Amawulire
Abasuubuzi batandise okusenguka
Abantu ababadde bakolera mu kizimbe kya Nice Times ekyagudde eggulo, batandise okusengulamu ebyaabwe. Olukiiko lw’abasuubuzi lutudde okubaako bye bateeesa , nga waliwo n’abagala okusigala nga bakikoleramu ng’eno bwe kigenda mu maaso n’okuddabirizibwa. Bangi ku basuubuzi bano banoonya wakudda kyokka nga tebannafuna nsimbi.
Emilimu gisanyaladde ku luguudo lwa kampala
Poliisi ekubye omukka ogubalagala okugugumbula abawagizi b’eyali akulira ekibiina kya Fdc Dr Kiiza Besigye Besigye abadde ava ku kooti ya Buganda road gy’asomeddwa emisnago emiggya nga gyekuusa ku kukuma mu bantu omuliro Ono agaanye okubuuka mu mmotoka nga bw’alagiddwa poliisi era nga motoka ya poliisi […]
Tetuggya kusomesa-Mutusasule
Abasomesa baweze nti okujjako nga basasuddwa omusaala gwaabwe, kikafuuwe okulinnya ekigere mu kibiina. Sabawandisi w’ekibiina ekibagatta ekya , Uganda national teachers union, James Tweheyo , agamba tebakyalina nsimbi zebakozesa oluvanyuma lw’obutasasulwa omusaala gwaabwe kati myezi esatu. Tweheyo agamba abasomesa abasinga tebakyalina nsimbi zakukoseza mu […]
Lukwago agenze mu kakiiko-asoose kwezooba
Wabaddewo akavuvungano ku Metropole house awatuula akakiiko akawulira okwemulugunya kwa ba kansala 17 abaagala okugya obwesige mu Lord Mayor Erias Lukwago. Kino kivudde ku police kwagala kugaana abamu ku bawagizi ba Lukwago okuyingira munda awatuula akakiiko kano akalindirira okumusoya ebibuuzo ku bigambibwa nti […]
Ekizimbe kikubye abantu
Ekizimbe kiyiise nekikuba abantu mu kibuga wakati. Ekizimbe ekiyiise kimanyiddwa nga Nice Times nga kiriraanye ekya Magoba ku Nakivubo mews. Kigambibwa okuba ng’ekizimbe kino kibadde kiddabirizibwa ku myaliro gya wansi ekikinafuyizza nekiyiikamu. E mulago omusasi waffe Shamim Nateebwa gy’ali, abantu bana beebakwatwalibwa mu ggwanika ate […]
Besigye akwatiddwa
Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigey akwatiddwa. Ono okumukwata abadde yakafuluma amaka ge e Kasangati ng’agenda mu kibuga. Poliisi emusise mu mmotoka bw’abadde n’emussa mu motoka yaayo emuggye mu kifo kino ku misinde gya yiriyiri. Ggo amaka ga Loodi meeya Erias Lukwago n’omubaka […]
Abayizi bagudde ku kabenje
Abayizi abasukka mu 20 bagudde ku kabenje ku luguudo lw’e Kampala – Gulu. Akabenje kagudde Kiwoko e Nakasongola , baasi ebaddemu abayizi abasukka mu 70 ab’essomero lya St Teresa SS Masindi nga bagenda okulambula, bweremeredde omugoba waayo ne yeefula. Omwogezi wa poliisi mu […]
Mbabazi awolerezza Museveni ku Aronda
Ssabaminista wa Uganda , Amama Mbabazi awolerezza President olw’okuyingiranga mu nsonga za palamenti. Kino kiddiridde ababaka abali ku kakiiko akakakasa ababa balondeddwa President ku bifo eby’enjaulo, okusisinkana President n’oluvanyuma ne bakakasa Gen. Aronda Nyakairima ku kifo kya minista w’ensonga z’omunda. Ababaka basoose kugaana nga bagamba […]
Abatayagala Lukwago babatwaala
Ab’ekibinja ekimanyiddwa nga Kampala yaffe bakunganyizza emikono egiggya obwesige mu councilor eyakulembeeramu okusindikiriza loodimeeya Bano bakulembeddwaamu Vincent Mayanja era ng’emikono gino bagikwasizza ab’akakiiko akalondesa. Kansala gwebagaala okusindikiriza ye Bruhan Byaruhanga
abakyala ababbira mu taxi babaano
Abakyala ennaku zino batabuse nga byebakola byewunyisa Waliwo babiri abakwatibbwa nga bano ogwaabwe gwakubba batambulira mu taxi Sanyu Gaudelia ne Joan Katushabe beefuula abasabaaze nebekobaana ne ba dereeva kko ne ba kondtita okubbirako abasabaaze nga babagamba okunyweeza enziji Abakyala bano waliwo omwami gwebabban’abalamba […]