Amawulire
Bannaddiini bakulembere olutalo ku nguzi
Abakulembeze b’amadiini basoomozeddwa okukulemberamu olutabaalo lw’okulwanyisa enguzi,mu Uganda yonna . Kati Faaza Gaetano Batanyenda nga ono ‘yakulira akakiiko akataba enzikiriza ez’enjawulo mu bitundu bye kigezi,atugambye nti mu kaseera kano waliwo abakulu b’amadiini abatandise okupondoka nga babikkirira. Ono agamba nti singa abantu nga bano batandika okutya okwogera […]
Ababaka baanirizza eby’okuteesa
Abamu ku babaka ba parliament basanyukidde ekiteeso ky’omukulembeze w’eggwanga okuteesa ne bannabyabufuzi abavuganya gavumenti mu kibuga Kampala. President Museveni, bweyabadde ayogerako n’abatuuze mu district ye Lwengo, yagambye nti mwegetefu okuteesa ne Lukwago ne banne okuleetawo emirembe mu kibuga. Ababaka okuli Julius Junjura,Patrick Nsanja ne David […]
Mudde ku Mirimu- Gavumenti eragidde aba KCCA
Minister wa Kampala Frank Tumwebaze alagidde ekitongole kya Kcca okuddamu okukakkalabya emirimu gyaakyo. Kino kiddiridde akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi okuyimiriza emirimu gy’ekitongole, ng’agamba nti abakozi ba KCCA babadde batulugunyizibwa abawagizi ba Lukwago. Frank Tumwebaze agambye nti bamaze okufuna obukuumi obumala eri abakozi ba KCCA. […]
KCCA eggaddewo
Kampala capital city authority egaddewo. Abakozi bonna ssibakuddamu kukola mirimu okuva olunaku lw’enkya Kino akyogedde y’akulira abakozi mu Kampala Jennifer Musisi. Ono agamba nti abakozi baabwe batiisibwatiisibwa nga bakola at enga tebasobola kubawa bukuumi. Ng’ayogerako eri bannamawulire akawungeezi ka leero, Musisi agambye nti bakusigala nga […]
Abapoliisi bagobeddwa lwakutulugunya bantu
Abapoliisi abaatulugunya eyali omukozi wa Mukwano gubasse mu vvi Akakiiko ka poliisi akakwasisa empisa nga kakulemberwa Joseph Ongom kategeezezza nti ebikolwa bya ba poliisi bano bimenya mateeka era bibavumaganya. Aboogerwaako kuliko ASP Asbos Okumu, Corporal Odongo, Patrick Muwonge ne Lwanga Arafati. Bano batulugunya Kasimu Suuna […]
Gavumenti yakujulira
Gavumenti etegeezezza nga bw’egenda okujulira ebivudde mu kooti nga bikakasa Erias Lukwago nga loodimeeya. Kooti enkulu olunaku lwaleero ekirizza okuyimiriza eby’okussa mu nkola ebiri mu alipoota eyagoba Lukwago okutuusa ng’okwemulugunya kwe mu bulambalamba. WAbula ekiwandiiko ekivudde ku kitebe kya gavumenti ekya mauwlire ekya Media center […]
Lukwago aluyiseeko- Olutalo lutandika butandisi
Loodimeeya wa kampala Erias Lukwago aweze nti olutalo olw’okulwanirira entebe ye ey’obwa loodi Meeya lutandika butandisi. Kino kiddiridde kooti enkulu okuyisa ekiragiro ekiyimiriza okussa mu nkola ebyasalibwaawo akakiiko akaali kanonyereza ku loodimeeya. Omulamuzi Yasin Nyanzi era alagidde gavumenti esasule Lukwago ssente ze zonna z’asasanyizza mu […]
Kawefube w’okulonda meeya omuggya atandise
Akakiiko akakola ku by’okulonda katandise okukola ku by’okulonda kwa loodimeeya Kiddiridde akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi okubawandiikira ng’abetegeeza ng’ekifo kino bwekiri ekikalu Omwogezi w’akakiiko akalondesa, Jotham Taremwa agamba nti etteeka libawa emyezi mukaaga okubeera nga bategese okulonda. Bbo ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bagaala […]
Katikkiro alabudde gavumenti ku kuvvoola amateeka
Kamala byonna wa Buganda oweekitiibwa Charles Peter Mayiga avuddemu omwaasi ku nsonga za kampala. Katikkiro Mayiga agamba nti kikyaamu okuyisa olugaayu mu nsonga z’amateeka Katikkiro agamba nti bino byonna biyinza okuvaako obunkenke mu kibuga awatali nsonga eri awo. Bino Katikkiro abyogedde bw’abadde mu lusiisira lw’okusonderako […]
Bano babbira abayizi ebigezo
Poliisi e Luweero ekutte abakulira amasomero 2 lwakubbira bayizi bigezo bya kibiina ky’omusanvu. Abakwatidwa kuliko Hadijah Namatovu Owa Ntumwa primary school, Ne Siraje Ssegujja owa Nsaasi UMEA primary school. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Lameck Kigozi atugambye nti bakizudde nti omukyala Namatovu yafuna abayizi okuva […]