Ekitongole kya Kampala capital city authority kiyimiriza bunambiro okuzimba kwonna ku kisaawe kye Nakivubo.
Kcca egamba abali emabega w'omulimu ,baava dda kupulaani y'okuzimba ekisenge nga bwebakkiriziganya nga kati bali mu kuzimba midaala ekitali mu pulaani.
Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti bazze nga balabula kampuni eri emabega w'okuzimba kuno eya Ham enterprises okugendera ku…
Poliisi etandise okunonyereza ku kabenje akafiiriddemu abantu 4 mu kibuga kye Kabale .
Fuso eyabadde efumuuka obuweewo kigambibwa nti yalemeredde omugoba waayo neyevulungula enfunda n’oluvanyuma n'ekwata omuliro.
Omuduumizi wa poliisi mu bitundu bye Kabale Olivia Wabwire ,agamba fuso eno eyabadde esabaaza abasalamala nalinnye ku waya z'amasanyalaze n'ekwata omuliro
Akulira poliisi ye Kabale, Olivia Wawire agamba nti abantu abafudde…
Abasomesa abeekalakaasa gavumenti ebatuunulidde n'eriiso ejjojji.
Minisitule ey’ebyenjigiriza egamba nti etandise okwwebuuza ku muwi w'amagezi aowa gavumenti ku ky'abasomesa abagaanye okulinnya mu bibiina.
Minisita akola ku byenjigiriza, Jessica Alupo agamba nti bakuddamu okuyisa mu tteeka elikwata ku nneyisa y'abasomesa okulaba oba obutasomesa okumala ennaku eziwera tekitegeeza kwebuza ku mulimu.
Alupo agamba nti okusinziira ku mateeka agafuga abasomesa, omuntu…
Pulezidenti museveni ayanukudde abasomesa n’abategeeza nga bwewatali ssente.
Pulezidenti agambye nti abasomesa baddeyo okusomesa ng’ensonga zaabwe zakutunulwaamu omwaka ogujja
Bino pulezidenti abyogedde asisinkanye ababaka okuva mu kibiina kya NRM mu maka ge Entebbe.
Agambye nti batunuulidde bitongole biyinza kuvaamu nsimbi ng’amasanyalaze n’enguudo sso ssi ate birya ndye.
Abasomesa olunaku lwaleero lwebassizza mu nkola akeediimo kaabwe nga bangi baganye okulinnya…
Ekitongole kya KCCA kiwadde olukusa abaddukanya akatale ka USAFI okubeerawo ne paaka ya taxi.
Kino kigendereddwaamu kuyamba mu kukendeeza omugotteko.
Omwogezi we kitongole kya KCCA Peter Kawujju agamba nti bawadde aba USAFI ekiseera kya myezi 12 nga baddukanya paaka ya taxi nga yakukozesebwa emmotoka ezikozessa oluguudo lwa Entebbe road n'olwe Gaba.
Kawujju agamba nti paaka eno yakuyamba kinene…
Kampala capital city authority akanze nga bw’egenda okuyimiriza eby’okuddabiiriza ekisaawe kye Nakivubo.
Kino kiddiridde ebigambibwa nti abakiddabiriza bavudde dda ku pulaani
Ab’ekisaawe kino bakkirizibwa okuzimba ekikomera kyokka nga KCCa egamba nti bano bali mu kuzimba maduuka
Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti agambye nti baawandikidde ab’ekisaawe kino okuyimiriza eby’okuzimba kyokka nga tebannasalako
Wbula yye omu ku bakozi mu…
Omusajja omu agambibwa okubeera omubbi akubiddwa amasasi agamuttiddewo .
Ono abadde ne banne mukaaga e Ntinda.
Abamu ku bano baali bakozi mu kkampuni y’amasimu eya MTN nga babadde bamenya muterekebwa byuuma.
Omwogezi wa poliisi mu kampla n’emiriraano, Ibin Senkumbi agamba nti abazigu bano babadde n’emmundu era nga basoose kuddiza poliisi masasi naayo n’ebaddiza okukkakkana ng’esseeko omu
Gavumenti egaanye ebyokutiisibwatisibwa abasomesa era newera nga amasomero bwegajja okuggulawo k'abe lubaale oba katonda.
Minisita w’ebyenjigiriza Jessica Alupo agamba tewali agenda bateekako kazito kubakozesa nsobi era bakuggulawo amasomero gonna ku bbalaza.
Alupo wabula era yewunya lwaki ate abasomesa ababadde bateesa ne gavumenti babijjemu enta ku ssaawa esembayo.
Agamba akakiiko akateekebwawo okukola ku kwemulugunya kw'abasomesa bano kamalirizza okunonyereza kwaako…
Speaker wa parliament Rebeca alitwala Kadaaga ,avudde mu mbeera n'agaana ba minister bonna kko n'abakulira obukiiko bwa palamenti okuddamu okumala gafuluma eggwanga.
Kino kivudde ku babaka bano kulemerera kukola alipoota ku mbalirira y'omwaka guno .
Sipiika Kadaga okuva mu mbeera kiddiridde ennaku mwebalina okuleetera alipoota zino okugawako mu mwezi oguwedde , ssonga kuno kwebalina okwesigama nga baakaksa…
Kooti eyise bukubirire naggagga Godfrey Kirumira okuginyonyola lwaki azimba ekizimbe mu kibuga nga talina lukusa
Ekizimbe ekyogerwaako kili ku luguudo lwa Nasser Mu kampala
Omuwaabi wa gavumenti Kakie atugonza agambye nti, Kirumira ono akianyi bulungi nti okuzimba mu kibuga, omuntu amala kufuna lukusa nga kino akibuusizza amaaso.
Omulamuzi Juliet Ahatanga kati amulagidde okulabikako mu maaso ge nga 24…