Amawulire

Muggule wo aamasomero- Gavumenti eragidde abasomesa

Ali Mivule

September 24th, 2013

No comments

  Minister akola ku byenjigiriza Jessica Alupo alagidde amasomero gonna gaggulweewo yadde abasomesa bakyagenda maaso n’akeedimo kaabwe. Alupo agamba nti newankubadde abasomesa bano basaba okwongezebwa omusaala , naye ministitule yamaliriza dda okukola embalirira ng’essira erissa ku byanguudo na buzimbi. Minister okwogera bino abadde sisisnkanyeemu abagenda […]

Amaggye gesunze abatujju

Ali Mivule

September 24th, 2013

No comments

Amaggye g’eggwanga gategeezezza nga bwegali obwerinde okwanganga abatujju. Amaggye ge gwanga Gen Katumba agamba nti bakunyweeza ebyokwerinda ku nsalo zonna kyokka ng’asabye abantu okutandika olutalo luno nga bakolagana n’abakuuma dembe. Katumba agamba nti baliko abakugu beebawerezza okuyambako mu kunonyereza yadde tebawerezza bajaasi Mu ngeri yeemu Gen […]

Obulwadde bwa mukenenya bukendedde

Ali Mivule

September 24th, 2013

No comments

Alipoota efulumiziddwa ekibiina ky’amawanga amagatte ku bulwadde bwa mukenenya eraga nti bukenderedde ddala. Abantu abaafa omwaka oguwedde baali akakadde kamu mu emitwaalo 60 okwawukanako n’omwaka gwa 2005 abantu obukadde bubiri mu emitwaalo 30 mwebafiira Mu ngeri yeemu n’omuwendo gw’abantu abafuna ekirwadde kino gukenderedde ddala Bwegutuuse […]

Nsitaano e Kenya

Ali Mivule

September 23rd, 2013

No comments

Lutalo lwenyini ku kizimbe ekyawambiddwa abatujju mu ggwanga lya Kenya,amasasi geesooza. Wowulira bino ng’amaggye ga Kenya agamaze okwesogga ekizimbe omuli abatujju nga n’abakuuma ddembe beebulunguludde ekizimbe kyonna Yyo gavumenti ekakasizza nti abakoze obulumbaganyi buno ssi bakazi wabula basajja abeesabise mu ngoye z’abakazi. Abatujju bano era […]

Obubenje busse basatu

Ali Mivule

September 23rd, 2013

No comments

Abantu babiri bafiiridde mu kabenje akagudde e Kabowa Bano abava mu famile emu beebamu ku musanvu babadde batambulira mu mmotoka kika kya double cabin nebatomera ki loole. Ate era mu ngeri yeemu, omuntu omu afiiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde e Sagazi milo nga bbiri okuva […]

Basibaganye enkalu

Ali Mivule

September 23rd, 2013

No comments

Olukiiko wakati w’abasomesa ne minister akola ku byenjigiriza, lwabuuse tewali kituukiddwaako Olukiiko luno lubadde lukubirizibwa Minista Jessica Alupo era nga abalwetabyeemu babadde balina okuvaayo n’ekyokuddamu eri akeediimo k’abasomesa akakulunguludde ssabiiti nnamba Ssabawandiisi w’ekibiina ky’abasomesa, James Tweheyo agamba ntio embalirira endala eyisibwe okukola ku nsonga zaabwe […]

Abasoba mu 60 bafu, Munnayuganda yoomu ku bakoseddwa

Ali Mivule

September 23rd, 2013

No comments

Gavumenti egamba nti waliwo munnayuganda akoseddwa mu bulumbaganyi obwakoleddwa e Kenya ku kizimbe kya WestGate shopping mall Ekiwandiiko okuva eri minisita akola ku by’amawulire, Rose Namayanja akakasizza kino yadde nga tayogedde bisingawo ku mannya g’omuntu ono, yadde ebimukwatako Tekitegerekese era ngeri ki omuntu ono gy’akoseddwaamu […]

Embalirira eyisiddwa, omusolo ku mafuta gugyiddwaawo

Ali Mivule

September 20th, 2013

No comments

Ab’oludda oluvuganya gavumenti baanirizza ekya gavumenti okujjawo omusolo ku mafuta g’ettaala. Akakiiko ka palamenti akakola ku by’ensimbi olunaku lw’eggulo kayanjudde alipoota  nga kalaga ng’omusolo ogw’enusu 200 ku mafuta gano bwegwagiddwaawo sso nga ogw’ebitundu 18% ku mazzi ga taapu gwo gwasigaddewo. Minister w’ebyenfuna mu gavument ewabula […]

Abasomesa bongedde okutabuka, Tetujja kusomesa

Ali Mivule

September 20th, 2013

No comments

  Abasomesa bongedde okutabuka ku by’emisaala gyaabwe. Kati bayise minista akola ku byenjigiriza Jessica Alupo okubaawo mu Lukiiko olw’awamu lwebategese ku bbalaza okuteesa ku nsonga zaabwe Olunaku luno gavumenti lweyataddewo eri abasomesa okubeera nga bazze ku mirimu oba ssi kkyo boolekedde kugobwa. Ssabawandiisi waabwe, James […]

Emotoka ziboyeddwa

Ali Mivule

September 18th, 2013

No comments

Emmotoka eziriko namba puleeti z’ebweru 27 zeeziboyeddwa Ab’ekitongole ekiwooza beebayodde emmotoka zino nga bagamba nti emmotoka yonna atali ya Yuganda terina kusukka nnaku 90 nga tennafuna namba za kuno Ku mmotoka ezikwatiddwa, 15 zibadde mu ggwanga mu bumenyi bw’amateeka ate nga 12 zibadde ne namba […]