Amawulire

Omuzungu yetidde ku Sheraton

Ali Mivule

August 6th, 2013

No comments

Poliisi etandise okunonyereza ku muzungu enzaalwa ye Spain agambibwa okuba nga yesse Florensa Detran yabuuse okuva ku mwaliro gwe 12 ogwa wooteri ya Sheraton n’afiirawo. Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Ibin Senkumi agamba nti bakwataganye n’ekitebe kya Spain kuno okufuna ebisingawo n’okumanya kiki ekyaviiriddeko […]

Omu China akukusa abaana abuze-Poliisi emuwenja

Ali Mivule

August 5th, 2013

No comments

Poliisi ku muyiggo gw’omusajja enzaalwa ya China lwakukusa baana Yang Zhengun n’omulala ategerekese nga Faith Orlando baggulwaako emisango gy’okukusa abaana kyokka nga kati emirundi 2 nga tebalabikako. Ababiri bano baakukusa abaana babiri nga kuno kuliko omwana ow’emyaka 9 ne 13 okuva e Gulu okubatuusa mu […]

Abawuliriza ba Dembe FM bakiise embuga

Ali Mivule

August 5th, 2013

No comments

Abawuliriza ba Dembe FM obawaddeyo emitwaalo 20 eri omulimu gw’okuzzaawo amasiro ga ba ssekabaka . Mu ngeri yeemu era baguze ne certificate eziweza emitwalo kkumi. Bano basisinkanye minister w’ebyemizannyo Henry Ssekabembe abaddewo ku lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga. Ng’ayogerako gyebali, Owek Sekabembe abasabye okwettanira emilimu […]

Amasimu gagyiddwa ku mpewo

Ali Mivule

August 5th, 2013

No comments

Amasimu g’abantu abatannawandiisa masimu gaabwe gasalidwaako. Omwogezi w’akakiiko akakola ku byempuliziganya, Fred Otunnu agamba nti bakkiriza kkampuni z’amasimu okuggyako amasimu gano okuzuukusa ababadde beebase.   Otunnu agamba nti nsalessale eyaweebwa abantu okuwandiisa amasimu gaabwe eggwaako nga 31st omwezi guno era nga abanaaba tebannaba kwewandiisa bakugyibwa […]

Omuliro gukutte essomero

Ali Mivule

August 5th, 2013

No comments

Omuliro gusanyizawo bya bukadde oluvanyuma lw’okukwata ekisulo ky’abawala ku somero lya  Nkutu memorial school e  Iganga . Abayizi bafiiriddwa emifaliso, ebitabo n’ebirala ebikozesebwa mu kusoma. Ekiviiriddeko omuliro guno tekinategerekeka. Wabula amyuka  RDC  we Iganga David BBaale agamba abayizi ab’efujjo bandiba nga beebakumye omuliro guno. Gyebuvuddeko […]

Eng Kazibwe afudde

Ali Mivule

August 5th, 2013

No comments

Eng Charles Kazibwe afudde amakya g’olunaku olwalero . Kazibwe abadde n’obuzibu mu lubuto era abadde ajjanjabibwa mu ddwaliro lye Nsambya . Kazibwe yeeyali Bba w’eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Specioza Wandira Kazibwe. Twogeddeko n’omu ku mikwano gye Monica Asaba atutegeeza nga abasawo bwebafubye enyo okutaasa obulamu […]

Amaanyi tegalya- Kabaka

Ali Mivule

August 3rd, 2013

No comments

Ssabassajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi asabye nti wabeewo ekkomo ku kukozesa eryaanyi eggwaaga bweriba nga lyakugenda mu maaso Ng’ayogerako eri Nasisi w’omuntu,  Ssabasajja agambye nti kyetaagsa newabawo okuteesa ‘okukwatagana ku nosnga ezitali zimu. Agamba nti emmundu bazirabye naye nga teziyamba Bw’atuuse ku nsonga […]

Ssabassaja Kabaka atuuse, M7 emikolo egyetabyeeko

Ali Mivule

August 3rd, 2013

No comments

Ssabasajja atuuse mu lubiri e mengo wakati mu nduulu okuva eri abantu abeetabye ku mukolo guno. Bazzukulu ba Kayiira ab’embogo beebazze bakongozze omuteregga. Emikolo gino gyetabiddwaako ne president Museveni

Buganda eddiziddwa ebyaayo

Ali Mivule

August 3rd, 2013

No comments

Gavumenti ya NRM kyaddaaki ekkirizza okuzza ebintu bya Buganda by’erudde ng’etuddeko. Endagaano eyassiddwaako emikono wakati wa gavumenti eya wakati ne mengo eraga nti ebyo byonna ebyatwalibw aomuli ettaka ebizimbe n’obuwumbi 20 byakuddizibwa Endaagano eno eraga nti kino kyatandise okukola nga lumu omwezi guno ate ng’ettaka […]

Abavuganya bajulidde

Ali Mivule

August 2nd, 2013

No comments

Ababaka b’oludda oluvuganya gavumenti bakwanze sipiika ekiwandiiko ekiwakanya okuwumuza banaabwe okumala entuula ssatu. Akulira oludda oluvuganya Nathan Nandala Mafaabi agamba baagala sipiika asazeemu ekyasaliddwawo omumyuka we Jacob Oulanya  kubanga yakikoze mu bukyamu ekintu kyebatayinza kukiriza. Mafabi alumirizza nga olanya bw’azze nga akola ensobi mu ntuula […]