Amawulire
Abatujju bandirumba Uganda-Poliisi
Poliisi ezzeemu okulabula bannayuganda ku batujju Senkaggale wa poliisi, Gen Kale Kaihura agamba nti afunye amawulire nti abatujju bagaala kulumba Garden city oba Nakumatt mu kampala. Kaihura agambye nti bakyagenda mu maaso n’okwetegereza amawulire gano kyokka era n’asaba abantu okubeera abegendereza ennyo N’ab’ekibiina ky’amawanga amagatte […]
Akabenje kasse bana
Abantu bana beebafiiridde mu kabenje akagudde e Kakira ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganga. Akabenje kano kabaddewo enkya ya leero nga kavudde taxi no. UAT 875K etomeraganye ne ki Fuso ekibadde kitisse seminti Aduumira poliisi ekola ku ntambula y’ebidduka, Edison Turamyomwe akabenje akatadde […]
Okutereeza ekibuga- Mukyuuse mu tteeka
Enkayaana eziri mu kibuga tezijja kuggwaawo okutuusa ng’etteeka likyuuseemu Omubaka akiikirira abantu be Makindye mu buvanjuba, John ssimbwa agamba nti gavumenti nebw’enaleeta loodi meeya , ajja kukubagana ne Executive director kubanga etteeka likyaamu Ono bino abyogedde oluvanyuma lwa loodimeeya okutegeeza nga bweyagudde mu lukw eng’agenda […]
KCCA etabukidde bamalaaya n’abatembeeyi
Abawala abasangiddwa nga beerenze ku makubo bamalidde mu kkomera. Prossy Sentongo ne Edith Nanteza bavunaaniddwa mu maaso g’omulamuzi Sarah Langa Ba maama bano ababiri tebegaanye gwakulenga kaboozi Basaliddwa ekibonerezo kya wiiki 2 nga bali mu kkomera Bano nno kigambibwa nti nga 6th omwezi guno basangibwa […]
KCCA yakuddamu okumenya ebizimbe
Aba Kampala capital city authority bagenda kuddamu okumenya ebizimbe ebitatuukagana na mutindo Muno mwemuli ebizimbibwa nga tekuli makubo ga baziinya mooto ssinga omuliro gukwata, ebifo awasimba emmotoka nga n’ebirala eby’okuusa okuva ku pulaani eziba ziyisiddwa Omwogezi wa KCCA, Peter Kawuju agamba nti ebizimbe nga bino […]
Ettaka lye Kasokoso lya Gavumenti
Ettaka lye Kasokoso lya gavumenti Minista akola ku by’ettaka Daudi Migereko agamba nti ettaka lino erisangibwa ng’okyamidde e Kireka ku luguudo lwe kinnawattaka lya kkampuni ya National Housing Corporation. Ettaka lino n’abatuuze abasoba mu lukumi abaliriko bagamba nti lyaabwe era baweze dda okufafagana n’omuntu anetantala […]
Mugende babakebere omusaayi-Museveni
Pulezidenti Museveni akubirizza bannayuganda okwekebeza okumanya webayimiridde mu nsonga za mukenenya Kino pulezidenti agamba nti kyakuyamba okutegeera abalwadde era batandisibwe ku ddagala nga bukyaali. Ono agamba nti endwadde ya mukenenya ekyaalian akakwate ku ku nneyisa y’omuntu ng’engeri endala omuyita obulwadde buno ng’empiso, omusaayi kko n’obuva […]
Omuliro gukutte ekizimbe kya Cham Towers
Omuliro gukutte ekizimbe kya Cham Towers ku luguudo lwa Kampala. Omuliro guno gutandikidde ku mwlairo gw’omwenda okuli amaduuka agatunda emmere ne banka Akulira abaziinya mooto, Joseph Mugisa agamba nti tebannategeera kivuddeko muliro kyokka nga gwamaanyi. Ono agamba nti tebannamanya bungi bw abingi biyidde naye nga […]
Abayekeera bawaddeyo eri Uganda
Olwaleero omu ku baduumizi b’abayeekera ba M23 Sultan Makenge yeewaddeyo eri eggye l’yeggwanga erya UPDF, nga azze nebanne baabadde aduumira . Ofwono Opondo nga ono y’ayogerera gavumenti ya Uganda , atugambye nti Makenge ayitidde mu kuumiro ly’ebisolo erya Mgahinga National Park, era n’ayanirizibwa amaggye ga […]
Baagala kunzijako ntebe- Lukwago
Loodi meeya Erias Lukwago agamba nti wakusigala ng’alwanira entebe y’obwa loodimeeya gy’agamba nti olukwe olugitwaala lwawedde Lukwago agamba nti akitegeddeko nti oluvanyuma lw’okugaana okwetondera pulezident museveni , agenda kujjibwa mu ofiisi omwezi guno nga gavumenti ekozesa akakiiko akassibwaawo okunonyereza ku nneyisa ye. Ono wabula agamba […]