Amawulire

Mu paakayaadi beekalakaasizza

Ali Mivule

August 30th, 2013

No comments

Poliisi eyitiddwa bukubirire okukkakkanya abasuubuzi ababadde beekalakaasa. Obuzibu buvudde ku kwongeza ssente zebawa buli mwezi okuva ku mutwalo gumu kitundu okudda ku mitwalo ebiri kitundu Abasuubuzi bano babadde batandise okwegugunga nga bagamba nti sente zino nyingi. Aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi mu […]

Makerere eggulawo nga 7 September

Ali Mivule

August 29th, 2013

No comments

Ettendekero ekkulu e Makerere liggulwaawo nga musanvu omwezi ogujja Kino kituukiddwa mu Lukiiko olwetabiddwaako abakulira akakiiko akatwala ettendekero olw’eggulo lwa leero. Kino nno kiddiridde abasomesa okutuuka ku kukkaanya okuddamu okukola oluvanyuma lwa ssabiiti namba nga beediimye. Abasomesa bano kino bakikoze oluvanyuma lw’ettendekero okubongera ku kasente […]

Amayembe galumbye abe Nalukolongo

Ali Mivule

August 28th, 2013

No comments

Embeera ekyali ya bunkenke  e kasenyi  wali e  Nalukolongo ng’amayumba 10 geegamaze okusanyizibwaawo,. Amayembe agagambibwa nti gaagulwa omuntu atannaba kutegerekeka negamusaba abantu 7 era nga yattako babiri bokka. Gano obwedda agoogerera waggulu era gategeezezza nga bwegetaaga obukadde buna okugenda oluvanyuma lw’okuwa eyagaleeta obugagga. Akulira abasawo […]

Abagenda e Makka temutya

Ali Mivule

August 28th, 2013

No comments

Okubalukawo kw’omusujja ogva ku nkwa ogumanyiddwa nga Congo Crimean fever ssikwakosa abayisiraamu abagenda e Makka Omwogezi w’ekitebe ekikulu eky’obuyisiraamu Alhajji Nsereko Mutumba agamba nti okwawukanako omwaka oguwedde Uganda bweyagaanibwa okutwala abalamazi olwa Ebola , ku luno babakkiriza okusindika abalamazi Ono agamba nti omusujja guno ssigwamaanyi […]

Ekyuuma kizzeemu okufa

Ali Mivule

August 28th, 2013

No comments

Ekyuuma ekikola sikaani mu ddwaliro e kkulu ee Mulago kizzeemu okufa. Guno gwakusatu ng’ekyuuma kino kifa mu mwezi etaano gyokka Ekyewunyisa nti ekyuuma kino kyagulwa omwaka oguwedde ku buwumbi 2 Abalwadde 40 beebakolebwaako buli lunaku ku kyuuma ku shs emitwalo 12 Sikaani mu malwaliro amalala […]

Temunenengana

Ali Mivule

August 27th, 2013

No comments

Gavumenti ya ssabasajja kabaka esabye ababaka mu kabondo ka Buganda okukoma okunenengana Kino kiddiridde akulira akabondo kano Godfrey Kiwanda n’omumyuka we Betty Nambooze okusika omuguwa ku ndagaano eyatuukibwaako Buganda ne Gavumenti ya wakati Omwogezi wa Buganda, owek. Denis Walusimbi agamba nti ababiri bano basaanye kwongera […]

Ogwa Irene Namubiru gwongezeddwaayo

Ali Mivule

August 27th, 2013

No comments

Omusango gw’okukusa enjaga oguvunaanibwa eyali manager wa Irene Namubiri Hakim Tumwesigye gwngezeddwaayo okutuusa nga lumu ogw’ekkumi. Kiddiridde oludda oluwaabi okutegeeza ng’okunonyereza mu musango guno bwekukyagenda mu maaso. Hakim nga musuubuzi e Japan kigambibwa okuba nga yeeyatikka Irene Namubiru enjaga nga tamanyi Oludda oluwaabi lugamba nti […]

KKampuni zikola bicupuli

Ali Mivule

August 27th, 2013

No comments

Ministry ekola ku  by’okuzimba ategeezezza nga kkmapuni ezisinga ezikoa enguudo bwezikola gadibe ngalye . Minisita akola ku by’enguudo n’emirimu Abraham Byandala ,agamba nti kino kyandiba nga kiva ku budde obuwanvu obutwalibwa omuntu okupatana okukola enguudo olwo kkampuni nezikozesa akakisa kano Byandala agamba nti enteekateeka eno […]

Tewali ssente

Ali Mivule

August 27th, 2013

No comments

Gavumenti ekyakukuta n’ensimbi ez’okujjanjaba abantu abalina omusujja oguva ku nkwa nga guno gumanyiddwa nga Congo Crimean Fever. Minister omubeezi akola ku byobulamu, Ellioda Tumwesigye agamba nti bawaddeyo okusaba kwaabwe eri bekikwatako kyokka nga tebannafuna nsimbi zino. Tumwesigye agamba nti basuubira okufuna ensimbi nga bayita mu […]

Temusiwuuka mpisa

Ali Mivule

August 26th, 2013

No comments

Ababaka okuva mu Buganda basabye abavubuka mu Buganda okubeera ab’empisa baanirize buli mugenyi ajja gyebali kubanga ennono bw’egamba Bino bizze ng’abavubuka kyebajje bangoole omukulembeze w’eggwanga bweyali mu lubiri ku mikolo gy’amatikkira Ng’ayogerako eri bannamauwlire ku palamenti, akulira akabondo k’ababaka okuva mu bBuganda Godftrey Kiwanda atgeezezza […]