Abayizi be somero lya siniya erya kidera e kamuli besuddemu julume ne bekalakaasa.
Bano bokyezzan’akatale akaliranyeewo.
Ekibaggye mu mbeera kuzuula nti abasomesa babadde tebawangayo nsimbi zaabwe ez’ebibuuzo by’okwegezesaamu
Patrick Muwanga omu ku batuula ku kakiiko ke somero lino ategeezezza nti ensimbi ng’ensimbi zino bwebazigabidde abasomesa okweyimirizaawo kubanga babadde tebakyasobola kujja kusomesa
Anenyezza nyo abayizi bano olwobutabalirira ssomero naye nasubiza nga ensimbi bwebazifunye era bakuzisasulayo essaawa yonna.