Amawulire

Obukubagano mu maka bukendedde

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

Alipoota efulumiziddwa poliisi eraga nti wabaddewo kukendeera mu bukubagano mu maka. Alipoota eno eraga ebyaliwo mu mwaka 2011,2012 eraga nti abantua bafiira mu bukubagano mu maka bakendera okuva ku 181 mu 2011 okutuuka ku 154 mu mwaka 2012. Kyokka abantu benyini abakosebwa obukubagano mu maka […]

Omwana agudde mu butto

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

Omwana ow’emyezi etaano ali bubi oluvanyuma lw’okugwa mu kalaayi ya butto nga yesera Maama w’omwana ono Mindu sendi nga mukonzo omwana okumugwaako mu butto abadde amuweese ku mugongo. Agamba nti akagoye keyabaddde awekesezza omwana kasumulukuse nga tategedde omwana n’agwa mu butto gweyabadde asiikiramu chipusi Abasawo […]

Dereeva wa ki loole kye Namungoona ali Luzira

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

Dereeva wa ki loole ekyakwata omuliro abantu abasoba mu 40 bamale bafe asindikiddwa ku meere e Luzira Ricard Mugisha aguddwaako emisaago 51 egy’okukosa abantu n’ettemu n’omulala gumu gwa butewaaba ng’akoze akabenje. Omusajja ono teyegaanye musango gwa butaloopa ku poliisi kyokka ng’ebyokutta abantu abyegaanye bw’abadde mu […]

Wuuno atta abe Rakai

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

Poliisi eyisizza ekiwandiiko ekirabula ku musajja eyakulembera okutta abantu mu district ye Rakai Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agamba nti omusajja ono ye Fred Mujulizi  nga yeeyaluka olukwe olutta omusumba Mugambe na b’omu maka ge munaana mu district ye Rakai Omusajja ono era yeeyatta n’omusajja […]

Ingrid Turinawe akwatiddwa

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

Wabaddewo vvaawo mpitewo nga poliisi ekwata akulira abakyala ba FDC nebavubuka abalala 6 wali ku city hall Abawanvu n’abampi bano bakulembeddwamu aduumira poliisi ya kampala James Ruhweza era babadde bamaze ebbanga nga bagumbye wabweru. Ingrid Turinawe ne banne babadde bategeka kwekalakaasa mu ngeri y’okutambula nga […]

Munyagwa bamuwenja

Ali Mivule

July 29th, 2013

No comments

Kkooti eragidde nti meeya we Kawempe Mubarak munyagwa akwatibwe. Munyagwa abadde alina okulabikako mu kooti ku misango gy’okukozesa olukujjukujju okwezibika ensimbi kyokka nga talabiseeko Kigambibwa okuba nti Munyagwa ono yezibika emitwaalo 100okuva eri Karim Nsubuga n’emitwaalo etaano okuva eri Mohammad Kawuku ng’abasuubizza okubafunira emilimu mu […]

Ennaku z’ekisiibo zino nkulu

Ali Mivule

July 29th, 2013

No comments

Abayisraamu bakuutiddwa ku makulu agali mu nnaku 10 ezisemba mu kisiibo Ssabawandiisi ku bukulembeze bwe Kibuli Muhamed Kisambira agamba nti abasiraamu bonna basaanye okutandika okulinda ekiro ekyamagero nga kino kigwa ku nnaku ez’ensunsuuba Wabula Kisambira era asambazze ebigambibwa nti wabaawo ekintu ky’enjawulo ku nnaku zino […]

Omusajja w’ebbuba afumise mukyala we ebiso

Ali Mivule

July 29th, 2013

No comments

Omusajja eyayawukana ne mukyala we ate amaze n’amulumba n’amufumita ebiso Omukyala ono Nowerina Nakabugo owe Nakwero ekisnagibwa ku lwe Gayaza yayawukana ne Bosco Lukwago kyokka nga yasobeddwa okumulaba g’amulumbye mu muzigo gwe ekiro ng’amulangira obwa malaaya Yamufumise emirundi ebiri ku mutwe kyokka nga basobodde okumutaasa […]

Eby’okwerinda gulugulu

Ali Mivule

July 29th, 2013

No comments

Poliisi egenda kuyiibwa ku lubiri e mengo ng’ebikujjuko by’amatikkira bikuuba koodi Ku lw’okusatu lwa  ssabiiti eno ssabasajja lw’aweza emyaka 20 bukyanga atuuzibwa ku namulondo kyokka ng’emikolo gyayongezeddwaayo okutuusa ku lunaku lw’omukaaga Ssabasajja olunaku lw’enkya lw’agenda okusimba emiti ku luguudo lwa Kabaka anjagala nga tannaggulawo mwoleso […]

E Kibuli beekalakaasa

Ali Mivule

July 29th, 2013

No comments

Abatuuze mu  zooni ya  Kanakulya  e Kibuli beesuddemu akambayaaya ne beekalakaasa lwa bbula ly’amasanyalaze. Bano bagamba kati wiiki ziweze 2 nga bali mu kibululu oluvanyuma lwa tulasifooma  okufunamu obuzibu. Bano bazibye oluguudo lwa  Kakungulu era emotoka tezikyatambula nga wazzewo n’omugotteko. Okusanyalala kw’ebyentambula kukosezza  ssabadumizi wa […]