Ettendekero ekkulu erye makerere ligaddwa.
Sentebe w’akakiiko akafuga ettendekero lino Charles Wana Etyem yalangiridde kino oluvanyuma lw’akafubo abakulu kebabaddemu olwaleero.
Bano babadde basisinkanyemu okutema empenda ku kyabasomesa be ttendekero lino okwagala okwongezebwa omusaala 100%.
Kino wekijidde nga abayizi bateekateeka kweyanjula ku ttendekero lino mu lusoma olupya nga 17 omwezi guno, nga lwe lw’omukaaga luno.
Omupoliisi abadde ali ku milimu gye akubiddwa amasasi agamuttiddewo
Gaddi Sulukumana ng’abadde akolera ku poliisi ye Seeta omusajja atategerekese amulumbye n’amusikambulako emmundu n’amukuba amasasi
Omusajja ono bw’amaze n’adduka n’aleka omupoliisi ng’ali mu kitaba ky’omusaayi ataawa kyokka ng’abantu tebamugobeddeewo nga batya okumulumba
Akulira poliisi enonyereza ku buzzi bw’emisnago, Henry Mugumya akakasizza ebibaddewo kyokka talina ky’agasseeko
Amaggye g’eggwanga gatandise okwebuuza ku kifo omwali akulira eby’obukesse Gen David Sejjusa
Ab’amaggye bano balagidde ekitongole kyaabwe ekikola ku by’amaggye okukolagana ne ssabawolereza wa gavumenti okuwabula ku kiyinz aokukolebwa
Omuduumizi w’amaggye g’eggwanga Gen Katumba Wamala bino y’abyogedde bw’abadde asisinkanye ababaka abatuula ku kakiiko akakola ku by’okwerinda
Uganda eri mu bulabe bw’okuddamu okulumbibwa ekirwadde kya polio
Ab’ekibiina ky’ensi tonna bagamba nti abantu abasoba mu bukadde 2 beebali mu bulabe bw’okufuna ekirwadde kino mu Uganda
Mu kadde kano abaana abalina poliiyo mu Somalia bali 100 mu Kenya baliyo 10 era nga ne Uganda teyeyinula
Omukungu mu kibiina kino Dr Samuel Okirio agamba nti abantu bayitiridde kutambula…
Police e Mbarara ekutte omusajja agambibwa okutta mukyalawe nga amulumiriza okubera omwenzi.
Namukadde George Rwomuzana 70 nga mutuze w’okukyalo Rubindi mu Kashari ,avudde mu mbeera natirimbula mukyalawe ,nga agamba nti buli lwabadde ava awaka , omukyala ono nga agenda mu bwenzi.
Omukyala gw'asse ye Mbabazi nga wa myaka 28 gyokka.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Mbarara Pauline…
Omusawo akola ku byokuzaalisa awumuziddwa emyaka 2 nga ono alangibwa lwakweyisa mu ngeri etasaana.
Dr Asinja Kapur y'awumuzidwa nga avunaanibwa gwakukyusa biwandiiko by’omwana omulenzi eyali yakazaalibwa ,olwo bananyini mwana n'abawamu omulambo gw'omwana omuwala.
Akakiiko akagatta abasawo kakasiza nga Dr. Asinja bweyakyusakyusa ebiwandiko ,nga bino byebyali biraga nga abafumbo ababiri bwebali bazadde omwana omulenzi wabula yye n'abawa mu…
Abasomesa mu ttendekero e Makerere bakyasibidde webaakoma ku butalinnya mu kibiina
Bano wansi w’ekibiina kya MUASA bagamba nti okutuusa nga basasuddwa teri kusomesa
Akulira abasomesa bano, Mohammed Kiggundu alumbye akakiiko akafuzi ak’ettendekero ng’agamba nti tekalina kyekakoze.
Ono asabye abaddukanya ettendekero okukola ku nsonga yaabwe mu bwangu ng’olusoma olujja telunnaggulawo.
Abasomesa bano olunaku lw’enkya lwebasisinkana abakulu mu ministry y’ebyenjigiriza
Meeya w'amasekkati ga Kampala, Godfrey Nyakaana agamba nti obuzibu bwonna buvudde ku Jennifer Musisi.
Agamba nti Musisi yajja n'abantu abaali bakola mu kitongole ekiwooza nga tebalina kyebamanyi ku ngeri yakuddukanyaamu kibuga.
Amulumbye era ku kujjako aba divizoni obuyinz abwonna n'abwezza nga buli kimu akikolera waggulu w'amateeka.
Bino bili mu kakiiko akanonyereza ku kiwandiiko kya ba kansala abagaala Loodimeeya…
Ettaka lizzeemu okubumbulukuka mu district ye Buduuda
Kino kivudde ku nkuba eyatonnye akawungeezi kajjo ng'abantu 193 beebakoseddwa mu gombolola ye Bumayoka
Ssentebe wa district ye Buduuda, John Baptist Nambeshe agamba nti abakoseddwa batwaliddwa ku kitebe kye Gombolola okugaba weema gyekugenda mu maaso
Nambeshe wabula agamba nti balina weema 100 zokka nga zino zeezasigalawo mu mwaka 2010 ekizibu kino…
Ettaka lizzeemu okubumbulukuka e Buduuda
Emiruka ebiri gibikkiddwa nga kuno kwekuli ogwe Namirumba ne Matua nga byonna bisangibwa mu gombolola ye Bushiyi mu district ye Buduuda
Abantu abali mu 8,000 bebakoseddwa kyokka nga ku luno katonda ayambye tewali afudde.
Ettaka lino era liyiise mu mugga manafwa nagwo oguzibikidde mu kadde kano.
Minister akola ku bigwabitalaze n'ebibamba, Musa Ecweru agamba…