Amawulire
Poliisi erabuddwa ku lyaanyi
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu bavumiridde engeri poliisi gyeyakuttemu abantu ababadde bawakanya olukiiko olwagobye loodi meeya Erias Lukwago. Okusinzira ku mulabirizi eyawumula era mulwanirizi w’eddembe ly’obuntu kayingo Zac Niringiye obukambwe obwakozeseddwa bwabadde tebwetagisa. Abantu ab’enjawulo nga muno mwemwabadde ababaka ba palamenti ne banamateeka baasikiddwa amataayi nga bagezako […]
Loodimeeya waddembe okujulira
Loodimeeya w’ekibuga Erias Lukwago akyalina omukisa okujulira ebisaliddwaawo ba kansala okumugoba mu ntebe Ayogerera akabondo k’ababaka ba NRM mu palamenti Everlyne Anite agamba nti ekisaliddwaawo ba kansala kiri mu mateeka kyokka ng’amateeka geegamu gawa Lukwago akakisa akwewozaako. Anite agambye nti minista wa kampala ne bakansala […]
Besigye akwatiddwa
Eyaliakulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye akwatiddwa. Ono akwatiddwa bw’abadde ali ku poliisi ye Kasangati gy’agenze okukola sitatimenti ku by’obumutulugunya ssabiiti ewedde. Akulira poliisi e Kasangati, y’alagidde abadde ajja ku Besigye statimenti okukikomya kubanga talina buyinza bukikola Ono olumaze poliisi emukasuse mu kamotoka kaayo […]
Abasuubuzi ewa Kisekka beekalakaasa
Abasuubuzi mu katale ka Kisekka bazzeemu okwekaalakasa nga bawakanya eby’okugoba loodimeeya. Bano bagamba nti tebagenda kukkiriza muntu yenna mulala kubafuga kubanga balonda Erias Lukwago. Poliisi evuddeyo mangu n’ekuba omukka ogubalagala era mu kadde kano akatale kagaddwa Bbo abantu basatu balumiziddwa mu kulwanagana wakati wa poliisi […]
Loodimeeya Erias Lukwago agobeddwa
Erias Lukwago agobeddwa ku bwa loodi meeya. Mu lukiiko lwa bakansala olutudde ku kitebe kya KCCA , ba kansala 29 basazeewo Lukwago agobwe ku bwaloodi meeya. Mu lukiiko olukubiriziddwa minister wa kampala Frank Tumwebaze n’akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi, bakansala bano bategezezza nga ddala Lukwago […]
Pulezidenti Museveni akuutidde abavubuka
Omukulembeze w’egwanga Yoweri Museveni asabye abaana b’amasomero okwewala ebikolwa eby’obukaba nga bakyali bato. Museveni agamba nti ebikolwa bino biviirideko abaana okufuna embuto nga bakyali bato wamu n’okukwatibwa siriimu ekibavirako okuva mu masomero. Museveni agambye nti abaana balina okweyisa obulungi, olwo basobole okutangaza ebiseera byabwe […]
Loodimeeya Lukwago azize olukiiko lwa Bbalaza
Loodimeeya w’ekibuga Ssalongo Erias Lukwago ategeezezza nga bw’atagenda kukkiriza kwetaba mu lukiiko olwayitiddwa ku lunaku lwa bbalaza Ng’ayogerera ku kitanda mu ddwaliro lya Nsambya gen Clinic, Lukwgao agambye nti olukiiko lwayitiddwa kupapiriza kulemesa binaava mu kooti ekintu ekikyaamu. Lukwago abadde alina okulabikako mu lukiiko luno […]
Minisita wa kampala ayise olukiiko ku Lukwago
Olukiiko olugenda okukubaganya ebirowoozo ku alipoota ayakolebwa ng’esingisa loodimeeya emisango gy’okulemererwa okukola emirimu gye lwa mande Minista wa kampala, Frank Tumwebaze y’ayise olukiiko luno . Tumwebaze atutegeezezza nti mu lukiiko luno, agenda kwanja abiri mu alipoota kansala babeere nga babikubaganyaako ebirowoozo. Tumwebaze agamba nti mu […]
Obubenje bwa piki
Abasawo abalongoosa abantu mu ddwaliro ekkulu e Mulago balaze okutya olw’abantu abakubwa obutayimbwa buli lukya okweyongera Akulira abasawo bano, Dr. Michael Muhumuza agamba nti bafuna abantu abali wakati w’abataano n’ekkumi buli lunaku nga bakubiddwa obutayimbwa Dr.Muhumuza agamba nti abasinga baba bakoseddwa nnyo ku mitwe ekikosa […]
Babasalidde ku bibonerezo
Richard Arinaitwe nga ono abadde ku gwa kufa awonye akalabba oluvanyuma lwa kkooti okumukendereza ku kibonerezo nga kati wakusibwa mayisa. Ono nga yali muyizi wa yunivasite ye Makererere yakkakkana ku bantu 3 n’abatta ate bweyatwalibwa mu kooti n’agwa omulamuzi mu malaka. Omulamuzi wa […]