Amawulire
Beekalakaasizza lwa katale
Abavubuka babiri bakwatiddwa mu kwelakaasa okubadde e Wandegeya. Bano beebamu ku kibinja ky’abavubuka ababadde beekalakaasa nga bavumirira eky’okulwaawo okuweebwa emidaala mu katale Bano era bagamba nti engeri ebintu gyebitambulamu kyeyolese nti abasuubuzi bangi bandiviiramu awo ssinga teberwanako Wabula ssentebe w’akatale Mutesaasira Mawejje agamba nti tewali […]
Ekitongole ekikola ku by’ettaka ekya Buganda land board olunaku olwaleero kiwaddeyo ekizimbe kya Muganzirwazza eri kkampuni ya Nakumat, omupangisa asinga bunene mu kizimbe kino. Omukolo guno gukoledwa minister w’ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde asabye kkampuni eno okwongera okutunda eby’amaguzi ebikolebwa mu Uganda. Ye minister wa Buganda ow’enteekateeka […]
Gaumenti eyagala mikutu gya bwannanyini
Gavumenti ezze na nkuba mpya ng’eyagala kukozesa mikutu gy’amawulire egy’obwannayini okwogerako eri abantu Minister akola ku by’amawulire, Rose Namayanja agamba nti bagala okufuna essaawa nnya ku buli mukutu gwa TV oba Radio buli mwezi okutegeeza abantu ky’eba bakolako Kino bagala kukikola ku bwereere. Namayanja gaamba […]
Ebivvulu bissiddwaako amateeka
Abategeka ebivvulu bassiddwaako amateeka amakakali Teri kivvulu kakusukka saawa musanvu ogw’ekiro Abategeka ebivvulu bonna bakutegeezanga poliisi nga bukyaali basobole okuweebwa obukuumi Bino bibategeezezeddwa mu nsisikano wakati w’aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi kko n’abayimbi kko n’abategesi b’ebivvulu BBo abayimbi kino bakyanirizza kyokka nebasaba […]
Agambibwa okulagajjalira omulwadde avunaaniddwa
Omusawo agambibwa okuvaako okufa kw’omukyala w’olubuto avunaaniddwa omusango gwa kutta Muntu mu butanwa. Christopher Bingi nga musawo mu ddwaliro lya health center 4 e Mukono abadde mu maaso g’omulamuzi Joy Bahinguzi Ono ne banne abakyawenjebwa babavunaana kulagajjalira omukyala Florence Nakamya ekyamuviiriddeko okufa. Oludda oluwaabi lugamba […]
Poliisi ku Luguudo lwa Northern By-Pass
Poliisi egamba nti erina essuubi nti obumenyi bw’amateeka bwakukendeera ku luguudo lwa Northern By-pass oluvanyuma lw’okussaawo ofiisi zaabwe Aduumira mu kampala n’emiriranao Andrew Felix Kaweesi olunaku lwajjo yatongozezza obuyumba bwa poliisi 10 ku luguudo luno okukola ku bamenya amateeka Muno mulimu ababbi n’abavugisa ekimama ku […]
Abaana bafiiridde mu muliro
Abaana babiri bafiiridde mu muliro e Kitakuta Gombe mu district ye wakiso Abaana bano ababadde abalongo naye ssibamigogo gyegimu babadde bafumba chai mu ffumbiro engoye zaabwe nezikwata omuliro Abagenzi kuliko Thomas Wasswa ow’emyaka 5 ne Geoffrey Waswa ow’emyaka 9 Taata w’abagenzi, Ssalongo Joseph Lutwama agamba […]
Okulwanyisa abatujju kugenze mu masomero
Mu kawefube w’okulwanyisa obutujju, amasomero g’omu kampala gonna galagiddwa okutekawo obuuma obukebera ku buli mulyango oguyingira nga n’abazadde bakukeberebwa nga tebanayingira masomero gano. Mu buufu bwebumu abasomesa era basabiddwa okubulira abayizi beebasomesa okubeera obulindaala n’okuteekawo ebibiina ebijja okutendekebwa mu kulwanyisa obutujju. Omuduumizi wa poliisi mu […]
Poliisi ekyalemereddwa
Negyebuli kati poliisi tennafuna alipoota ku kiyinza kuba nga kyeekyavuddeko okufa kw’omukyala we mukono ayafiiridde mu sanya Florence Nakamya yafiiridde mu mikono gya Dr Christopher Bingi eyamujje mu ddwaliro lya gavumenti n’amuzza mu lirye Omubaka akiikirira abantu be Mukono Betty Nambooze agamba nti babasuubizza nga […]
Omujaasi eyatta atoba
Omujaasi eyatta omuvubuka gweyakwata ne muwala we agguddwaako emisango Sergeant Samuel Mubanywera aguddwaako misango gya ttemu mu maaso g’omulamuzi Elizabeth Alvidza kyokka ng’agyegaanye Omusajja nga yali mutuuze we lugala kigambibwa okuba nti mu mwaka 2011, yasanga omuvubuka eyali omuyizi we Makerere ng’ayimiridde nemuwala we n’amukuba […]