Omwana ow’emyezi etaano ali bubi oluvanyuma lw’okugwa mu kalaayi ya butto nga yesera
Maama w’omwana ono Mindu sendi nga mukonzo omwana okumugwaako mu butto abadde amuweese ku mugongo.
Agamba nti akagoye keyabaddde awekesezza omwana kasumulukuse nga tategedde omwana n’agwa mu butto gweyabadde asiikiramu chipusi
Abasawo abekebezze omwana ono e Mulago bagamba nti omwana ono ayidde nnyo kyokka nga…
Dereeva wa ki loole ekyakwata omuliro abantu abasoba mu 40 bamale bafe asindikiddwa ku meere e Luzira
Ricard Mugisha aguddwaako emisaago 51 egy’okukosa abantu n’ettemu n’omulala gumu gwa butewaaba ng’akoze akabenje.
Omusajja ono teyegaanye musango gwa butaloopa ku poliisi kyokka ng’ebyokutta abantu abyegaanye bw’abadde mu maaso g’omulamuzi Boniface Wamala owa kkooti ye Nabweru
Kigambibwa nti Mugisha ng'ennaku z’omwezi…
Poliisi eyisizza ekiwandiiko ekirabula ku musajja eyakulembera okutta abantu mu district ye Rakai
Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agamba nti omusajja ono ye Fred Mujulizi nga yeeyaluka olukwe olutta omusumba Mugambe na b’omu maka ge munaana mu district ye Rakai
Omusajja ono era yeeyatta n’omusajja omulala eyategereeka nga Joseph Kaholo ne Mukyala we Cissy Nakalwa e Kyabakazi
Nabakooba…
Wabaddewo vvaawo mpitewo nga poliisi ekwata akulira abakyala ba FDC nebavubuka abalala 6 wali ku city hall
Abawanvu n’abampi bano bakulembeddwamu aduumira poliisi ya kampala James Ruhweza era babadde bamaze ebbanga nga bagumbye wabweru.
Ingrid Turinawe ne banne babadde bategeka kwekalakaasa mu ngeri y'okutambula nga badda ku palamenti gyebabadde bagenda okwemulugunya ku misolo egyassibwa ku mazzi.
Kkooti eragidde nti meeya we Kawempe Mubarak munyagwa akwatibwe.
Munyagwa abadde alina okulabikako mu kooti ku misango gy’okukozesa olukujjukujju okwezibika ensimbi kyokka nga talabiseeko
Kigambibwa okuba nti Munyagwa ono yezibika emitwaalo 100okuva eri Karim Nsubuga n’emitwaalo etaano okuva eri Mohammad Kawuku ng’abasuubizza okubafunira emilimu mu kkampuni ya Haris International
Omulamuzi omusango agwongezezzaayo okutuusa nga 20 omwezi ogujja ng’ono…
Abayisraamu bakuutiddwa ku makulu agali mu nnaku 10 ezisemba mu kisiibo
Ssabawandiisi ku bukulembeze bwe Kibuli Muhamed Kisambira agamba nti abasiraamu bonna basaanye okutandika okulinda ekiro ekyamagero nga kino kigwa ku nnaku ez’ensunsuuba
Wabula Kisambira era asambazze ebigambibwa nti wabaawo ekintu ky'enjawulo ku nnaku zino ng'omuliro ng'agamba nti kili eri buli muntu okukubisaamu ebikolwa ebirungi
Omusajja eyayawukana ne mukyala we ate amaze n’amulumba n’amufumita ebiso
Omukyala ono Nowerina Nakabugo owe Nakwero ekisnagibwa ku lwe Gayaza yayawukana ne Bosco Lukwago kyokka nga yasobeddwa okumulaba g’amulumbye mu muzigo gwe ekiro ng’amulangira obwa malaaya
Yamufumise emirundi ebiri ku mutwe kyokka nga basobodde okumutaasa nga nomusajja ono akuumirwa ku poliisi e Kasangati .
Poliisi egenda kuyiibwa ku lubiri e mengo ng’ebikujjuko by’amatikkira bikuuba koodi
Ku lw’okusatu lwa ssabiiti eno ssabasajja lw'aweza emyaka 20 bukyanga atuuzibwa ku namulondo kyokka ng’emikolo gyayongezeddwaayo okutuusa ku lunaku lw’omukaaga
Ssabasajja olunaku lw’enkya lw’agenda okusimba emiti ku luguudo lwa Kabaka anjagala nga tannaggulawo mwoleso ku lunaku lw’okusatu
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Idi Ssenkumbi agamba nti…
Abatuuze mu zooni ya Kanakulya e Kibuli beesuddemu akambayaaya ne beekalakaasa lwa bbula ly’amasanyalaze.
Bano bagamba kati wiiki ziweze 2 nga bali mu kibululu oluvanyuma lwa tulasifooma okufunamu obuzibu.
Bano bazibye oluguudo lwa Kakungulu era emotoka tezikyatambula nga wazzewo n'omugotteko.
Okusanyalala kw’ebyentambula kukosezza ssabadumizi wa poliisi Gen Kale Kaihura n'omukubiriza w'olukiiko lw’eggwanga olukulu Rebecca Kadaga nga oluseregende lw'emotoka…
Abakozi mu kkampuni ya multiplex ekola ku by'okuzimba bali mu kwekalakaasa
Bano bamaze emyezi esatu nga tebasasulwa.
Abakozi bano bagamba nti buli mwezi lweguggwaako nga babasuubiza naye nga negyebuli kati tewlai kyebalabye.
Abakozi bano bali mu 200 mulimu ba engineer, abawereeza ku bizimbe n’abalala