaka abagobwa mu kibiina kya NRM bafunye ku buweeerero.
Abalamuzi musanvu abatuula mu kooti y'okuntikko mu ggwanga nga bakulembeddwamu omulamuzi Bart Katureebe basazizamu ekya kkooti etaputa semateeka okugoba ababaka bano.
Kiddiridde kooti eno okulagira sipiika Rebecca Kadaga okugaana ababaka bano okulinnya mu palamenti okutuusa ng'omusango gwaabwe gumaze okuwulirwa
Wetwogererea nga bano baddembe okukiika mu parliament, okutuusa nga 18…
Ministry ekola ku byenjigiriza mu ggwanga alagidde abakulira eby'enjigiriza mu district zonna okukola kyonna ekisoboka okulaba nti abasomesa bagenda mu bibiina.
Ekiwandiiko ekifulumiziddwa minisita w’ebyenjigiriza, Jessica Alupo agamba nti abasomesa bonna balina okugenda okukola n’okubaawo okuyingiza abaana mu bibiina.
Alupo asabye abasomesa obutalekerera mirimu gyaabwe mu kaseera webasinga okwetaagibwa.
Olunaku lwajjo, abasomesa balangiridde ng’akeediimo kaabwe bwekatandise nga tebagenda…
Okuwandiisa abagoba ba pikipiki kugenze mu maaso n’olunaku lwaleero.
Ku kitebe kya KCCA ku cityhall, kkampuni eziwera zeeziwandiisizza pik.i
Omu ku bawandiisa, Tony Bagala agamba nti babadde bakawandiisaako abantu 100 okuva lwebwakedde era nga basnayufu nti bitabudde bulungi.
Ono agamba nti bannanyini kkampuni beebawandisizza piki kko n'aba bodaboda abatono ddala.
Yoomu ku bawandiisizza piki, Farook Sekandi agambye nti talabawo kimugaana…
Omuwala ow’emyaka 18 eyatta kitaawe eyali ayagala okumukwata asingisiddwa omusango
Omuwala ono Hafuwa Namata owe Masaka yayatiikirira nnyo bweyakuba kitaawe gweyali agamba nti amukaka omukwnao olutatadde nga kino akikola ne ku nyina kko ne baganda be abalala.
Omulamuzi agubadde mu mitambo, Margaret Ouma Oguli omuwala ono amusalidde ekibonerezo kya kwebaka mu kkomera okumala essaawa mukaaga nga zino…