Amawulire
Obubbi
Abatuuze ku kyaalo Nabuti mu district ye Mukono baguddemu ensisi bwebagudde ku mulambo gw’omukuumi Omusajja ono ategerekese nga Justus Nahayima abadde mukozi mu maka g’omwogezi wa ministry ekola ku nosnga z’omunda mu ggwanga Kigambibwa nti ono yattiddwa abazigu abaabadde bazze okubba mu maka gano nebamutta […]
Omwana abuze e Mulago
Ab’eddwaliro lye Mulago batandise okunonyereza ku mwana ow’omwezi ogumu eyabbiddwa Omwana ono ow’obulenzi yabuze olunaku lwajjo. Akulira poliisi ye Mulago, Hashim Kasinga agamba nti omwana ono yabuze ku ssaawa bbiri ez’oku makya olunaku lwajjo kyokka nga nyina yawaabye ku ssaawa kkumi ez’olweggulo Omwana ono wa […]
Prof Gilbert Bukenya abanja
Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Prof Gilbert Bukenya abanja. Ono agamba nti tasasulwa nga yadde ekikumi ku nsimbi ezirina okuweebwa abaali abamyuka b’omukulembeze w’eggwanga. Ono agamba nti yakawandiika ebbula ssatu ng’abanja naye nga teri kavaayo. Bino bizze ng’ababaka mu lukiiko olukulu olw’eggwanga bakemulugunya ku ky agavumenti […]
Ba kansala babakozesa
Ba kansala abagaala loodi meeya Erias Lukwago agyibweemu obwesige baliko ababakozesa Abategeezezza bino beebannamateeka ba Erias Lukwago bwebabadde bafundikira okwewozaako kwaabwe mu kakiiko akanonyereza ku kiwandiiko kya ba kansala 17 abagaala agyibweemu obwesige. Bano abakulembeddwaamu munnamateeka, Medard Ssegona bagambye nti akulira abakozi mu KCCA Jennifer […]
Amataba e Bwaise
Enkuba etandise okutonnya etambuza bangi akanaginagi E Bwaise abaayo batandise okusula nga besimbye olw’amazzi agabamazeeko obwekyusizo. Enkuba ya leero erese bangi bafiiriddwa byonna byebazze bakolerera Bino bizze ng’ekitongole ekikola ku ntebereza y’obudde kyakamala okulangirira ng’enkuba bw’etagenda kusalako okutuukira ddala mu gwe kkumi n’ogumu.
Omusajja eyatta Mukyala we
Omusajja eyayokya mukyala we n’asirikka okufuuka evvu asinziddwa ku mere e Luzira Egesa Yoweri nga mutuuze we Kakiri mu Kayunga yayiira mukyala we amafuta nga yebase n’amala n’mukoleeza Obuzibu bwonna bwava ku mukyala ono omugenzi Thereza okugaana okugenda okuziika neighbor eyali efudde nga bba bweyalia […]
Bannayuganda ababeera ebweru bagaala mubaka
Bannayuganda ababeera emitala w’amayanja bagaala kufuna mukiise mu palamenti Akulira ekibiina kya Oxfam International, Winnie Byanyima asabye gavumenti okutunuulira abantu bano kubanga beebatunda Uganda emitala w’amayanja Ono yabadde ayogerera mu Lukiiko olugatta bannauganda ababeera mu bukiikakkono bwa America Ono era yawadde bannayuganda bano amagezi okutwaala […]
KCCA etabukidde abatembeeyi
Kampala capital city authority eyongedde okutabukira abatembeeyi Omuvubuka eyawatibwa ng’atembeeya engoye enkadde zonna zisanyiziddwaawo Joel Kisekka ow’emyaka 20 yagyibwa mu bitundu bye Nakivubo ng’engoye zino gy’azitundira Alagiddwa era okusasula emiitwaalo 20 oba yeebake e Luzira omwezi. Mu ngeri yeemu, abatunzi ba orbit bana batanziddwa emitwaalo […]
Ba Nabakyala bakutuula
Ba nnabakyaala abawerera ddala 70 bakuba bataka wano okwetaba mu Lukiiko lwaabwe olusoose Olukiiko luno lutegekeddwa maama Sylivia Nagginda nga lugendereddwaamu kukubaganya birowoozo ku bizibu ebiruma abakyala, mukenenya n’ebikyalemesa abaana bawala okusoma Akulira ekibiina kya Maama Nabagereka Solome Nakaweesi agamba nti essira bagenda kulisimba ku […]
Loodimeeya agyibweemu obwesige
Bannamateeka abawolereza ba councilor 17 abagaala loodimeeya agyibweemu obwesige basabye akakiiko okukkiriza loodimeeya agyibweemu obwesige nga ba kansala bwebasaba. Nga bafundikira oludda lwaabwe olwaleero, bano abakulembeddwaamu Kiryoowa Kiwanuka agambye nti akakiiko kaleme kwonoona budde kakkirize ba kansala bagyeeu loodi meeya obwesige kubanga bimulemye Kiryoowa agambye […]